تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Obukkiriza

الدرس Okukkiriza Amanya ga Allah n'ebitendo Bye.

Okumanya Allah Omugulumivu n’amannya ge amalungi n'ebitendo bye eby'awaggulu, n’okusinza Allah okusinziira ku byetaago byabwe, kye kimu ku emilimu egyisinga obunene egy’ongera ku bukkiriza. Mu ssomo lino ojja kuyiga ebimu ku ebyo.

  • Okumanya okwawula Allah mu manya n'emubitendo bye.
  • Okumanya ezikkiriza yaba Ahli Sunnah wal Jammae ku manya n'ebitendo bya Allah.
  • Okumanya agamu ku makulu ga manya ga Allah Omugulumivu.

Okukkiriza Amanya ga Allah n'ebitendo Bye.

Qur’an yassa essira eri okumanya kw’abaddu Mukama waabwe era Omutonzi waabwe era kino yakiddiŋŋana mu Aya nnyingi. Kubanga Omusiraamu alina okumanya Mukama we amannya ge amalungi n’ebitendo by'obukulu n’obulungi by’atendebwa nabyo, ekitiibwa kibeere gy’ali, asobola (omukkiriza) okusinza Allah n’okutegeera n’okugoberera ebisaanyizo by’amannya ago n’engeri yogakozesa mu bulamu bwe n’okusinza kwe.

Omusiraamu akkiririza mu ebyo Allah bye yeekakasako mu kitabo kye oba Sunnah z’omubaka we ebyengera n'emirebe bibeere ku yye, mu mannya n’ebitendo mu ngeri esaanira Allah Omugulumivu.

Allah Omugulumivu alina amannya agasinga obulungi n’ebitendo ebisinga obujjuvu, era talina kimufaana mu mannya ge n’ebitendo bye, nga Allah Omugulumivu bwe yagamba nti: (tewali kintu kiringa yye, era yye ye muwulizi ennyo omulabi ennyo.) (Ash-Shura: 11). Allah Omugulumivu ali wala nnyo okufaanana ekitonde kye kyonna mu mannya ge gonna n’ebitendo bye.

(Bagambe nti musabe Allah oba musabe omusaasizi, erinnya (lye) mukozesa nga mumusaba likola, anti alina amannya agasinga obulungi) (Al Israe:110)

Wano tugenda kulaba agamu ku mannya ga Allah Omugulumivu.

Omusaasizi oweekisa ekingi, Omusaasizi oweekisa ekyenjawulo

Amannya gano abiri ge gano Allah ge yatandika nago okuggulawo Ekitabo kye era n’ekintu Allah Omugulumivu kye yasooka okweyanjula nakyo eri baddu be, era essuula zonna eza Qur’an Entukuvu zitandika ne bigambo bino: (Ku lw’erinnya lya Katonda omusaasizi oweekisa ekingi, omusaasizi oweekisa ekyenjawulo), okujjako Surat At-Tawbah.

Mazima Omulezi waffe yatuwa obulungi bwe yewandikako okusaasira, era okusaasira kwe kuzingiramu buli kimu, n’okusaasira kw’ebitonde eri bannaabwe ne okusaasira kwa maama eri omwana we, n’okugabira ebitonde emmere si kirala wabula ebiva mu kusaasira kwa Allah ku bitonde bye, nga Allah bwe yagamba nti: ( Tunuulira olabe ebiva mu kusaasira kwa Allah engeri gyawa ettaka obulamu oluvanyuma lw'okufa kwalyo.) (Ar-Rum: 50).

Hadithi nga eva ku Umar ibn al-Khattab Allah amusiime: (Abasibe abamu bajja eri Nabbi ebyengera n,emirembe bibeere ku yye, era mu bawambe (abasibe) mwalimu omukazi eyali akama amabeere ge n’aganywa. Bwe yasanga omwana mu bawambe, n’amutwala, n’amunyiga ku lubuto lwe, n’amuyonsa. Nabbi ebyengera n,emirembe bibeere ku yye n'atugamba: mulowooza omukazi ono yandisudde omwana we mu muliro?” Twagamba nti: Nedda, era tasobola musuula. Yagamba nti: Allah asaasira nnyo abaddu be okusinga omukazi ono bw'asaasira omwana we (Al-Bukhari 5999, ne Muslim 2754).

Okusaasira kw’Omutonzi, Kusukkulumu nnyo, kintu kirala, ekinene era eky’okugulumizibwa, era kisukka okubalirira kwonna, okuteebereza, oba okulowooza. Singa abaddu baali bamanyi ekigero ky’okusaasira kwa Allah Omugulumivu, tewali yandi weddemu ssuubi olw’okusaasira kwe.

N'okusaasira kwa Allah kulimu ebika bibiri:

١
Okusaasira okwe bitonde byonna abantu n'ebisolo n'ebitatambula bitamburila ku kusaasira kwe mu nsi, nga Allah bwe yagamba ku kusaba kwa Bamalaika: (Mukama waffe Wabunyisa ne weetoolooza buli kintu okusaasira Kwo n'okumanya (Kwo)) (Ghafir:7).
٢
Okusaasira okweyawurinde abaddu be abakkiriza, abanguyiriza okumugondera era nabanguyiriza okola obulungi era n'abubanywezebwako kulwo kusaasira najjuza ekisa kye n'okubasonyiwa era n'okubayingiza ejjana n'okubataasa omuliro nga Allah Omugulumivu bwe yagamba: (Era bulijjo musaasizi eri abakkiriza.Salaamu kye kiriba ekiramuso kya bwe (okuva ewa Allah) olunaku lwe balimusisinkana, era yabategekera empeera ennungi.) (Ahzaab;43-44).

Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye yagamba nti: “Tewali muntu aliyingira mu Jjana olw’ebikolwa bye.” Ne bagamba nti: “ wadde gwe Omubaka wa Allah?” Yagamba nti: “wadde nze, okuggyako nga Allah ambisse n’okusaasira okuva gy’ali.” (Bukhari 6467, Omusiraamu 2818)

Ebikolwa by’omuddu eby’obuwulize gye bikoma okuba ebinene n’okusemberera kwe n’obwetoowaze eri Omulezi we, n’omugabo gwe ogw’okusaanira okusaasira kuno gye kukoma okuba omunene, nga Omugulumivu bwe yagamba nti: (Mazima okusaasira kwa Allah kuli kumpi n’abakola ebirungi) (Al-A’raf: 56).

Awulira ennyo Alaba ennyo:

Allah Omugulumivu awulira amaloboozi gonna wadde nga ennimi zaawukana n’ebyetaago byabwe nga by'anjawolo, ka bibeere bya kyama oba bya lujjudde. Abamu ku batamanyi balowooza nti Allah Omugulumivu tawulira byama byabwe n’emboozi zaabwe ezikwese, Allah Omugulumivu yassa ekigambo (Ayyah) ng’abanenya: (Oba balowooza nti tetuwulira byama byabwe n’emboozi zaabwe ez’ekyama? Weewaawo, era n’ababaka baffe bali nabo, nga bawandiika.) (Az-Zukhruf: 80)

Allah Omugulumivu alaba buli kimu, ne bwe kiba kitono kitya. Tewali kintu kyonna kimwekweka, ekitiibwa kibeere gy’ali. Ibrahim emirembe gibeere ku yye, yavumirira kitaawe olw’okusinza ekifaananyi ekitawulira wadde okulaba, bwatyo n’agamba, nga bwe kiri mu Qur’an: (Mujjukire (Ibrahim) bwe yagamba Kitaawe nti owange Taata lwaki osinza ebitawulira, era ebitalaba, era ebitayinza kukugasa mu kintu kyonna.) (Mariam: 42).

Omuddu bw’amanya nti Allah awulira nyo era alaba nyo, wadde obuzito bwa atomu mu ggulu oba ku nsi tebumukwekwa, era nti amanyi ekyama n’ekisinga okukwekebwa, kino kijja kuvaamu okwekuuma Allah Omugulumivu, kale ajja kukuuma olulimi lwe obutagwa mu bulimba n’okuvuma, era akuume ebitundu bye n’okuserengeta kw’omutima gwe okuva ku buli ekyo ekinyiiza Allah, era ajja kukozesa ebyengera ebyo n’obusobozi obwo olw’ebyo Allah by’ayagala era by’asanyukira, kubanga y’oyo amanyi ekyama kye n’ebyo eby’olukale, eby’okungulu n’eby’omunda. Olw’ensonga eno, Nabbi ebyengera n'emirembi bibeere ku yye yagamba nti: (Ihsan kwe kusinza Allah ng’olinga amulaba, era bw’otomulaba( wadde tomulaba), mazima ye akulaba.) (Obukhari 4777)

Omulamu lubeerera, Eyeyimirizaawo:

