Ekitundu ekiriwo kati: OKUFA N'OKUWEREKERA OMUFU
Omusomo Okunaaza omufu n'okumuzinga mu ssanda
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Ebikubirizibwa okukola ng'omuntu afudde
Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyayingira ewaali omulambo gwa swahaba ayitibwa Abu Salama ng'amaaso ge geebikudde yagazza n'agamba: "bwemubeera ku bafu bammwe muzze amaaso gaabwe" (ibun maaja 1455).
2. Okugumiikiriza n'okweefuga
Nga nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyakola nga swahaba we abu salama afudde, yagamba nti: "mazima omwooyo bweguba gutwaalibwa amaaso gagugoberera" oluvanyuma n'agamba nti: "Allah nsaba osonyiwe abu salama, era omusitule amadaala mwaabo bewalungamya, era obeere omusigire we mu bantu be baalese, era otusonyiwe ffe naye owange gwe omulezi w'ebitonde, omugaziyirize ne mu ntaana ye omuteeeyo n'ekitangaala" (muslim:920)
Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "mwanguye okuteekateeka omufu, bwaba nga mulongoofu muba mumutwaala mu birungi, ate bwaaba nga ssi mulongoofu, kiba kibi kyemujja ku bibegaabega byammwe" (bukhari:1315, muslim:944)
5. Okuyamba ku bafiirwa
Kikakata okunaaza omufu nga tannazingibwa mu ngoye yadde okuziikibwa, era anaazibwa omu ku bantu be, oba ab'enganda be, oba omusiraamu omulala, nabbi muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye bweyafa yanaazibwa wadde nga yye yali mutukuvu eyatukuzibwa.
Kimala mu kunaaza omufu okubunya omubiri gwe gwonna amazzi, n'agyiibwaako ebikyaafu (nagisi) singa ebaako, naye nga obweereere bwe buba bubikkidwa mu kaseera k'okumunaaza, era kikubirizibwa okussa essira ku nsonga zino wammanga:
1. Okubikka obweereere okuva ku kkundi okutuuka ku maviivi, oluvanyuma kw'okumujjamu engoye ezisigadde.
2. Agenda okunaaza okuteeka gilaavuzi oba akagoye ku kibatu kye, ng'anaaza obweereere bw'omufu.
3. Okutandikira ku kujja obukyaafu ne nnagisi eba eri ku mufu.
4. Oluvanyuma anaaza ebitundu bye ebya wuzu mu nsengeka emanyiddwa.
5. Oluvanyuma anaaza omutwe gwe n'omubiri gwe gwonna, era kikubirizibwa okumunaazisa ssidiri (bikoola biva ku muti ogumu), oba sabbuuni, oluvanyuma amuyiwako amazzi.
6. Kikubirizibwa okumunaaza ng'atandikira ku ludda lwe olwa ddyo, oluvanyuma n'adda ku lwa kkono.
7. Kikubirizibwa okumunaaza emirundi esatu oba okusingawo singa kiba kyeetagisizza.
8. Tusobola okuteeka akagoye oba ppamba oba ebifaananako bweebityo
Mu kiseera ky'okumunaaza n'oluvanyuma lwaakyo, era nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yalagira abaali banaaza muwala we zainab okuteeka mu mazzi g'olunaaza okusembayo kaafuur (kyaali kika kya kawoowo). (Hadith eri mu kitabo kya bukhari:1253, ne muslim:939)
Ani anaaza omufu?
Aisha mukyaala wa nabbi yagamba: "singa nnamanya oluberyeberye tewali yandinaazizza nabii okujjaako bakyaala be" (abu dawuda:3141, ibun maaja:1465)
Okuzinga omufu mweebyo ebimubikka ky'ekimu ku bivunanyizibwa by'omufu eri abantu be wamu n'abasiraamu, era nga kyo kyatteeka eky'okumalira (abamu bwebakikola bamalira abalala) nga nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyagamba: "mwambale mu byambalo byammwe ebyeeru, kubanga zzo z'engoye zammwe ezisinga obulungi, era muziziikemu abafu bammwe" (abu dawuda:3878).