تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Obukkiriza

الدرس Okukkiriza mu bitabo

Okukkiriza mu bitabo ebyasibwa okuva eri Allah, mpagi mu mpagi z'obukkiriza. Mu ssomo lino ogenda kumanya amakulu g'okukkiriza ebitabo n'emigaso gy'abyo, ne agumu ku manya gabyo, ne kundowooza zaffe ku kubeerawo kwebimu kubyo.

  • Okumanya amakulu g'okukkiriza ebitabo n'emisago gy'abyo.
  • Okumaya eyimirira y'obusiraamu  eri ebitabo ebyo ebiliwo leero.
  • Okumanya ekyo ekikakata ku basiraamu eri Qur'an Entukuvu.

Amakulu g'okukkiriza ebitabo

Okukkiriza okunywevu nti mazima Allah Omugulumivu alina ebitabo byeyassa ku babaka be basobole okutuusa obubaka bwe eri abaddu be, era n'ebitabo ebyo bigambo bya Allah yabyongera yeyenyini mu mbeera emusaanira agulumizibwe Allah, era ebitabo ebyo mulimu amazima n'ekitangala n'ekwesiima kw'abantu ku nsi n'enkomerero.

Obukulu bw'okukkiriza ebitabo

Okukkiriza ebitabo emu ku mpagi z'obukkiriza, nga Allah Omugulumivu bwe yagamba: (Abange mmwe abakkiriza mukkirize Allah n’omubakawe, n’ekitabo kyeyassa ku mubakawe, era n’ekitabo byeyassa oluberyeberye,) (Nisa;136) Yalagila Allah okumukkiriza n'ababaka be n'ekitabo kyeyassa ku Nabbi we ebyengera n'emireebe bibeere ku ye era nga ye Qur'an. nga Bwe yalagira okukkiriza ebitabo ebyo ebyasibwa oluberyeberye lwa Qur'an.

Era yagamba Omubaka ebyengera n'emirembe bibeere ku yye ku bukkiriza:(kwe kukkiriza Allah ne bamalayika be n'ebitabo bye, ne ababaka be n'olunaku lw'enkomerero n'okugera kwa Allah ekirungi n'ekibi) (Muslim:8)

Okukkiriza ebitabo kuzingiramu kyi?

١
Okukkiriza nti mazima byasibwa okuva eri Allah.
٢
Okukkiriza nti mazima bigambo bya Allah Omugulumivu.
٣
Okukkiriza ebyo byeyatugamba Allah mu bitabo, nga Qur'an Entukuvu gye yassa ku Nabbi Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye ne Tawreeti eyo gye yassa ku Musa emirembe gibeere ku yye ne Injiri gye yassa ku Issa emirembe gibeere ku yye.
٤
Okukkiriza amawulire ge ebitabo ebyakulembera ebyo Qur'an ge yakakasa ne Hadith za Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, n'okulimbisa ago Qur'an geyalimbisa ne Hadith n'okusilika kubyo ebisingadde tetubikkiriza wadde okubilimbisa.

Ekifo kyaffe kiri ki mu bitabo ebyasibwa olubereberye?

Omusiraamu akkiriza nti Tawreeti yasibwa ku Musa, emirembe gibeere ku yye, era enjiri yasibwa ku Issa, emirembe gibeere ku ye, mazima, era nga mwalimu ensala, okubuulira n’amawulire agalimu obulagirizi n’ekitangaala eri abantu mu mpangalaa yabwe n'obulamu babwe ne nkomerero yabwe. Naye Allah Omugulumivu yatugamba mu Qur’an eyekitiibwa nti bananyini kitabo okuva mu Bayudaaya n’Abakristaayo ba'kyussa ebitabo byabwe, ne babigatta mu ne bakendeza mu, kale tekyasigala nga Allah bweyakyissa.

