Ekitundu ekiriwo kati: Obukkiriza
Omusomo Okukkiriza okugera kwa Allah
Amakulu g'okukkiriza okugera kwa Allah
Kwe kukkiriza okunywevu nti ebirungi n’ebibi byonna bibaawo olw’ekiragiro n'okusalawo kwa Allah, era nti ye Mukozi wa buli kyayagala. Tewali kibaawo okuggyako olw’okwagala kwe, era tewali kintu kyonna kiri bweru wa kwagala kwe. Tewali kintu kyonna mu nsi kiri bweru w’okubalirira kwe oba ekijja okuggyako mu nteekateeka ye. Wadde nga kino kiri bwe kityo, Yalagira era nagaana abaddu be, n’abafuula abeddembe okulondawo ebikolwa byabwe, nga takakibwa nga babikola, wabula bibaawo okusinziira ku busobozi bwabwe n’okwagala kwabwe. Allah ye Mutonzi waabwe era ye Mutonzi w’obusobozi bwabwe. Alungamya oyo yenna gwayagala olw’okusaasira kwe, nabuza oyo yenna gw’ayagala olw’ekingenderwa Kye. Tabuuzibwa ku by’akola, wabula bantu babuuzibwa.
Okunyonyola Okugera
Okugera: kwe kugera kwa Allah okw'ebintu mu kiseera eky’edda, n’okumanya kwe nti bijja kubaawo mu biseera ebigere ne mu ngeri entongole, n’okuwandiika kwe ku ebyo byayagala ku byo, okubitonda kwe, n’okubeerawo kwabyo okusinziira ku bweyabigera.
Okukkiriza okugera kwa Allah Omugulumivu kyateeka era y’emu ku mpagi z’obukkiriza, nga bwe kiri mu kuddamu kw’Omubaka ebyengera n'emirembe bibeere ku yye ku kaseera Jibriil emirembe gibeere ku ye, bwe yamubuuza ku bukkiriza, era Omubaka nagamba nti: “Nti kwe kukkiriza Allah, bamalayika be, ebitabo bye, ababaka be, Olunaku olw’enkomerero, era okukkiriza okugera, okulungi n’okubi” ( yayoggerwa Muslim8).
Okukkiriza okugera kwa Allah kulimu kii ?
Okukkiriza okugera kw'Allah kulimu ebintu bina:
1-Okumanya
Okukkiriza nti Allah Omugulumivu amanyi buli kimu okutwaliza awamu ne mu bujjuvu, era nti Ye Omugulumivu yamanya ebitonde bye byonna nga tannabitonda, era yamanya riziq yaabyo, obulamu bwabyo, ebigambo byabyo n’ebikolwa byabyo, entambula zaabyo zonna n’owokubeela kwabyo, ebyama byabyo n’ensonga zaabyo ez’olukale, ne baani mu bantu b’eJjana, era ne baani mu bantu ba Geyeena. Allah agamba (Yye Allah, yooyo tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye yekka, amanyi ebitalabwa n'ebirabwa. Yye yemusaasizi, oweekisa ekibuna kuno ku nsi, aliba n'ekisa ekyenjawulo ku lunaku lw'enkomerero)(Al-Hashr: 10).
Okuwandika
Okukkiriza nti Allah, Omugulumivu yawandiika buli kimu kya kulembelwa okumanya Kwe (buli nsonga) Ku lubaawo olukumibwa. Obujulizi obulaga kino kye kigambo kya Allah Omugulumivu:(Tewali kabi kabaawo mu nsi, wadde okutuuka ku mmwe okugyako nga kaali mu kitabo nga tetunnaba ku katusaawo, ddala ekyo kyangu nnyo ku Katonda.) (Al-Hadid: 23). Era ekigambo kya Nabbii ebyengera n’emirembe bibeere ku yye: (Allah yawandiika okugera kw’ebitonde emyaka emitwalo etaano nga tannatonda ggulu n’ensi” (Muslim 2653).
