Ekitundu ekiriwo kati: ESSWALA
Omusomo Esswala eza kyeeyagalire
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Zaatumibwa erinya eryo kubanga zzo zibeera n'esswala ez'etteeka wamu; era lwaakuba ng'omusiraamu azekwaatako nyo.
Nabbi muhammadi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "teri musiraamu asaala ku lwa Allah eraaka kkumi nabbiri (12) buli lunaku nga za kyeeyagalire okujjako nga Allah amuzimbira enyumba mu jjana" (kitabo kya muslim:728)
Sunna zebayita rawaatibu
Eyitibwa bweetyo olw'ensonga nti eraaka zaayo zibeera za nsunsuuba, era nga y'emu ku sswala za sunna ezisinga okuba ez'enkizo, nabbi muhammad okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "musaale esswala ya witiri abange mwe abagoberezi ba kulaane" (kitabo kya imaam tirmidhi: 453, ne ibun maaja: 1170)
Obudde bwaayo obusinga obulungi, y'enkomerero y'ekiro, omusiraamu asaanidde okugisaala akaseera konna oluvanyuma lw'okusaala Isha okutuusizza ddala emmambya ng'esaze.
Eraaka z'esswala ya witiri
Ekisinga obulungi ekisembayo obutono raaka ssatu, asaala eraaka bbiri n'atoola ssalaam, olwo n'ayongerako endala emu naddamu n'atoola ssalaam. Era akkirizibwa mu raaka esembayo nga tannakutama oba ng'amaze okuwanika emikono gye okutuuka mu kifuba n'asaba edduwa ya kunuutu.
Eno ye sswala Allah jeyateekawo ng'esaalibwa nga ensi ekaze, ng'abantu bafunye obuzibu olw'enkuba entono, esaalibwa mu kyeererezi oba wabweeru bwekiba kisobose, naye nga kikkirizibwa okugisaalira mu muzikiti munda
Abasaaze bakubirizibwa okugenda webanasaalira nga betowaze, bakkakamu ng'ate bagonvu, mu mbeera ey'okweenenyeza Allah ng'ate bakoze ebireeta ekisa kya Allah gyebali: ng'okweenenya, okuzzaayo byebaalyazamanya, okusaddaaka, okuyisa obulungi abantu n'ebirala
Ensaala y'esswala y'okusaba enkuba
Yeeyo esswala omusiraamu gy'asaala singa aba alina ensonga emukutteko (ng'ekkirizibwa mu busiraamu) naye nga tamanyi oba erimu ekirungi oba nedda.
Esaalibwa ddi
Y'emu ku sswala eza kyeeyagalire eziriko empeera ey'amanyi, ekitono enyo zibeera raaka bbiri, n'ekiseera kyaayo: okuva ng'enjuba ejjeeyo amafumu gaayo agasooka okutuusa ng'enaatera okusala okudda ku ludda gyeegwa mu kaseera k'omuttuntu.
Kyebayita (kusuufu) y'embeera y'okubikkibwa kw'ekitangaala ky'omusana oba omweezi gwonna oba ekitundu ku ggwo etali ya bulijjo, era kko kabonero mu bubonero bwa Allah obulaga obufuzi bwe wamu n'obuyinza bwe, n'okulabula omuntu n'okumuzuukusa ave mu bugayaavu bwe, olwo nno asobole okutya ebibonerezo bya Allah era asuubire n'empeera ze.
Nabbi muhammadi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba nti: "mazima ddala enjuba n'omweezi tebibikkibwa lwa kufa kwa muntu yenna, naye bbwo bwombiriri bubonero mu bubonero bwa Allah, bwemuba mubulabye musituke musaale.