Sigala ng'oyiga

Tewayingidde
Wewaandiise kati ku mukutu gwa Taa otandike okuyiga, ogoberere enkulaakulana yo, okunngaanye obubonero era oyingire empaka, oluvannyuma lw'okwewandiisa, ojja kufuna satifikeeti ey'omutimbagano ku miramwa gy'osomye

Ekitundu ekiriwo kati: OKUJULIRA OKW'EMIRUNDI EBIRI

Omusomo Okumanya Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye

Allah yatuma Nabbi waffe Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye eri abantu bonna abamawanga gonna ne bika byonna, mu ssomo lino lirimu okumanya mubufunze ku Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye

  • Okumanya okufunze ku Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye
  • Okumanya ekifo kya Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye

Erinnya lya Nabbi waffe ebyengera n'emirembe bibeere ku yye

Muhammad mutabani wa Abdullah mutabani wa Abdulmutwallib mutabani wa Haashim omu Qurayishi, era ye muwarabbu asiinga olulyo olwawaggulu ebyengera n'emirembe bibeere ku yye

Mubaka wa Allah eri abantu bonna

Allah yatuma Nabbi waffe Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye eri abantu bonna ab'amawanga gonna ne bika byonna. Era Allah nakifuula kyateeka okumukkiriza ne okumugondera Yagamba Allah; (Gamba gwe Nabbi Muhammad nti abange abantu, mazima nze ndi mubaka wa Allah , eri mmwe mwenna) (158).

Allah yassa ku Nabbi Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye Quran

Allah yassa ku Nabbi Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye Ekitabo ekisinga nga yye Quran, obulimba tebuyinza kujjira mu maaso gaayo, wadde mabega waayo

Ow'enkomerero mu ba Nabbi n'Ababaka.

Allah yatuma Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye nga yye w'enkomerero mu Bannabbi n'Ababaka, era tewali Nabbi ajja oluvamyuma lwe, nga Allah weyagamba: (wabula (yye) Mubaka wa Allah, era ow'enkomerero wa ba Nabbi.) (Al Ahzaab:40).

Okuzaalibwa kwe ebyengera n'emirembe bibeele ku yye

Yazaalibwa mu Makka mu mwaka gw'enjovu (571), era yali mulekwa, yafirwa nnyina ng'akyali muto, yakuzibwa wansi w'obulabirizi bwa jajja we Abdulmutwalibu, oluvnnanyuma naabeela wansi w'obulabirizi bya taata we omuto eyamukuuma n'okumuwolereza

Obulamu bwe n'engeri gye yakuzibwamu ebyengera n'emirembe bibeere ku yye.

Yabeera mu kika kye, ekya bakurayishi, okumala emyaka amakumi ana nga tannafuna bwannabbi (571-611 AD), mu kiseera ekyo yali eky'okulabirako ky'empisa ennungi era nga ky'akulabirako mu bwesimbu n’obulungi, era erinnya eramanyika mu bo lyali: Al-Sadiq Al-. Amin (Owaamazima Omwesimbu), era yakola ko okulunda n’oluvannyuma n’akola mu by’obusuubuzi. Nga Obusiraamu tebunnabaa kujja, Omubaka wa Allah yali Haniifiya eyasinza Allah mu nzikiriza ya Ibrahimu era nga yagaana okusinza ebifaananyi(amasanamu) n’enkola z’ekikaafiiri.

Okutumibwa kwa Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye

Oluvannyuma lw’Omubaka wa Allah, ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, okuweza emyaka amakumi ana, era bwe yali afumiitiriza n’okusinza Allah mu mpuku ya Hira ku lusozi Al-Nour, ajjibwa obubaka okuva eri Allah, era n’okukka kwa Qur’an kwatandika era n'obubaka obwasooka okumunkako okuva mu Quran kyali kigambo kya Allah Omugulumivu: (Soma ng'otandika ne linnya lya mukamawo oyo eyatonda (buli kintu).) (Al-Alaq: 1); era alangirile olutumwa luno, okuva ku ntandikwa yaalwo, mulembe mupya ogw’okumanya, okusoma, ekitangaala, n’okulungamya abantu, n’oluvannyuma okukka kwa Qur’an ne kugenda mu maaso okumala emyaka abiri mu esatu.

Okutaandika ko koowoola (daawa) kwe ebyengera n'emirembe bibeere ku yye

Omubaka wa Allah, ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, yakowoola eri eddiini ya Allah okumala emyaka esatu mu nkukutu, olwo nayolesa okkoowola okwo mu lujjudde n’akulangirira mu lujjudde okumala emyaka emirala kkumi, mu kiseera ekyo Omubaka wa Allah ne baswahaba be baafuna ebika by’okuyigganyizibwa n’obutali bwenkanya ebisinga okuba eby’amaanyi okuva mu kika ky'abaqurayish. Yayanjula obusiraamu eri ebika ebyajja okola Hijja, era abantu be Madiina ne bakkiriza, era okusenguka kw’Abasiraamu ne kutandika mpolampola.

Okusenguka kwa Nabbi Muhammad ebyengera n'emireembe bibeere ku yye

Nabbi ebyengera n'emireembe bibeere ku yye, yasenguka n’agenda e Madiina, mu kiseera ekyo eyali eyitibwa Yathrib, mu mwaka gwa (622 AD) ng’alina emyaka ataano mu esatu, oluvanyuma lw'omukorera olukwe abakulu mu b'Aquraish abaawakanya okoowoola kwe n'ebaagala n'okumutta. Yabeera eMadina emyaka kkumi, ng’akoowoola eri Obusiraamu, era n'alagira esswala, zaka, n’amateeka g’Obusiraamu amalala

Okusaasaana kw'Obusiraamu

Omubaka wa Allah yatandikawo omusingi gw’enkulaakulana y’Obusiraamu mu Madiina oluvannyuma lw’okusenguka kwe (622 AD) era n’ateekawo ebifaananyi by’ekibiina ky’Abasiraamu n’aggyawo obusosoze obw’ekika, n’asaasaanya okumanya, era n’ateekawo emisingi gy’obwenkanya, obwesimbu,. obwa sseluganda, n’okukolagana mu butuukirivu n’okutya Allah. Ebika ebimu byagezaako okumalawo Obusiraamu, era entalo n’ebintu ebiwerako ne bibaawo, era Allah n’Omubaka we ne bataasa eddiini, olwo abantu ne beeyongera okuyingira Obusiraamu, kale Makka n’ebibuga ebisinga obungi n’ebika mu kyombo ky’Abawalabu ne biyingira mu Obusiraamu nga b'esariddewo era nga bakkiliza eddiini eno ey`ekitibwa.

Okufa kwa Nabbi ebyengera n'emireebe bibeere ku yye

Mu mweezi gwa Safar mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu oluvannyuma lw'okusenguka kwa Nabbi, era ng’omubaka wa Allah amaze okutuusa obubaka n’okutuukiriza obwesigwa, era Allah yali ajjulizza ekyengera kye ku bantu era najjulizza eddiini, Nabbi ebyengera n'emirembe bebeere ku yye, yatawaanyizibwa omusujja, era obulwadde ne bumuzitoowerera, okutuusa Nabbi ebyengera n'emireebe bibeere ku yye we yafa ku lunaku lwa Mmande, olw’ekkumi n’ebiri mu mwezi gwa Rabi’ al-Awwal omwaka 11 AH, olukwatagana ne (6/8/632 AD). Yalina emyaka nkaaga mu esatu era yaziikibwa mu kisenge kya Aisha, Allah amusiime, okumpi n’omuzikiti gwa Nabbi.

Mazima omusomo ogumaliriza bulungi


Tandika ekibuuzo