Okwagala kwa Allah
Okukkiriza mu kwagala kwa Allah okuyina okutukirira nti tewali kisobola ku kulemesa, n'amaanyi Ge nti tewali kiyinza kugawangula. Ebintu byonna bibaawo kulw’okwagala kwa Allah n’amaanyi ge. Kyonna ky’ayagala kibaawo, era kyonna ky’atayagala tekibaawo.nga Allah Omugulumivu bwe yagamba: (Naye ate temujja kwagala okugyako nga Allah Omulezi w’ebitonde ayagadde) (Attakuwir 29)
Okutonda
Okukkiriza nti Ye Allah Omugulumivu, ye Mutandikawo w’ebintu bonna, era Ye yekka ye Mutonzi, era nti buli kintu ekitali ye kitonde kye, era nti Ye Muyinza ku buli kintu nga Allah bwe yagamba: (Era yatonda buli kintu naakikola olukola olukisaanira.) (Al Furqan:2).
Omuntu alina okwesalirawo n'obusobozi n'okwagala:
Okukkiriza okugera kwa Allah tekukontana na nsonga nti omuddu alina okwagala n’okusalawo mu kukola ebikolwa bye, era abilinako obusobozi. Kubanga amateeka gw'obusiraamu n’okubaawo kw'ebintu bikakasa ekyo gy’ali.
Naye mu mateeka gw'obusiraamu, Allah yagamba: (Olwo lwe lunaku olw’amazima. Omuntu ayagala emirembe alwetegekere afune obuddo eri Katonda we.) (Al Nabe:39). Era Allah yagamba ku kugera kwe: (Katonda tawaliriza muntu okugyako obusobozi bwe webukoma, buli mwoyo gugenda kusasulwa ebirungi byegwakola era nga bwegugenda okuvunaanwa olwebibi byegwetikka.) (Al Baqarah: 286) ne Obusobozi bwe webukoma kitegeeza Obusobozi bw'omuntu.
Ate muburiwo, buli muntu akimanyi nti alina okwagala n’obusobozi kwasinzila okola n'okuleka, era ayawula wakati w’ebyo ebibaawo olw’okwagala kwe, gamba ng’okutambula, n’ebibaawo nga tayagala, gamba ng’okukankana n’ okugwa okwo butali kugenderere. Naye okwagala n’obusobozi bw’omuddu bibaawo olw’okwagala n’obusobozi bwa Allah, Allah Omugulumivu yagamba: (Eri oyo mu mmwe aba ayagadde okulungama.Naye ate temujja kwagala okujjako nga Allah Omulezi w’ebitonde ayagadde.) (Takwiiri 28-29). Yassaawo okwagala kw’omuntu, oluvannyuma n’akakasa nti kitundu kya kwagala kwe. Olw’okuba ebitonde byonna bya Allah Omugulumivu, tewali kintu kyonna mu bwakabaka bwe ekibeerawo nga takimanyi oba nga takyagadde.
Obusobozi n’okusalawo kw’omuntu bye betololerako amateeka agafuga omuntu, ekiragiro n’okugaana, Omukozi w’ebirungi asasulwa olw’okulonda ekkubo ery’okulungama ate omukozi w’ebubi n’abonerezebwa olw’okulonda ekkubo ly’okubula. Allah Omugulumivu atuvunaana ebyo byokka bye tusobola okola, era takkiriza muntu yenna kuleka kusinza kwe nga yeekwasa okugera kwa Allah.
Oluvannyuma, mazima omuntu nga tannaba kukola kibi, aba tamanyi Allah Omugulumivu ky'eyamugerera, Allah yamuwa obusobozi n’okusalawo, era n’amutegeeza amakubo g’ebirungi n’ebibi, ela wasalawo okujeema yabayesalidewo okukola ezambi, naye ekisinga obulungi gyaali kugondera Allah (naleeka ezambi), era bw’atyo n’afuna ekibonerezo olw’obujeemu bwe.
Ebibala by'okukkiriza okugera kwa Allah:
Ebibala by’okukkiriza okugera kwa Allah n’okusalawo Kwe binene nnyo mu bulamu bw’Omusiraamu, omuli:
1- Enzikiriza entuufu mu kugera kwa Allah ekubiriza omuntu okukola n’okwegendereza n’okutangira obugayaavu.
Abakkiriza balagilwa okukola esonga ezetaagisa nga besigamidde Allah Omugulumivu, era nga bakkiriza nti esonga ezo tezivaamu alizaati okuggyako nga Allah akkiriza, kubanga Allah ye yatonda esonga zonna, era ye yatonda ebivaamu. Nabbi ebengera n’emirembe bibeere ku yye, yagamba nti: “Wettanira ebyo ebikugasa, noonya obuyambi okuva eri Allah, era tolemererwa era wotukibwako ekintu kyonna togamba nga singa kale nakoze bwenti ne bwenti , naye gamba nti: Allah bwageze era kyayagala kyakola, kubanga ‘singa’ kiggulawo oluggi lw’omulimu gwa Sitaani” (Muslim 2664). abantu abamu baali balowooza nti tekyetaagisa kukola kasita ebintu biba byategekebwa, Nabbi ebengera n'emirembe bibeere ku yye , yannyonnyola ensobi y’ekyo n’agamba nti: (Kola, kubanga buli muntu ayanguyirwa olw’ekyo kye yatondebwa . (Bukhari 4949, ne Muslim 2647). Oluvanyuma nasoma Ayyah (Mazima oyo awaayo (emmaali ye mu kkubo lya Allah), n'atya Allah (mu bigambo ne bikolwa. N'akkiriza obulungi ( nga akakasa ekigambo ky'okwawula Allah) (AL LAYLI 5-6) mpaka Ku Ayyah ( Tujja kumwanguyiza (okutuuka) Ku bwangu) (AL LAYLI 7). (Bukhari 4949, Muslim 2647)
2-Omuntu okumanya obusobozi bwe
Teyekuluntaza wadde okufuuka ow'amalala: kubanga tasobola kumanya ky'amugerelwa n’ekigenda okubaawo mu biseera ebigenda okubawo maaso, N’olwekyo, akkirizza nti Omuntu bulijjo talina ky’asobola kukola era yeetaaga Mukama we Omulezi we buli kaseela. Omuntu bw’aweebwa omukisa n'ebirungi, yeenyumiriza n’alimbibwa, era ebibi n’ebizibu bwe bimutuukako, anakuwala n’aggwamu esuubi, Naye tewali kitaasa muntu okuva eri amalala n'obujeemu mukadde nga efunye ebirungi oba mukadde nga afunye enaku n’okweraliikirira, okuggyako okukkiriza okugera kwa Allah, era nti ebyo ebibaddewo bituuseewo kulw'okugera kwa Allah era by'akulembelwa okumanya kwa Allah.
3-Mazima ye alwanisa obubi bwe nsalwa
Omukkiriza takwatiibwa bantu nsalwa olw’ebyo Allah by’abawadde olw’ekisa kye, kubanga Allah y'abagabirira era n'abegerera, era akimanyi nti mukadde kakwatirwamu abalala nsalwa, aba awakanya okugera n'ekiragiro kya Allah n'okusalawo kwe.
4-Okukkiriza okugera kwa Allah kireeta mu mutima obuvumu mu kugumira ebizibu
Era kinywezza obuvumu, kubanga kivirako omuntu okukakasa nti Okufa ne riziq byateekwebwa teekwebwa era mazima omuntu tafuuna okuggyako ekyo Allah kyeyamuwandika ko.
5-Okukkiriza okugera kwa Allah kireetela omukkiriza okukakasa obwenyini bo bukkiriza obw'enjawulo
Bulijjo anoonya obuyambi okuva eri Allah, nga yeesigamira ku Allah era amwesiga nga bw’akola ebyetaagisa, era bulijjo yekkakanya Eri Omulezi we, ng’anoonya obuyambi okusigala nga munywevu.
6- Okukkiriza okugera kwa Allah kiwa emirembe n'obutebenkevu mu mutima.
Omukkiriza akimanyi nti ekyimutuukako tekyiyinza kumusubwa, era ekyo musubwa tekyiyinza kumutuukako.