Sigala ng'oyiga

Tewayingidde
Wewaandiise kati ku mukutu gwa Taa otandike okuyiga, ogoberere enkulaakulana yo, okunngaanye obubonero era oyingire empaka, oluvannyuma lw'okwewandiisa, ojja kufuna satifikeeti ey'omutimbagano ku miramwa gy'osomye

Amateeka agafuga engendo

Obusiraamu nzikiriza ya bulamu bwonna, era ekwaata ku mbeera z'omuntu zonna, ng'ali ku butaka oba ng'atambudde, mu kutebenkera kwe ewamu n'emukuseetuka okuva mu kifo okudda ewalala, mu mbeera z'okukakasa n'ezolusaago, era engendo kitundu ku bulamu bw'omuntu obwa bulijjo, era na bweekityo nazo zirina amateeka agazifuga mu bintu Allah by'ayagala tutambulireko n'okukola mu zzo, oba mw'ebyo by'ayagala tweewale , era mu kitundu kino tugenda kulaba amateeka ago agafuga engendo.

Emisomo

Eby'okufumiitiriza eri omukkiriza ku ngendo
Okweetukuza mu ngendo
Okusaala n'okusiiba mu lugendo
Amateeka agabuna agakozesebwa enyo mu ngendo