تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: OKUTOOLA ZAKA

الدرس Emiteeko gy'emmaali egikakata okuwebwaamu zaka

Zaka yalaalikibwa ku miteeko gy'emmaali egyenjawulo esobole okugitukuza, mu musomo guno ogenda kutegeera emiteeko gy'ebyoobugagga egikakata okuwebwaamu zaka

  • Okutegeera emiteeko gy'emmaali (ebyoobugagga) ebirina okuwebwaamu zaka.

Miteeko ki egy'emmaali (eby'obugagga) ebirina okuwebwaamu zaka?

Omuntu takakatwaako kuwa zaka okuva mu by'obugagga bye byaakozesa nga yye, nga byaakozesa ewaka we wabeera nebwebiba bya bbeeyi bitya, oba emmotoka ye gyatambuliramu nebweeba ya bbeeyi etya, n'abweekityo n'engoye ze, ebyookulya n'ebyookunywa.

Allah yalaalika zaka ng'ejjibwa mu miteeko gy'emmaali (eby'obugagga) ebikola amagoba era nga byeebino:

Zzaabu ne ffeeza ebitakozesebwa mu kwambala n'akweewunda.

Era zaka tekakata mu bbyo okujjako nga bimaze kuwera mutemwa ogwalaalikibwa mu busiraamu (niswaabu), era ng'emmaali eyo eyiseeko omwaako mulamba ogw'obusiraamu (ogubalibwa nga gutambulira ku mweezi) ennaku 354.

Ekigero ekirina okuwebwaamu zaka mu zzaabu ne ffeeza ky'ekini:

١
Zaabu ziba guraamu 85.
٢
Ffeeza guraamu 585.

Omusiraamu bwaaba alina ekigero kino oba okusingawo mu by'obugagga ebiri mu zzaabu oba ffeeza, n'ebiyitako omwaaka mulamba nga weebiri, agenda kuwaamu zaka ebitundu 2.5 ku kikumi (2.5%) ku muwendo gwaabyo.

2. Emmaali (eby'obugagga)

Era guno omuteeko gutwaaliramu n'ensimbi ez'ebika ebyennawulo,tekigaana oba nga biri mu mikono gye oba nga yazitereka mu bbanka.

Tuwa tutya zaka okuva mu mmaali (eby'obugagga)

Omusiraamu abala omutemwa gw'ebyobugagga n'ensimbi ng'abigerageranya ku zzaabu ne ffeeza, bwaaba alina emmaali eyenkana obutundutundu bwa zzaabu (guraamu) 85, oba okusingawo mu kiseera zaka w'emukakatirako okuwa , era ng'eyiseeko omwaaka mulamba ogw'obusiraamu ng'eri mu mikono gye, ajjamu 2.5% (ku kikumi) okuva mu buzito bwaayo.

Eky'okulabirako ku kubala omutemwa ogukakata okuwebwaamu zaka:

Katuteebereza nti ebbeeyi y'akatundutundu (gram) ka zzaabu zaka weetukidde okuba ey'etteeka ka dollar 25, olwo omutemwa ogukakata okuwebwaamu zaka guba bw'eguti: 25(ebbeeyi ya gram ya zzaabu naye ng'ekyuukakyuuka) × 85 (omuwendo gwa zzaabu akakatwaamu zaka era nga yye takyuukakyuuka)= 2125 dollars.

3. Eby'obusuubuzi

Bitegeeza: buli kintu ekiba kitegekeddwa okutundibwa ng'amayumba, amataka, n'ebizimbe, oba eby'amaguzi ebirala ng'ebyookulya n'ebikozesebwa.

Tuwa tutya zaka okuva mu mmaali y'obusuubuzi

Omuntu abala omuwendo gw'ebyo byonna by'alina nga by'abusuubuzi bwebiyitako omwaaka mulamba, era okubalirira kusinziira ku bbeeyi yaabyo mu katale ku lunaku olwo lwabaliramu lwaayagala okuweeramu zaka, bw'abibala nga biweza omutemwa ogukakata okuwebwaamu zaka , olwo ajjamu 2.5% okuva mu muwendo gw'abyo n'aguwaawo mu zaka.

4. Ebiva mu ttaka ng'ebimera, ebibala wamu n'empeke:

Allah ow'ekitiibwa agamba: "abange mwe abakkiriza muweeyo nga muggya mu birungi (ebitukuvu) ebyo byemuba mukoze ne mw'ebyo bye tuba tubagidde mu ttaka" (essuula 2:267)

Zaka ekakata okuweebwa mu miwendo egy'assalirwa mu birime wabula ssi mu byonna, kasita biba nga biwera omuwendo ogukakta okujjibwaamu zaka mu busiraamu.

Era twaawula wakati w'ebirime ebikulira ku mazzi g'enkuba n'ebyo ebifukirirwa, omutemwa mu mpuyi zombi tegwenkana, nga kino kikolebwa obutakaluubiriza bantu.

Obukwakkulizo ebuleetera zaka okuba eyetteeka mu birime.

1. Okuba nga ebirime ebifulumiziddwa biweera omutemwa ogwaagerekerwa.

Nabbi muhammadi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yatugerekera omuwendo ogukakata okuwebwaamu zaka, ng'era bwegutawera zaka eba tekakata n'agamba: "ekkika wansi w'ebisero bitaano eby'entende tekikakatamu zaka" (hadith eri mu kitabo kya bukhari:1459, ne muslim:980). Era ng'ekyo kipimo ekivaamu kkilo 612 ez'omkyeere, ob'engano, era ekikka wansi w'ekyo tekikakatamu zaka.

2. Okuba ng'ebirime biri mu ebyo ebikakatamu zaka.

Zaka tekakata okujjako mu birime ebisobola okuterekebwa nga tebifudde ng'engano, emizabbibu, entende, omukyeere, kasooli ,omuwemba n'ebirala, naye emiteeko gy'ebibala n'ebivaavava ebyo byetutasobola kutereka ebyo zaka tekakata kuva mu bbyo, nga wateemelon, nkomamawanga, enyanya n'ebirala.

Okuba nti bikunguddwa

Zaka ekakata okuva mu birime nga bimaze kukungulwa, era zaka tebalibwa na kuyitako kwa mwaka, singa kiba nga ekirime kikungulwa mu mwaaka emirundi ebiri, olwo ne zaka w'akyo agenda kuweebwa buli kwekikungulwa, bw'amala okukiwaamu zaka, n'amala n'akitereka nebwekiyitako omwaaka mulamba taddamu kukiwaako zaka.

5. Eby'obugagga nga bisolo

Eby'obugagga nga bisolo, byeebyo omuntu by'aganyulwaamu mu bisolo byeewaka byebayita an-am: engamiya, ente , embuzi n'endiga.

Allah yabunduggula ku baddu be bweyabatondera ebisolo ebyo abantu balye enyama yaabyo, bambale engoye eziva mu byooya byaazo, era bibatambuze wamu n'emigugu gyaabwe mu ngendo zaabwe, Allah ow'ekitiibwa yagamba: "n'ebisolo ebirundibwa Allah yabibatondera, mulinamu mu bbyo okweebugumya, n'emigaso (emirala), era mu limu ne bye mulya • era mulinamu obulungi obubasanyusa mu kiseera nga muzikomyaawo (akawungeezi) ne mu kiseera nga muzitwaala (ku ttale ku makya) • era ensolo zeetikka emigugu gyammwe okugituusa eri ensi gyemutandisobodde kugituusa wabula ku lwa kufuna buzibu mwe mwenyini (ku lw'okwetikka) mazima mukama wammwe mukwaata mpola musaasizi" (essuula 16: 5-7)

Obukwakkulizo obubuna obufuga zaka w'ebisolo

١
Ensolo ezo okuba nti ziweze omutemwa ogukakata okuwebwaamu zaka, kubanga zaka tekakata okujjako ku bagagga, naye ate abo abalina omuwendo omutono olw'obweetaavu bwaabwe abo tebakakatwaako zaka; omuwendo gw'engamiya ziba ttaano, embuzi n'endiga 40, ente 30, ekikka wansi w'ezo tezikakatamu zaka.
٢
Okuba ng'ebisolo ebyo biyiseeko omwaaka mulamba ogw'obusiraamu nga nyini zo y'azirina.
٣
Okuba ng'ebisolo ebyo byeriisa, nga zeezo ezeriisa ku bisubi nga nyini byo tabiteekamu kasente kubiriisa nakubirabirira ebbanga erisinga obunene mu mwaaka.
٤
Ebisolo okuba nga sibikozi, era nga byeebyo nga nyini byo abikozesa mu kulima, oba okutambuza ebintu, oba okusitula ebizito, ebyo ebisolo byo tebikakata kuwaamu zaka.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار