Sigala ng'oyiga

Tewayingidde
Wewaandiise kati ku mukutu gwa Taa otandike okuyiga, ogoberere enkulaakulana yo, okunngaanye obubonero era oyingire empaka, oluvannyuma lw'okwewandiisa, ojja kufuna satifikeeti ey'omutimbagano ku miramwa gy'osomye

Omusiraamu omupya

Omuntu bwasiramuka, atandika olugendo olupya mu bulamu bwe obw’ensi obwawukana ku bulamu bwe obuyise . Mu lugendo luno, ajja kwetaaga okumanya okuwerako okusobola okutereeza n’okukuuma enzikiriza ye, okutuukiriza emirimu Allah gye yamulagira, n’okulinnya mpolampola mu nnyiriri zezikiriza n’Obusiraamu. Tumukuŋŋaanyirizza mu kkubo lino ekyo ekigenda okutuukiriza ekiruubirirwa kino, Allah bw’anaaba ayagadde.

Omusomo eriddako

Empisa z'okwelongosa n'amazzi n'okumala ekyetaago

Amateeka g'obusiraamu tegaalekayo nsonga yonna etegezebwa Omusiraamu okugyako nga bwamuteerawo empisa n'amateeka, era nga n'ezimu kunsonga, z'empisa ezikwaata ku kumala eky'etaago. Tugenda kumanya mu ssomo lino empisa z'okumala ekyeetaago, okwelongosa n'amazzi, emiteeko gy'ebizuusi, n'ekwelongoosa kwa buli muteeko.

Emisomo