Ekitundu ekiriwo kati: OKUJULIRA OKW'EMIRUNDI EBIRI
Omusomo Okujulira nti tewali asinzibwa mu butuufu okujjako Allah
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Obusiraamu bwafuula ekigambo ky'okwawula Allah nti tewali asinzibwa mu butuufu okujjako Allah mu ekifo ekisinga obunene n'obukulu.
Ekifo kya Laa ilaaha ila Allah (Tewali asinzibwa mu butuufu okujjako Allah).
Era bwekityo mazima okujulira nti "tewali asinzibwa mu butufu okujjako Allah" kye kyobettekwa ekisinga obunene era ekisinga obukulu.
Amakulu ga Laa ilaaha illa Allah;
Era, ILAAHU: kitegeeza asinzibwa, Oyo emitima gw'egyigondera gw'egyigulumiza gw'egyikoowoola gw'egyitya gw'egyisubiramu, oyo yenna agondera ekintu n'eyekakanya kulwa kyo, nakyagaala, nakiteekamu esuubi lye lyonna okumumalila nga ebizibu na buli kimu; aba akifuude ekisinzibwa, ate nga buli kisinzibwa kikyamu okujjako Allah omu ate Yye Mulezi we ebitonde byonna Omugulumivu.
Ye Allah Omugulumivu asanye okusinzibwa ewatali kintu kyonna nga si Yye, Ye oyo emitima gwe gisinza n'okwagala, n'agulumiza, n'ekitiibwa, n'okugonda, n'okutya, n'okumwesigamila, n'okusaba, tewali asaanila kusinzibwa okujjako Allah, era tewali anoonyezebwamu buyambi okujjako Allah, era tewali yesigamilwa okujjako Allah, era tewali asaalilwa ojjako ye, era tewali kusala kisolo okujjako nga kuseembera jaali, kikakata okulongosa okusinza kulw'Allah nga bye yagamba: (Era tebaalagirwa okujjako okusinza Allah nga batukuza eddini ku lulwe) (AL bayinna: 4).
Buli asinza Allah Omugulumivu mu bwesimbu era n'atuukiriza amakulu ga Laa ilaaha ila Allah, ajja kufuna essanyu lingi, essanyu, okumatizibwa, n'obulamu obulungi kubanga emitima tegirina kubudaabudibwa kwa nnamaddala, wadde obutebenkevu, oba emirembe mu mutima okujjako okwaawula Allah mu kusinza, nga Allah bwe Yagamba; (Oyo yenna akola omulimu omulungi, kaabe musajja oba mukazi, nga naye mukkiriza, tugenda kumuwangaaliza ddala mu bulamu obulungi era tugenda kubasasula empeera yaabwe nga baweebwa ekisinga obulungi ku lw'ebyo bye baakolanga.97).