SUNNAH Z'OMUBAKA (HADITHI)
Sunnah z'Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, bwebwo obubaka Allah bweyassa ku Nabbi we Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, awamu n’Ekitabo kya Allah eky’Ekitiibwa, gwe musingi era ensibuko y’eddiini y’Obusiraamu, era byombi bitambula byonna , nga bwe kikwatagana mu kukakasa okw'emirundi ebiri. okukakasa nti tewali asinzibwa mubutuufu okuggyako Allah n'okukakasa nti mazima Muhammad mubaka wa Allah, Oyo yenna atakkiriza Sunnah takkiriza Qur’an.
Emiramwa emitinitini
NABBI EBYENGERA N'EMIREMBE BIBEERE KU YYE
Okumanya ku bikwaata ku Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, ebikwata ku bulamu bwe, obwannabbi bwe, n’omugabo gwe eri ekibiina kye.
HADITHI NE SUNNAH (EBIGAMBO N'EBIKOLYA BYA NABBI)
Okumanya obulungi bwa Sunnah, ensibuko yaazo mu kubaga amateeka ga sharia, n’okumanya ebitabo byazo ebisinga obukulu.