Ekitundu ekiriwo kati: OKWEETUKUZA
Omusomo Okufuna wuzu
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Obulungi bwa wuzu
Nfuna ntya wuzu nennejjako ekizuusi ekitono?
Okunuyirira
Anaaba ebibatu bye n'amazzi (ekikubirizibwa gibere emirundi esatu)
Ayumunguza mu kamwa n'amazzi, ekitegeeza nti ayingiza amazzi mu kamwa nagazanyisa munda mu kamwa oluvanyuma n'agawanda, kikubirizibwa okukikola emirundi esatu, wadde nga eky'etteeka kukikola mulundi gumu.
Asika amazzi nagayingiza mu nyindo, oluvanyuma naagafulumya ng'akozesa omukka gwassa. Kikubirizibwa okusika enyo amazzi ng'agayingiza mu nyindo waggulu, okujjako singa kiba kimukosa oba nga yasiibye, era kikubirizibwa okukikola emirundi esatu, wadde nga ekyetteeka mulundi gumu.
Anaaba ekyenyi kye, era nga kiba kiva enviiri wezitandikira okutuuka wansi w'akalevu obuwanvu, era n'okuva ku kutu okudda kukulala mu bugazi.Amatu tegabalibwa mu kyenyi, era kikubirizibwa okukikola emirundi esatu wadde nga ekyetteekwa mulundi gumu
Anaaba emikono gye okuva ku bugalo bwe webutandikira okukoma ku bukokola webukoma. Kikubirizibwa okutandikira ku mukono ogwa ddyo, n'okunaaba emirundi esatu, wadde nga ekyetteeka mulundi gumu.
Atobya engalo ze n'amazzi olwo n'aziyisa mu mutwe, okuva wegutandikira mpaka jegukoma (ensingo weetandikira). Era kikubirizibwa okuyisaamu ng'ava gyegutandikira ku kyenyi mpaka gyegukoma era n'akomyaawo gyegutandikira, naye wano tekikuburizibwa kukikola mulundi gusukka mu gumu nga bwekiri ku biyungo ebirala.
Ayisa ku matu ge kungulu n'ebigalo bye ebisajja ate munda n'engalo ze ezisonga, kino akikola oluvanyuma lw'okuyisa mu mutwe nga akozesa amazzi genyini agasigadde mu ngalo ze ng'ayisa mutwe.
Anaaaba ebigere bye mpaka waggulu w'obukongovule, atandikira ku gwa ddyo, era nga kikubirizibwa okuganaaza emirundi esatu, wadde nga ekyetteekwa guba mulundi gumu. Naye bwaaba ng'ayambadde ssitookisi, olwo akkirizibwa okuziyisaako ku ngulu nga tazijjeemu (naye kino kirina amateeka agakifuga ag'enjawulo).