تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Okufa n'okuwerekera omufu

الدرس Obw'enyini bw'okufa n'obulamu

Allah ow'ekitiibwa yatutonda era n'atuteeka mu bulamu bw'ensi atugezese , era ensonga z'omuntu tezikomekkerera na kufa kwe, naye ekiseera ky'ekigezo ky'ekiba kikomye, olwo atandike omutendera ogusookera ddala mu bulamu bw'enkomerero abantu gyebagenda okusisinkana ebyaava mu mirimu gyaabwe gyebaakola ku nsi. Mu musomo guno ogenda kumanya ebimu ku bikwaata ku kufa wamu n'obulamu.

  • Okumanya obutuufu bw'obulamu n'okufa.
  • Okutegeera amateeka n'enneeyisa ezikwaata ku kufa.

Obw'enyini bw'okufa n'obulamu

Okufa ssi yenkomerero y'ensonga z'omuntu, wabula gwo mutendera omupya eri omuntu ate era nga y'entandikwa y'obulamu obw'enkomerero obujjuvu, ng'obusiraamu bwe bwassa essira ku kukuuma ebivunanyizibwa by'omuntu okuviira ddala ku kuzaalibwa kwe, era bw'ebutyo bwassa essira ku mateeka agakuuma ebivunanyizibwa by'omufu era n'ebufa ne ku mbeera y'abantu be n'abenganda be oluvanyuma lw'okufa kwe.

Allah ow'ekitiibwa yatutonda era n'atuteeka mu bulamu bw'ensi atugezese, nga bweyagamba Allah: "oyo eyatonda okufa n'obulamu alyoke abagezese (alabe) ani asinga okkola obulungi mu mwe" (essuula 67:2), oyo akkiriza Allah era n'amutya ajja kuyingira e jjana, naye oyo alondawo obubuze n'okuva ku mulamwa ajja kuyingira omuliro.

Obulamu bw'omuntu mu nsi nebwebuwanvuwa butya era kyaddaaki bujja kuggwaawo, era okusigalawo okw'olubeerera kujja kubeera mu bulamu bwa nkomerero, Nga bweyagamba Allah: "naye mazima obulamu bw'omu nyumba ey'oluvanyuma bwo bwe bulamu obwa nnamaddala singa (abantu) bamanyi" (essuula 29:64)

Allah yagamba ekitonde kye ekisinga obulungi -nga ye nabbi muhammad okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye- nti yye ajja kufa ng'abantu abalala bwebafa, era oluvanyuma bonna bajja kkunganira mumaaso g'omulezi waabwe asalewo (alamule) wakati waabwe, agamba Allah "mazima gwe (nabbi) lumu oli wa kufa era ddala nabo abantu ba kufa (nga batuusizza entuuko zaabwe) * oluvanyuma ddala mmwe awali mukama wammwe we muliwozanganyiza ku lunaku lw’enkomerero" (essuula 39:30-31).

Era nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yatukubira ekifaananyi ky'embeera ye era n'embeera ya buli muntu mu nsi muno ng'atulaga obumpi bwaayo ng'abugerageranya ku bulamu bw'enkomerero ng'alinga omutambuze awummudeko n'eyeebakamu kko wansi wansi w'ekisiikirize ky'omuti, oluvanyuma (n'azuukuka) n'agenda n'akireka. Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "nze edduniya njaagaza ki, nze mu dduniya muno siri okujjako nga bwoolaba omutambuze eyeggamyeeko wansi w'omuti (mu kisiikirize) oluvanyuma n'avaawo naguleka" (kitabo kya tirmidhi: 2377, ibun maaja:4109)

Ng'era Allah bweyatunyumiza ekiraamo kya nabbi yakubu emirembe kibeere ku yye eri batabani be bweyabagamba nti: "Allah yabasiimira eddiini eno, temufanga okujjako nga muli basiraamu (abagoberera amateeka ga Allah)" (essuula 2:132)

Bwekibeera nti omuntu tamanyi ddi kaseera ke ka kufa Allah keyamutegekera lwekanatuuka, era kajja kubeerawa, era nga tasobola kukakyuusa, omugezi aba asaanidde obudde n'ennaku ze zonna okuzijjuza ebirungi, obulongoofu wamu n'obukkiriza; kubanga nga Allah bweyagamba: "era buli kibiina (kya bantu) kirina ebbanga eggere, bwe kiba kituuse ekiseera kyabwe, tebalindirizibwa kiseera (kya ssaawa) era tebakulembezebwa (nga akaseera kaabwe tekannatuuka) " (essuula 07:34)

Buli muntu afa omwooyo gwe negufuluma okuva mu mubiri gwe enkomerero ye eba eyimiriddewo, era n'atandika olugendo lwe mu bulamu bw'enyumba ey'oluvanyuma, era nga yyo ebigikwaatako byeebimu ku kumanya okwekweese obwongo bw'omuntu tebusobola kukutegeera butya bwebiri mu bulambulukufu.

Ng'era nti obusiraamu bwaabala amateeka n'enneyisa eri omuntu okuviira ddala ku kuzaalibwa kwe, oluvanyuma okukula kwe mu myaaka gy'obuto, obuvubuka, n'obukadde bwe, era bw'ebutyo bwatuteerawo amateeka n'enneeyisa ezikuuma ebivunanyizibwa by'omufu, era nga bifa n'ekumbeera y'abantu n'abenganda ze, amatendo ga Allah oyo eyatujjuliza eddiini yaffe, era n'atuwa ebyengera mu bujjuvu, era n'atulungamya okudda eri eddiini eno ey'amaanyi.

Amateeka n'empisa ezikwaata ku kufa.

1. Omuntu bwaaba asemberedde okufa

Kigwaanira eri buli aba alambudde ku mulwadde okumusabirako Allah okumuwonya n'okumutaasa ebizibu by'alimu, era obulwadde obwo Allah abumusanguziseeko amazambi era amusonyiwe nabwo ebisobyo byeyasobya nga nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyagambanga omulwadde "tewali buzibu, ogenda kuwona nga Allah ayagadde" (bukhari:3616).

Era alina okulondayo ebigambo ebiyamba ku mulwadde mu kulwaanisa obulwadde era nga bimuwa ekifaananyi nti agenda kuwona, n'okuganyurwa mu biseera ebisaanidde okumujjukiza ku Allah, n'okujjukiza omulwadde ku lunaku lunaku lw'enkomerero mu mbeera ey'amagezi n'ebyokweebulira ebirungi, nabbi yatukubira eby'okulabirako kweekyo, mu hadith eva ku swahaba ayitibwa Anas yagamba: waliwo omuvubuka omu yudaaya eyali omuweereza wa nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, omuvubuka n'alwaala, nabbi n'agenda okumulambulako, n'atuula okulinaana omutwe gwe, n'amugamba: "siramuka", omuvubuka n'atunuulira kitaawe naye eyaliwo awo, kitaawe n'amugamba: gondera taata wa kaasim (nabbi), omuvubuka n'asiramuka, nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye n'afulumayo ng'agamba: "amatendo ga Allah oyo amuwonyeza okuva mu muliro" (bukhari:1356).

2. Okwaatuza omulwadde (atuusizza okufa)

Obubonero obulaga okusembera kw'okufa kw'omuntu bwebulabikira ku mulwadde, kikubirizibwa okumwaatuza n'okumuzzaamu amanyi ayogere ekigambo ky'okwaawula Allah era ekisumuluzo ky'ejjana (laa ilaaha illa Llah) mu mbeera ey'amagezi era ne mungeri esaanidde, nabbi muhammad okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "abantu bamwe ababa batuusizza okufa mubayambeko okwaatula ekigambo laa ilaaha illa Llah" (muslim:916).

Era ekyo ky'ekigambo ekisinga mweebyo omuntu byaayogera mu bulamu bwe ne mukaseera ng'agenda okufa, era Allah gwaaba asobozesezza n'akisembyaayo aba afunye ekitiibwa kyamanyi nga nabbi muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyagamba nti: "oyo yenna asembyaayo ekigambo laa ilaaha illa Llahu nga tannafa agenda kuyingira ejjana" (abu dawuda:3116)

3. Okutunuza omuntu asemberedde okufa mu kibula

Kikubirizibwa okutunuza omuntu asemberedde okufa mu kibula; kuba nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "enyumba eyo ey'emizizo (kaaba) kye kibula kyammwe (gyemutunula) nga muli balamu era ne mu kufa" (abu dawuda:2875), amweebasiza ku ludda lwe olwa ddyo ng'atunudde mu kibula ng'omufu bw'ateekebwa mu ntaana (mwana ndaani).

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار