Ekitundu ekiriwo kati: OKWEETUKUZA
Omusomo Ekizuusi ekinene wamu n'okunaaba
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Ebikakasa ku muntu okunaaba
1.Okuvaamu amazzi agazaala
2. Okwegatta (mu nsonga ez'ekikulu)
3. Omukyaala okugenda mu nsonga (hayidhi), oba okuva mu musaayi gw'okuzaala (nifaasi)
Obusiraamu bwaawewula ku mukyaala ali mu nsonga oba nifaasi obutasaala n'obutasiiba ennaku zabeera ng'avaamu omusaayi ogwo. Naye baliwa ennaku zebaba tebasiibye, naye tebaliwa sswala zebataasaala
Okweegatta n'omukyaala ali mu nsonga oba nifaasi
Mu kunaaba, kimala omusiraamu okuleeta enniya y'okweetukuza n'anaaba n'omubiri gwe gwonna n'amazzi.
Ekisinga obulungi kweekunaaba nga Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bwe yanaaba nga, yali nga bwanaaba okwejjako jjanaba anaaba ebibatu bye, olwo nanaaza obwereere bwe nebitundu ebyakyaafuwadde olwa jjanaba ng'ebisambi, oluvanyuma n'afuna wuzu nga jaafuna ng'agenda okusaala, oluvanyuma nanaaaza omutwe gwe n'amazzi emirundi esatu, oluvanyuma nanaaba omubiri gwe ogusigadde.
Omusiraamu bwanaaba jjanaba, ekyo kimumalira nebwaatafuna wuzu, era tekimukakatako kufuna wuzu ng'anaabye, naye ekisinga obulungi kw'ekunaaba nga ne wuzu ojifunye nga bweyali enkola ya nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye.