القسم الحالي: OKUTOOLA ZAKA
الدرس Zaka: obwenyini bwaayo n'ebigendererwa kyaayo
Zaka y'empagi ey'okusatu mu mpagi z'obusiraamu, era yatteeka mu mmaali y'abagagga (ekitundu ekyessalirwa) eweebwe abaavu abeetaavu wamu n'abalala abalina okufuna zaka basobole okwejjako embeera embi ebatawanya.
1. Okwaagala enyo essente kiri mu bubumbwa bwa muntu, kireetera omuntu okululunkana kwonna okulaba ng'agikuuma n'okugisigaza, Allah kw'ekusalawo okulaalika okuwa zaka mu mmaali okutukuza nyini yo okumujjako ebikyaafu by'obukodo n'obukulu, n'okujjanjaba omuze gw'okwaagala n'okufaayo enyo ku bulamu bw'ensi, Allah yagamba: "Ggya mu mmaali yaabwe saddaaka ng'obatukuza, era obalongoose nayo era obasabire" (essuula 9:103)
2. Okuwa zaka kituukiriza enkola y'obumu n'obwa sseruganda, kubanga omwooyo gw'omuntu gwatondebwa nga gwagala nyo oyo aba agukoledde ekirungi, n'olwekyo abasiraamu baba bagenda kuwangaala nga baagalana, nga bali bumu ng'amatafaali g'ekizilbe gebasibira awamu buli limu nerinyweeza eddala, era n'ensonga z'olubba, okunyaga n'okuwamba ebintu bya balala biba bigenda kukendeera.
3. Zaka ereetera amakulu g'okusinza okutuukirira, wamu n'okwekkakanya n'okweewaayo okujjuvu eri Allah omulezi w'ebitonde byonna, omugagga bwawaayo zaka okuva mu mmaali ye, aba ateeka mu nkola amateeka ga Allah, ng'ateeka mu nkola ekiragiro kye, era mu kuwaayo zaka aba yeebaza Allah oyo amuwa ebyengera ebyo, era Allah amusasula empeera y'okweebaza kwe, Allah agamba nti "bwe mubanga munneebazizza nja kubongera ddala" (essuula 14:07)
4. Okuwa zaka kutukiirizisa amakulu g'okweebererawo (munno mu kabi), n'okwenkanankana mu byenfuna by'abantu b'ekitundu, mu kuwaayo zaka eri abateekeddwa okugifuna, emmaali teyeetuuma ku bubinja bwe abantu abatono nga ekukumiddwa mu mikono gyaabwe, Allah ow'ekitiibwa agamba: "eryoke ereme okubeera eyetooloolera wakati wa bagagga bokka mu mmwe) Al hashri 7
Obusiraamu bwaagereka emiteeko gy'abantu abweebwa zaka, era omusiraamu akkirizibwa zaka okugiwa omuteeko gumu oba emiteeko egiwerako, oba n'agiwa ebitongole ebya nnakyeewa n'ebigigabira abo abateekeddwa okugifuna mu basiraamu, wadde ng'ekisinga obulungi kugigaba mu kitundu agiwadde waawangaalira.