تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: ESSWALA

الدرس Amakulu g'essuula al-faatiha

Okusoma Al-faatiha zeezimu ku mpagi enkulu enyo eziyimirizaawo esswala. Ogenda kutegeera mu musomo guno amakulu g'essuula eno

  • Okutegeera amakuula ga aya z'essuula al-faatiha

Essuula al-faatiha etegeeza ki

Okusoma essuula al-faatiha zeezimu ku mpagi enkulu enyo mu sswala, era tetuuka nga tesomeddwa.

Ntendereza Allah n'ebitendo bye byonna, n'ebikolwa wamu n'ebyengera bye ebyeeyolese n'ebyeekweese, nga ngasseeko okumwaagala n'okumugulumiza, omulezi yooyo omutonzi nyini bufuzi atambuza ensonga zonna era nyini kugaba byengera, (al-aalamiina) buli kitali Allah mu bitonde nga abantu, amajinni, malayika, ebisolo, n'ebirala ebisigadde.

Amanya abiri mu manya ga Allah, Arrahman kitegeeza nyini kusaasira okubuna buli kimu, ate Arrahim yooyo alina ekisa ekidda eri abaddu abakkiriza bokka.

Al-maalik: oyo nyini bufuzi ku lunaku lw’enkomerero oluliko okubala n'okusasula, era nga mweekyo mulimu okujjukiza omusiraamu ku lunaku lw'enkomerero n'okumukubiraza okukola emirimu emirongoofu.

Tukwaawula gwe mulezi waffe Allah mu kusinza, era tetukugattako kintu kyonna mu ngeri yonna ey'okusinza, era obuyambi bwonna tubusaba gwe wekka mu nsonga zaffe zonna, ebiragiro byonna biri mmikono gyo, teri alinako yadde akatono enyo.

Allah tulungamye era otuteebesa ekkubo eggolokofu era olitunyweerezeeko okutuusa lwetulikusisinkana, nga n'ekkubo eggolokofu eryoogerwaako ye ddiini busiraamu etuusa omuntu ku kusiimibwa kwa Allah ne jjana ye, era lyeelyo nabbi muhammadi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye oyo eyasembayo mubatume lyeyatulaga, era omuddu tasobola kweesiima okujjako nga yenyweerezza ku kkubo eryo.

Eryo ekkubo lyaabo bewawa ebyengera by'obulungamu n'okubunyweererako mu ba nabbi bo wamu n'abo abolongoofu abo abaategeera amazima era nebagagoberera, ate era tusaba otusembeze wala era otutaase ekkubo lyaabo bewasunguwalira, kubanga bbo baategeera amazima naye nebatagakolerako, ate era tusembeze wala okuva eri ekkubo lyaabo abaabula olw'obutategeera mazima ku lw'obutamanya bwaabwe.

Wuliriza okusomebwa kw'essuula al-faatiha

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار