Sigala ng'oyiga

Tewayingidde
Wewaandiise kati ku mukutu gwa Taa otandike okuyiga, ogoberere enkulaakulana yo, okunngaanye obubonero era oyingire empaka, oluvannyuma lw'okwewandiisa, ojja kufuna satifikeeti ey'omutimbagano ku miramwa gy'osomye

OKUTOOLA ZAKA

Zaka y'empagi ey'okusatu mu mpagi z'obusiraamu, Allah ow'ekitiibwa yagiraalika esobole okutukuza omwooyo gw'oyo agiwaddeyo negwebagiwadde era ebayonje, wadde nga mu ndaba y'okungulu erabika ng'ekendeeza ku bungi bwe sente naye ng'ate eba ereeta emikisa mu mmaali, n'okuba nti era eyongeza mu ssente, n'okwongeza ku bukkiriza mu mutima gw'oyo agiwaddeyo.

Emisomo

Zaka: obwenyini bwaayo n'ebigendererwa kyaayo
Emiteeko gy'emmaali egikakata okuwebwaamu zaka