Ekitundu ekiriwo kati: ESSWALA
Omusomo Esswala y'ejjuma
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Allah yalaalika mu kiseera ky'eswala ya zuhuri ku lunaku lw'ejjuma esswala nga y'emu ku bubonero bw'obusiraamu obw'amanyi era emu ku mpagi z'abwo enyweevu enyo, abasiraamu bakungaanira mu yyo omulundi gumu buli sabbiiti, nebawuliriza okubuulira n'okuwabula okuweebwa imaam w'ejjuma, oluvanyuma basaala esswala y'ejjuma.
Obukulu bw'olunaku lw'ejjuma.
1. Allah yayawula ekibinja kya nabbi muhammad okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye n'alwo ky'atakola ku bibinja ebirala, nga nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku bw'agamba nti: "Allah yabuza abatusooka n'ebatasobola kuteeba lunaku lwa jjuma , abayudaaya baalina lwa mukaaga, ate aba kulisitu nga balina lwa ssande, Allah n'aleeta ffe n'atutebeesa olunaku olw'ejjuma" (muslim:856).
2. Adam emirembe gibeere ku yye yatondebwa lunaku lwa jjuma, era ku lwo kweekugenda okubeera olunaku lw'enkomerero nga nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyagamba nti: "olunaku olusinga obulungi mu nnaku ezibonekako enjuba lunaku lwa jjuma, ku lwo Adam lweyatondebwa era ku kwo weyayingizibwa ejjana, era ku lwo lweyafulumizibwa okuva mu jjana, era n'enkomerero tejja kubeerawo okujjako ku lw'okutaano" (muslim:854)
Esswala y'ejjuma ekakata ku ani?
Kikubirizibwa eri omusiraamu okunaabako ng'atannagenda kusaala jjuma, n'okukeera okugenda ku muzikiti nga kutuba tennatandika, okweekuba akawoowo, wamu n'okwambala engoye ezisinga obulungi.
Abasiraamu bakungaana mu mizikiti, imaam n'alinya ekituuti mu maaso gaabwe, n'atunuulira abasaaze n'ababuulirira mu kutuba bbiri, ayawula wakati waazo n'olutuula olutonotono, abajjukiza mu zzo okutya Allah, era abasomera eby'okwebuulirira, ne aya za kulaane.
Kikakata ku basaaze okuwuliriza kutuba, era tebikkirizibwa kwoogera, yadde okulabankana nabuli kibalemesa okuganyulwa mu bibaalirwa, nebwekuba kuzanyira ku musaalo, oba obuyinja, n'ettaka.
Esswala y'ejjuma gweeyiseeko
Omuntu akeereye okujja okusaala ejjuma
Buli muntu atakakatibwaako kusaala jjuma, ng'omukyaala n'omutambuze, bwebagisaala wamu n'abasiraamu eba ntuufu era baba tebabanjibwa kusaala zuhuri kuba aba asadde ejjuma wadde temukakatako.
Obwetteekwa bw'okusaala ejjuma
Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye kibonerezo ki kyeyasuubiza oyo eyeebuzabuza n'atasaala jjuma.
Ekisonyiyisa ekikkirizisa omuntu akakatwaako ejjuma obutagisaala: buli kintu ekireetera okukaluubirizibwa okutali kwa bulijjo, oba kitiibwa nti kiyinza okuvaamu okukosa omusiraamu mu mbeera ye oba embeera y'obulamu bwe.