Tawreeti eriwo kati si ye Tawreeti eyassibwa ku Musa, emirembe gibeere ku yye, kubanga Abayudaaya bakyuusa era ne bazanyila kunsala zaayo nnyingi. nga Allah Omugulimivu bweyagamba: (Era mazima mu bo mulimu ekibinja abakyusakyusa ekitabo ne nnimi zaabwe, era mazima mulimu ekibinja kyabantu abakozesa ennimi zaabwe nebakyusa ebiri mu kitabo babalowoozese nti bya mu kitabo, so nga sibyamu. Era nebagamba nti byo byava wa Allah so nga tebivanga wa Allah, nebaba nga boogedde ku Allah ebyobulimba naye nga nabo bamanyi amazima.) (Al Imreen:78)

Mu ngeri y’emu, Injiili eriwo kati si y’emu ne Injiili eyasiibwa ku Issa, emirembe gibeere ku ye Abakristaayo bakyusa Injiili ne bakyusa amateeka gaayo, nga Allah Omugulumivu bye yayogera ku Bakristaayo: (Abange mmwe abaaweebwa ekitabo, mazima omubaka waffe yabajjira abategeeze bingi byemwaali mukweka mu kitabo, mu ngeri yeemu asonyiwe bingi, mazima kyabajjira ekitangaala n’ekitabo ekyeyolefu okuva eri Allah.) (Al Maedah:14)

Eno y’ensonga lwaki twesanga nti ekitabo ekiyitibwa Ekitabo Ekitukuvu ekiri mu mikono gy’Abakristaayo leero, ekirimu Tawreeti n’Injiili, kirimu enzikiriza nnyingi embi, amawulire ag’obulimba, n’engero ez’obulimba.

Newankubadde tukkiriza nti Tawreeti ne Injiri eziriwo leero zakyusibwa, nga Qur’an bw’egamba, Omusiraamu abiwa ekitiibwa era tabivuma wadde okubiyonoona. Kubanga biyinza okubaamu munda mu byo ebisigalira ebimu eby’ebigambo bya Allah ebitakyusibwa.

Kiki ekyeteekwa gy'etuli eri Quran Entukuvu?

١
Kitukakatako okwagala Qur’an, okujigulumiza n’okugiwa ekitiibwa kyaayo, kubanga by'ebigambo by’Omutonzi Owekyitibwa, era by'ebigambo ebisinga okuba eby’amazima era ebisinga obulungi.
٢
Kitukakatako okugisoma , nga tufumiitiriza ku nnyiriri zaayo n’essuula zaayo, nga tufumiitiriza ku kubuulira kwa Quran, amawulire, n’emboozi, n’okwekenneenya obulamu bwaffe nga tugitunuulira tusobole okwawula amazima ku bulimba.
٣
Kitukakatako okugikorelako, okugoberera Amateeka gaayo, okugoberera ebiragiro byayo, okwewala ebikugira, okunywerera ku mpisa zaayo, n’okugifuula engeri yaffe ey’obulamu.

Aisha Allah amusiime bwe yabuuzibwa ku mpisa za Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yagamba nti: “Empisa ze zaali Qur’an” (Ahmad 24601).

Amakulu ga Hadith: Omubaka ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, mu bulamu bwe, mu bikolwa bye, ne mu bigambo bye, kwe kukozesa enkola n’amateeka ga Qur’an , Nabbi ebyengera n'emireebe bibeere ku yye, yatuuka ku butuukirivu bw’okugoberera obulagirizi bwa Qur’an, era ye kyakulabirako kirungi eri buli omu ku ffe, nga Allah Omugulumivu bwe yagamba: (Mazima mulina mmwe mu Mubaka wa Allah ekyokulabirako ekirungi eri oyo abeera nga akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero, era naayogera nnyo ku Allah nga amutendereza.) (Al Ahzab:21)

Okwanguyiza okukwata n’okusoma Quran Entukuvu mu bitundu by’ensi byonna, wadde nga waliwo enjawulo mu nnimi n’embeera z’abakwata mu mutwe; Ekimu ku bukakafu obusinga obukulu obulaga nti Allah yakuuma ekitabo kino ekinene