Allah alina obulamu obutuukiridde obujjuvu obutakulemberwa butabeerawo era obutagobererwa kuvaawo oba kuzikirizibwa era nga tebukosebwa bbula oba obulema. Mukama waffe agulumizibwa era atukuzibwa, obulamu obwetaagisa okutuukirizibwa kw’ebitendo bye ebijjuvu, gamba ng’okumanya, okuwulira, okulaba, amaanyi, okwagala, n’ebitendo bye ebilala , ekitiibwa kibeere gy’ali. Era oyo yenna ali bw’ati agwanidde okusinzibwa, okutamirira(rukuh), n’okwesigamizibwa, nga Allah bwe yagamba nti: (Era weekwate ku mulamu oyo atafa, era otendereze ebitendo bye) (Al Furqan:58)

Amakulu g’erinnya lya Allah, Al-Qayyum, galaga ebintu bibiri:

١
Obujjuvu bw’obugagga bwe, Musukkulumu nnyo , kwe kuba nti yeeyimirizaawo era nga yeetongodde ku bitonde bye, nga Allah bwe yagamba nti: (Abange mmwe abantu mmwe beetaavu eri Allah ate yye Allah y'atalina bwetaavu atenderezebwa ennyo.) (Fatir: 15). Ye, Omuyinza w’ebintu byonna, yeetongodde ku bitonde bye mu buli kimu. Obuwulize bw’omuwulize tebumugasa, era n’obujeemu bw’omujeemu tebumukosa, nga Allah Omugulumivu bwe yagamba: (Oyo yenna alafuubana (okuweereza Katonda) mazima yeelafuubanira ku lulwe mazima Katonda talina kye yeetaaga ku bitonde.) (Al-Ankabut: 6). Era yagamba ku lulimi lwa Musa emirembe gibeere ku ye nti: (Musa na'gamba nti singa mmwe mukaafuwala n'abantu bonna abali mu nsi, mazima Katonda talina kye yeetaaga eri muntu yenna era yye y'atenderezebwa.(Ibrahim: 8).
٢
Obujjuvu bw’amaanyi ge n’okuddukanya ebitonde bye, kubanga y’oyo abiyimirizaawo n’amaanyi ge, ekitiibwa kibeere gy’ali, era ebitonde byonna byavu era bimwetaaga, era tebisobola kukola awatali ye wadde okuziba kw’eriiso. Kye tulaba ku nsengeka y’obutonde bwonna n’enkola y’obulamu si kirala wabula ebiva mu kweyimirizaawo kwe, ekitiibwa kibeere gy’ali, ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo bwe yagamba, ng’avumirira abo abagatta abalala ne Allah: ( Oyo Ye (Katonda), ayimiridde Ku buli mwoyo (okukuuma) ekyo Kye gukoze (afaanana nga abo abalala abatalina Kye bamanyi)?)(ArRaad 33) Ela Allah Omugulumivu n'agamba: (Mazima Katonda awanirira eggulu omusanvu n'ensi bibe nga tebivaawo era singa bivaawo teyandibiwaniridde omulala yenna oluvanyuma lwe) (Al Fatiir:41)

Eno y’ensonga lwaki okugatta amannya amanene abiri kulina ekifo eky’enjawulo mu kwegayirira n’okusaba. Ekimu ku kwegayirira kwe, ebyengera n'emirembe bibeere ku yye kyali nti: (Ggwe Omulamu, Ggwe eyeeyimirizaawo, olw’okusaasira Kwo noonya obuyambi) (Al-Tirmizi 3524).

Ebibala bw'okkukiriza amanya ga Allah n'ebitendo bye

١
Okumanya Omugulumivu, oyo yenna akkiririza mu mannya n’ebitendo bya Allah ajja kwongera okumanya kwe Allah Omugulumivu, kale okukkiriza kwe mu Allah kujja kweyongera mu bukakafu, n’okwawula kwe Allah kujja kunywezebwa. Kituufu oyo yenna amanyi amannya n’ebitendo bwa Allah omutima gwe gujjula okugulumizibwa, okwagala, n’okugondera gy’ali, ekitiibwa kibeere eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
٢
Okutendereza Allah n’amannya ge amalungi, era kino kye kimu ku bika by’okujjukira ebisinga obulungi. Allah Omulumivu yagamba nti: (Abange mmwe abakkiriza mwogere ku Katonda nga mumwogerako nnyo) (Al Ahzab: 41)
٣
Okusaba Allah n’okumwegayirira n’amannya ge n’ebitendo bye, nga bwe yagamba: (Era Katonda alina amannya amalungi, kale mugamusabise,) (Al-A’raf: 180). Ekyokulabirako ku kino kwe kugamba nti: Ayi Omugabi, nfunira, Ayi Omukkiriza Okwenenya, kkiriza okwenenya kwange, era Ayi Omusaasizi ennyo, onsaasire.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار