Sigala ng'oyiga

Tewayingidde
Wewaandiise kati ku mukutu gwa Taa otandike okuyiga, ogoberere enkulaakulana yo, okunngaanye obubonero era oyingire empaka, oluvannyuma lw'okwewandiisa, ojja kufuna satifikeeti ey'omutimbagano ku miramwa gy'osomye

Amakubo g'okusoma

Omukutu gwa Taa gulimu amakubo g'okusoma ag'enjawulo, ebirimu ebirondeddwa okuva mu bitundu eby'enjawulo ku mukutu ebiyamba okuzimba okumanya Obusiraamu eri omuyizi n'okutuukiriza ebyetaago bye

Omusiraamu kyatasonnnyibwa kuba nga takimanyi

39 درس
shariya yajja n'amateeka nga gakakata ku Basiraamu bonna okuyiga n’okugoberera. Amateeka gano mangu, anti amateeka g’Obusiraamu geesigamiziddwa ku kuleeta emigaso n’okuziyiza obulabe. Amateeka gano era gaawulwamu olw’okuba nti ensibuko yago ya bwa Katonda, era oyo eyaginnyonnyola abantu ye yali asinga abantu bonna okumanya, okwogera obulungi, era yasinga okubuulirira ekibiina kye, era nga ye Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye. Omusomo guno gulimu okukuŋŋaanya eby’okuyiga ebirondeddwa ebiwa Abasiraamu amateeka g’Obusiraamu ge balina okumanya n’okussa mu nkola.
Empisa z'okwelongosa n'amazzi n'okumala ekyetaago Okufuna wuzu Ekizuusi ekinene wamu n'okunaaba Embeera ez'eyawulidde mu kweetukuza +35

Omusiraamu omupya

38 درس
Omuntu bwasiramuka, atandika olugendo olupya mu bulamu bwe obw’ensi obwawukana ku bulamu bwe obuyise . Mu lugendo luno, ajja kwetaaga okumanya okuwerako okusobola okutereeza n’okukuuma enzikiriza ye, okutuukiriza emirimu Allah gye yamulagira, n’okulinnya mpolampola mu nnyiriri zezikiriza n’Obusiraamu. Tumukuŋŋaanyirizza mu kkubo lino ekyo ekigenda okutuukiriza ekiruubirirwa kino, Allah bw’anaaba ayagadde.
Empisa z'okwelongosa n'amazzi n'okumala ekyetaago Okufuna wuzu Ekizuusi ekinene wamu n'okunaaba Esswala kyekki, wamu n'obukulu bwaayo +34

Enkolagana y’ebyensimbi

درسان
Obusiraamu ddiini ezingiramu ebintu byonna eby’obulamu. Eddiini ya kusinza era ddiini ya mpisa. Abaddu bya Allah beetaaga obulagirizi mu kutegeera amateeka g’Obusiraamu ku nsonga zino zonna, ebikolwa byabwe bisobole okukwatagana n’ebyo Allah byayagala era by'asanyukira. Quran Entukuvu erimu ebikwata ku nkolagana n’endagaano entuufu, era Nabbi (ebyengera n’emirembe bibeere ku ye) yannyonnyola amateeka gebeetaaga ku bikwata ku kutunda n’okusuubulagana n'amateeka g’ebyensimbi n'ebirara. Tujja kwetegereza agamu ku amateeka gano mu lugendo luno.
Zaka: obwenyini bwaayo n'ebigendererwa kyaayo Emiteeko gy'emmaali egikakata okuwebwaamu zaka

Amaka Amasiraamu

11 درس
Obusiraamu bwaawa nnyo okufaayo okujjuvu eri amaka, anti Sharia bwe yeesigamiziddwa ku kulungamya abantu eri ebirungi by’obulamu buno n’ebwenkomerero. Ekibiina ky’abantu tekisobola kutereera okuggyako nga kiyita mu kutereera kw’amaka mwe kikolebwa. Sharia yajja n'amateeka amajjuvu, empisa ez’ekika ekya waggulu, n’enkola entuufu ezimba n’okukuuma amaka. Etangaaza emirimu gya buli muntu mu maka, awamu n’eddembe lye.
Ekifo ky'amaka amasiraamu mu Busiraamu Amateeka ga kakwaate wakati webikula ebibiri Emisiingi gyo kuloonda omwaami no mukyala Empisa zo kwogereza +7

Omukyala Omusiraamu

6 دروس
Sharia yajja nga ewa abakyala ekitiibwa, era waliwo eby'okulabirako bingi mu kitabo kya Allah Omugulumivu n’ebyafaayo bw’omubaka wa Allah ebyengera bibeere ku ye bingi.n'emukussa ekitiibwa mu bakyala kwe kuba nti yabateelawo amateeka agatunuulira engeri zaabwe n'ebyaama babwe, agikuuma eddembe lyabwe, n’okubakuuma okuva ku bugwenyufu n’okwegomba kw’abo abalina obononefu mu emitima n’abalina emitima emilwadde.
Omukyala ne nkoowoola ezo mulembe Ekifo ky'amaka amasiraamu mu Busiraamu Amateeka ga kakwaate wakati webikula ebibiri Okwetukuza kwo mukazi omusiraamu +2