القسم الحالي: OKUSIIBA
الدرس Okusiiba Ramadhan
Allah yalaalika ku basiraamu okusiiba omweezi gwa ramadhan ogw'omukisa, omweezi gumu gwokka mu mwaaka, era Allah n'afuula okugusiiba empagi ey'okuna mu busiraamu kwebwazimbibwa, Allah ow'ekitiibwa yagamba: "abange mwe abakkiriza kulaalikiddwa ku mmwe okusiiba nga bwekwalaalikibwa ku abo abaabasooka oba oly'awo ne mutya Allah". (Essuula 2:183).
Okusiiba mu busiraamu kitegeeza: okusinza Allah ng'oyita mumbeera y'okweeziyizako okulya n'okunywa, n'okwegatta mu nsonga z'obufumbo wamu n'ebisiibulula ebisigadde okuviira ddala kumakya ng'emambya ey'amazima (ey'okubiri) esaze ng'era ako k'ekaseera k'okusaaliramu esswala ya subuhi okutuusiza ddala ng'enjuba oguddeyo, era ng'ako keekaseera k'esswala ya magharibi (ey'okusaawa emu akawungeezi).
Obukulu bw'omweezi gwa ramadhan.
Omweezi gwa ramadhan, gw'emweezi ogw'omwenda mu mwyeezi (egy'obusiraamu) egitambulira ku mbala ey'omweezi, era nga ramadhan gw'emweezi ogusinga obulungi mu mwaaka, Allah yagwaawula n'ebirungi bingi ku myeezi emirala, nga mu birungi ebyo mweemuli:
Allah ow'ekitiibwa yagamba: "omweezi gwa ramadhan ogwo ogwakkiramu kulaane ku lw'okulungamya abantu n'okunyonyola obulungamu era enjawuzi (eyawula wakati w'amazima n'obulimba), n'omuntu aba aliwo mu mweezi ogwo ateekwa agusiibe" (essuula 2:185)
Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "omweezi gwa ramadhan bwegutuuka emiryango gy'ejjana giggulwaawo, emiryango gy'omuliro negiggalwaawo, era ne shayaatwiin nezisibwa ku njegere" (hadith eri mu kitabo kya bukhari:377, ne muslim:1079),Allah yaguteekerateekera abaddu be bakole ebirungi era beesonyiwe ebitamwa.
Nabbi muhammadi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "omuntu asiiba omweezi gwa ramadhan ng'akikola lwa bukkiriza n'okusuubira nti Allah ajja kumusasula empeera ye, Allah amusonyiwa amazambi geyakulembeza" (hadith eri mu kitabo kya bukhari:2104, ne muslim: 760), Era yagamba: "omuntu ayimirira ekiro ng'asaala mu ramadhan, lwa bukkiriza n'okusuubira mpeera ye, Allah amusonyiwa ebyonoono bye ebyaakulembeza" (hadith eri mu kitabo kya bukhari:2009, ne muslim:759).
Nga kyeekyo ekiro Allah kyeyatubuulirako mu kitabo kye kulaane nti omulimu omulungi ogukolebwa mu kkyo gusinga omulimu ogukolebwa emyeezi lukumi, Allah yagamba: (ekiro ky'okugera kirungi okusinga emyeezi lukumi" (essuula kadiri:3), ng'ekiro ekyo tekyategerebwa (nti kyeekino) mu biro ekkumi ebisembayo mu ramazan, omuntu ayimirira ekiro ekyo ng'akikola ku lwa bukkiriza n'okusuubira mpeera ya Allah asonyiyibwa ebyonoono bye eby'asooka.
Obulungi bw'okusiiba
Okusiiba kulimu ebirungi bingi nga bwe byajja mu busiraamu, nga mu byo:
Okusonyiyibwa kw'ebyonoono
Omuntu asiiba ramazan ng'akikola ku lwa kukkiriza mu Allah, era n'akuteeka mu nkola biragiro bye, n'akukakasa ebyo ebyajja mu bulungi bwaakwo, ng'era asuubira empeera za Allah, Allah amusonyiwa ebyonoono bye ebyasooka, nga nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bwe yagamba: "oyo yenna asiiba ramazan ku lwa bukkiriza mu Allah, wamu n'akusuubira mpeera za Allah, Allah amusonyiwa ebyonoono bye ebya kulembera" (eri mu kitabo kya bukhar:2104, ne muslim :760)
Nga nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bwe yagamba: "omusiibi asanyuka ensanyuka bbiri: olusanyuka ng'asiibulukuka, n'olusanyuka ng'asisikanye Allah we" (eri mu kitabo kya bukhari:1904, ne muslim:1151).
3. Mu jjana mulimu omulyango baguyita rayyan, teri aguyingira okujjako abasiibi.
Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "mazima mu jjana waliyo omulyango baguyita rayyaan, bajja kuyingirira mu ggwo abasiibi bokka ku lunaku lw’enkomerero, kijja kugambibwa: abasiibi baliwa? basituke bayingire, teri ajja kuguiytamu okujjako bbo, bwebanaayingira nga guggalwa waleme kuddamu kubaayo mulala aguyingiriramu" (hadith eri mu bukhari:1896, ne muslim:1152)
4.mazima Allah ye yeeyama okusasula empeera y'omusiibi.
Oyo anaaba nga obuddiro bwe, n'empeera ye ng'eri ku Allah oyo omugabi era omusaasizi, oyo asaanidde okulindirira ebirungi ebyereere Allah byeyamutegekera, nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba mu hadith kudus eva ewa Allah: "buli mulimu gw'omwaana Adaam gugwe, okujjako okusiiba, mazima kwo kwange era nze ngenda okusasula empeera yaakwo" (eri mu kitabo bukhari:1904, ne muslim:1151).
Ebigendererwa ekiri mu kuteekawo okusiiba.
Allah yalaalika okusiiba ku lw'ebigendererwa n'emigaso mingi egidda ku ludda lw'eddiini wamu n'obulamu bw'edduniya, era mu jjo:
Ku lw'ensonga nti okusiiba kikolwa kya kusinza omuntu kyaayitiramu okusembera eri Allah, ng'aleka ebyo byaayagala, n'okukkakanya n'afuga obwaagazi bwe yadde nga tebugaanibwa mu bulamu bwa bulijjo, nga bino abikola lwa kuteeka mu nkola biragiro bya Allah n'akweewala byeyagaana.
Mazima okweeziyiza kw'omusiibi okuleka ebyo ebyaamukkirizibwa ng'ateeka mu nkola kiragiro kya Allah ow'ekitiibwa, kimuleetera okuba nga asobola okufuga obwaagazi bw'omwooyo gwe wamu n'obutakola byonoono n'amazambi.
Kino kibeerawo mu mbeera y'okuba nti omusiibi ayitako mu mbeera enkambwe ey'okuba ng'atolina wamu n'enjala, era kijjukiza n'abaavu abo abawangaalira mu mbeera enzibu, era omuddu omusiibi yejjukiza baganda be abaavu, na ngeri ki gyebawuliramu enjala n'enyonta, olwo n'afuba okulaba ng'abayambako.