Ebirungi n’ebweyawuridde Quran Entukuvu:

Quran Entukuvu bye bigambo bya Allah Omugulumivu, ekyasibwa Ku Nabbi waffe Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere Ku yye era eky'okulabirako kyaffe, N’olwekyo, omukkiriza assa ekitiibwa mu kitabo kino era afuba okunywerera ku amatteka gaakyo, okukisoma, n’okukifumiitirizako. Kitumala nti Qur’an eno y’etulungamya mu nsi era y’ensonga etuleetera okutuuka ku buwanguzi mu nkomerero. Qur’an Entukuvu erina ebirungi bingi n’engeri eziwera ezigyawula ku bitabo eby’omu ggulu eby’edda, omuli:

1- Qur’an Entukuvu erimu omusingi gw’ensala z’obwakatonda.

Kyajja okuwagira n’okukakasa ebyo ebyayogerwa mu bitabo eby’emabega ebikwata ku kiragiro ky’okusinza Allah yekka. nga Allah Omugulumivu bwe yagamba; (Era twassa gyoli (Ggwe Muhammad) ekitabo, mu bulambulukufu nga kikakasa e bitabo byonna e byakikulembera era nga kye kibisukkulumye.) (Al Maedah:48). namakulu: (Nga kikakasa byonna ebyakikulumbera mu bitabo): kitegeeza Kikkiriziganya n’ebyo ebyayogerwako mu mawulire g’ebitabo eby’emabega, n’ebyo ebyayogerwako mu byo eby’enzikiriza, n’amakulu ga (n’omukuumi ku byo): kwe kugamba, omukwasi era omujulizi ku ebyo (ebyawandiikibwa) ebyajja mu maaso okuva mu bitabo.

2- Mazima kikakata ku bantu bonna wamu n'okwaawukana kwe nnimi zaabwe n'emisaayi gya'abwe (amawanga age njawulo) okukikkiriza.

Era okukola okusinziira ku kyo, ne bwe kiba nti ekiseera kyabwe kyalwawo kitya oluvannyuma lw’ekiseera ky’asibwaamu Qur’an, okwawukanako n’ebitabo eby’emabega ebyali eby’abantu abagere mu kiseera ekigere Allah Omugulumivu yagamba nti: (era naweebwa Kur’ani eno nga bubaka mbe nga mbatiisa nayo n’abo beerituukako abatali mmwe) (Al anaam:19)

3- Mazima Allah Omugulumivu yeyamaa okukuuma Qur'an Entukuvu

Omukono ogw’okukyusakyusa tegwagituukako, era tegujja kugituukako, nga Allah Omugulumivu bwe yagamba: (Mazima ffe, ffe twassa ekijjukiza (Kur’ani) era mazima ffe tujja kugikuuma.) (Al Hijri:9). N’olwekyo, amawulire gaayo gonna mazima era galina okukkirizibwa.

Okukkiriza ebitabo kilina ebibala ebingi nyo mubyo mulimu:

١
Okumanya okufaayo kw'Allah eri abaddu be n’okusaasira kwe , nga bwe yaweereza buli ekibina ekitabo ekibalungamya n’okubaleetera essanyu mu nsi n’enkomerero.
٢
Okumanya ekigendererwa kya Allah mu mateeka ge, nga bwe yalagira buli bantu (buli mulembe) ekituukagana n’embeera zaabwe era ekituukagana n’abantu baabwe, nga Allah Omuguluminu bwe yagamba: (buli bamu mu mmwe twabawa amateeka n'enkola) (Al Maeda:48)
٣
Okwebaza Allah kulw'ekyengera ky'okussa ebitabo bino, kubanga ebitabo bino bitangaala era bilungamya mu nsi n’enkomerero, n’olwekyo kyetaagisa okwebaza Allah olw’ekyengera kino ekinene.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار