Sigala ng'oyiga

Tewayingidde
Wewaandiise kati ku mukutu gwa Taa otandike okuyiga, ogoberere enkulaakulana yo, okunngaanye obubonero era oyingire empaka, oluvannyuma lw'okwewandiisa, ojja kufuna satifikeeti ey'omutimbagano ku miramwa gy'osomye

OKUJULIRA OKW'EMIRUNDI EBIRI

Obusiraamu bwafuula ekigambo kya Laa ilaaha illa Allah (Teri asinzibwa mu butuufu okujjako Allah) mu kifo ekisiinga enkizo n'ekitiibwa, anti gw'emulimu ogusooka og'obwetteeka eri omusiraamu, oyo ayagala okusiramuka alina okukiriza ekigambo ekyo n'okukyaatula, era oyo yenna akyogera n'obukakafu mu kyo, ng'anoonya kusiimisa Allah. kijja kubeela ensonga y'okuwona kwe okuva eri omuliro era Nabbi Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yagamba: (Allah yaziyiza omuliro ku yeena agamba nti  Laa ilaaha illa Allah (Teri asinzibwa mu butuufu okujjako Allah), ng'anoonyamu kusiimisa Allah. (Bukhari 415)

Emisomo

Okujulira nti tewali asinzibwa mu butuufu okujjako Allah
Okumanya Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye
Okujulira nti mazima Muhammad mubaka wa Allah