Sigala ng'oyiga

Tewayingidde
Wewaandiise kati ku mukutu gwa Taa otandike okuyiga, ogoberere enkulaakulana yo, okunngaanye obubonero era oyingire empaka, oluvannyuma lw'okwewandiisa, ojja kufuna satifikeeti ey'omutimbagano ku miramwa gy'osomye

Ekitundu ekiriwo kati: NABBI EBYENGERA N'EMIREMBE BIBEERE KU YYE

Omusomo OBUBAKA BYA NABBI MUHAMMAD EBYENGERA N'EMIREEMBE BIBEERE KU YYE

Yatuma Allah Omugulumivu Ababaka olw’ebigendererwa ebyaamaanyi, era nafundikira obw'annabi ne Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, era n’amusukkulumya ku balala bonna. Mu ssomo lino, ojja kuyiga ebimu ku ebigendererwa ebyo, n’omugabo gwa Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye eri ekibiina kye.

  • Okumanya ekigendererwa mu kusindika Ababaka emirembe jibeele gy'ebali.
  • Okumanya enkizo ya Nabbi ku abantu abasigadde.
  • Okumanya egyimu ku migabo gya Nabbi eri ekibiina kye.

Obwetaavu bw'omuntu eri ababaka

Ekigendererwa kya Allah Omugulumivu kyaali kyeetaagisa okusindika eri buli kibiina omutiisa, nga abannyonnyola ebyo Allah bye yassa eri abaddu be ebiri mu ddiini n’obulunngamu obulimu okulongooka kwe embeera yaabwe mu nsi n’enkomerero. nga Allah Omugulumivu bwe yagamba: (Era tewali bantu bonna okuggyako nga omutiisa yabatuukamu.) (Faatwiir: 24)

Tewali ngeri yonna etuusa ku ssanyu na buwanguzi ku nsi oba ku nkomerero okuggyako okuyita mu mikono gy’Ababaka, era tewali ngeri yonna gye tuyinza kumanya bulungi na bubi mu bujjuvu okuggyako nga tuyita mu bbo, era okusiima kwa Allah tekuyinza kutuukibwako okuggyako nga kuyita mu mikono gyabwe. Kale ebikolwa ebirungi, ebigambo n’empisa tebili okuggyako bulunngamu bwabwe bwe baaleeta.

Okukkiriza Muhammad nti Nabbi era Omubaka

Tukkiriza nti Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, ye muddu era omubaka wa Allah, era yasinga ekitiibwa mu basooka n’abalisembayo, era ye nvumbo ya bannabbi, tewali Nabbi agenda kujja luvannyuma lwe. Yatuusa obubaka, n’atuukiriza obwesige, n’awabula ekibiina kye, era n’alwana mu kubo lya Allah nga bwe yandibadde alwana.

Yagamba Allah Omugulumivu: (Muhammad Mubaka wa Allah) (Al Fatihi:29)

Tulina okukkiriza bye yatugamba, okugondera bye yalagira, okwewala bye yagaana n’okulabula, okusinza Allah nga tugoberera Sunnah ze, n’okugoberera eky'okulabirako kye, emirembe n’emikisa bibeere ku yye.

Yye Nvumbo y’Ababaka ne Banabbi

Muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, ye Nvumbo y’Ababaka ne Bannabbi, era tewali Nabbi oluvannyuma lwe. Obubaka bwe bwe bwasembayo mu bubaka obw’abannabi obwakulembera okubaawo, era eddiini ye yeyasembayo mu madiini.

Yagamba Allah Omugulumivu: (Muhammad tabangako kitaawe w'omu ku basajja mu mmwe wabula (yye) Mubaka wa Allah era ow'enkomerero wa ba Nabbi.) (Al Ahzab:40).

Hadithi nga eva ku Abu Hurairah, Allah amusiime, Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yagamba nti: “Eky'okulabirako kyange n’ekya Bannabbi abasooka kiringa eky’omusajja eyazimba ennyumba n’agifuula ennungi era etuukiridde, okuggyako ekifo eky’ettafaali erimu mu nsonda. Abantu ne bagyetooloola ne beewuunya, nga bagamba nti: Lwaki ettafaali lino telyateekebwa mu kifo?” Yagamba nti: “Nze ttafaali era nze Envumbo ya Bannabbi.” Al-Bukhari (3535).

Asinga ekizo mu Bannabbi n'Ababaka

Nabbi waffe Muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, ye Nabbi asinga, era yasinga obulungi mu bitonde, era yabisinga ekifo eky'ekitiibwa eri Allah Omugulumivu. Allah Omugulumivu yasitula ekifo kye, era kye kitonde ekisinga ebbeyi n'ekitibwa mu maaso ga Allah. yagamba Allah Omugulumivu: (Nga Allah assa ku ggwe ekitabo (Qur’ani) n’ebigambo ebya magezi (Hadith) era nga yakumanyisa n'ebyo byewali tomanyi era bulijjo e birungi bya Allah byakuwa bingi nnyo.) (Nnisaa;113), era Allah Omugulumivu yagamba Nabbi we ebyengera n'emirembe bibeere ku yye: (Era netusitula okukwogerako buli wamu) (Sharhu:4).

Ye yasinga ekitiibwa mu baana ba Adamu, yagenda okusooka okuggulirwa entaana, omuwolereza agenda okusooka ku lunaku lw'enkomerero, era agenda okusooka okuwolereza okugenda okukkirizibwa, bendera y’okutendereza ejja kuba mu ngalo ze ku lunaku lw’onkomerero, era agenda okusooka okusomoka omutala(siraata), era agenda okusooka okukonkona ku mulyango gw’Ejjana, era yagenda okusooka okuguyingira.

Okusaasira eri ebitonde byonna

Allah Omugulumivu yasindika Muhammad nga kusaasira eri ebitonde byonna. Obubaka bwe bubuna eri abantu n’amajinni, era obubaka bwe bubuna eri abantu bonna. Allah Omugulumivu yagamba nti: (Tetwakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) okuggyako nga oli kya kusaasira eri ebitonde.) (Al-Anbiya: 107.)

Yagamba Allah Omugulumivu: (Era tetwakutuma okuggyako nga oli (mubaka) eri abantu bonna) (Sabaie:28). era nagamba: (Gamba (ggwe Nabbi Muhammad), nti abange abantu, mazima nze ndi Mubaka wa Allah eri mmwe mwenna.) (Al Araaf:158).

Allah Omugulumivu yamusindika nga kusaasira eri ebitonde byonna, okubaggya mu kizikiza eky’obushirku, obutakkiriza, n’obutamanya, eri ekitangaala ky’okumanya, obukkiriza, n’okukkiriza Allah omu, basobole okutuuka ku kusonyiyibwa kwa Allah n’okusanyuka kwe era batasibwe ekibonerezo kye n’obusungu bwe.

Obweteeka bw’okumukkiriza n’okugoberera obubaka Bwe

Obubaka bwa Muhammad bwasangulawo obubaka obwaliwo emabega. Allah takkiriza ddiini yonna okuva eri muntu yenna okuggyako mu nga agoberedde Muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, era tewali ayinza kutuuka ku ssanyu lya Jjana okuggyako mu kuyita mu yye. ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, yasinga ekitiibwa mu babaka, ekibiina kye kye kisinga ebibiina ebisigadde, n’amateeka ge gegasinga obujjuvu amateeka agasigadde.

Yagamba Allah Omugulumivu: (Oyo yenna ayagala okweteerawo eddiini etali busiramu tegenda kukkirizibwa okuva gyali, era nga yye ku lunaku lw’enkomerero agenda kubeera mubafaafaganidwa.) (Al Emreen:85).

Hadith eva ku Abu Hurairah, nga eva ku Mubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yagamba nti ndayira Oyo mu Ngalo Ze awanirinde Omyooyo gwa Muhammad, tewali muntu yenna ava mu kibiina kyonno, omuyudaaya oba omukristaayo, awulira ku nze n’oluvannyuma nafa nga takkiririza mu ebyo bye nasindikibwa nabyo, okuggyako nti ajja kuba mu bantu b’Omuliro.” Muslim (153).

Mu byamagero bya Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye ebijulira obubaka bwe

Allah Omugulumivu yawa Nabbi waffe Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, n’ebyamagero ebimasamasa n’obubonero obw’olwatu obulaga era obuwa obujulizi ku mazima g’Obunnabbi bwe n’Obubaka bwe. Mu byamagero ebyo mulimu:

Qur’an Entukuvu

Ekyamagero ekisinga obunene ekyaweebwa Omubaka waffe ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, ye Qur’an Entukuvu, eyogera eri emyoyo n’ebirowoozo. Kye kyamagero eky’olubeerera era ekitaggwaawo okutuusa ku lunaku lw’enkomerero, era tekiyinza kukyusibwa wadde okwogerwaamu. Kyamagero mu lulimi lwakyo ne mu sitayiro yaakyo, kyamagero mu mateeka gaakyo n’ensala zaakyo, era kyamagero mu mawulire gaakyo.

Yagamba Omugulumivu: (Gamba nti Singa abantu bonna n'amageege babadde bakunngaanye mbu bateekewo ekifaananyi ky'eno Kuraane, tebandisobodde kuleeta kifaananyi kyayo newankubadde nga babadde abamu bayamba bannaabwe.) (Al Isaarie:88).

Okubejjukamu kw'omwezi

Yagamba Allah Omugulumivu: (Enkomerero esembedde n'omwezi ne gubejjukamu, Bwe balaba ekya magero bakyawukanamu ne bagamba nti lino ddogo eritakoma.) (Al Qamar:1,2) okubejjuka kuno kwaliwo mu bulamu bwe, ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, era kwalabibwa aba Quraysh n’abalala.

Okuyinjiwaza emmere entono mu maaso ge, ebyengera n'emirembe bibeere ku yye

Okutuusa abaali naye lwe baalya nayye n'esigalanawo. Mu ebyo mwe muli ebyo ebyajja mu Hadith ya Samurah bin Jundub, eyagamba nti: “Bwe twali ne Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, ebbakuli y'emmere ya tharid yamuleetebwa.” Yagamba nti: “Bw’atyo n’alya n'abantu ne balya, abantu ne beeyongera okugiyisaamu okutuusa ng’obudde bunaatera okutuuka emisana, nga buli kibinja kirya, oluvannyuma ne bayimirira, ekibinja ne kijja ne bakyusakyusa ne bakirya.” Musnad Ahmad [20135].

Amawulire ge, ebyengera n'emirembe bibeere ku yye ku nsonga ezitalabika

Oluvannyuma ebintu bigwaawo nga bwe yagamba, era bingi byeyayogela bibadde biwaawo, era tukyalaba ebintu nga bigenda bibaawo nga bwe yagamba, ebyengera n'emirembe bibeere ku yye.

Hadith eva ku Anas, Allah amusiime, nti Umar ibn al-Khattab, Allah amusiime, natandika okubabuulira ku bantu be Badr, nagamba nti: Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yali atulaga ebifo abantu be Badr gye baagudde eggulo, nga gamba nti: “Wano we bagenda okugwa enkya ngundi, Allah bwanaaba ayagadde.” Yagamba nti: Umar yagamba: Ndayira Olw’oyo eyamutuma(Omubaka we) n’amazima, tewali yasuka kifo Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, kyeyalaga. Muslim [2873].

Ebikakata bya Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, ku kibiina kye

Ebikakata bya Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye ku kibiina kye bingi, omuli bino wammanga:

Okukkiriza obwa nabbi bwe ebyengera n'emirembe bibeere ku yye

Okukkiriza Obunnabbi bwe n’Obubaka bwe n’okukkiriza nti obubaka bwe bwasangulawo obubaka bwonna obwaliwo obwakulembela.

2. Okumukkiriza ebyengera n'emirembe bibeere ku yye

Okukkiriza bye yatugamba, okugondera bye yalagira, okwewala ebyo bye yagaana n’okulabula, n’obutasinza Allah okuggyako nga tugoberera ebyo byalagira. Allah Omugulumivu yagamba nti: (Ebyo byonna Omubaka byaba abaleetedde mubitwale. Ate ebyo byonna byaba abaziyizza mubireke mutye Allah anti Allah muyitirivu w'akubonereza.) (Al Hashir:7)

3. Okukkiriza Nabbi Muhammad ebyengera n'emirembe bibe Ku yye byeyajja nabyo

Tulina okukkiriza ebyo Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, bye yaleeta, n'okugoberera Sunnah ze, n’okufuula obulunngamu bwe ensibuko y’ekitiibwa n’okugulumiza. nga Allah Omugulumivu bwe yagamba: (Ndayidde Mukama Katonda wo tebayinza kubeera bakkiriza abannamaddala okuggyako nga gwe gwebasalawo okubalamula mu buli kintu kyebaba bakaayaganyeeko, ate nebatasigaza mu mitima gyabwe kakuku ku ngeri gyoba osazeewo era nebakkiriza olukkiriza olulambulukufu.) (Al Nisa;65)

4. Okutya okwaawukana ku kiragiro kye ebyengera n'emirembe bibeere ku yye

Tulina okwegendereza obutagondera kiragiro kye, ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, kubanga okujeemera ekiragiro kye kivaako okugezesebwa oba ebibonerezo ebiruma ennyo. nga Allah we yagamba: (Era bateekwa beekeke abo abaawukana Ku kiragiro kye okubatuukako akabi oba ebibonyobonyo.) (Al Nuur;63)

5. Okukulembeza okwagala kwe, emirembe n’emikisa bibeere ku yye, okusinga okwagala kw’omuntu yenna.

Tulina okukulembeza okwagala Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, okusinga okwagala kw'omuntu eri emyoyo gwe, abazadde be, abaana be, n’ebitonde byonna. Anas yagamba nti: Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, yagamba nti: “Tewali n’omu ku mmwe akkiriza mu mazima okutuusa lwe ndimwagalibwa gya'li okusinga bazadde be, abaana be, n’abantu bonna.” Al-Bukhari (15). Umar ibn al-Khattab, Allah amusiime, yagamba nti: “Owange gwe Omubaka wa Allah, Gwe asinga okwagalwa nnyo gyendi okusinga byonna okuggyako omyoyo gwange.” Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, yagamba nti: “Nedda, Ndayira Oyo mwoyo gwange gwe guli mu mukono gwe, okutuusa nga Nze asinga okwagalibwa okusinga omyoyo gwo” Umar n'amugamba nti: “Ndayira Allah, ggwe asinga okwagalibwa nnyo gyendi okusinga omyoyo gwange.” Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, yagamba nti: “Kati, owange gwe Umar.” (Bukhari 6632).

6. Okukkiriza nti ye, ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, ye yatuusa obubaka.

Obwetaaka bw'okukkiriza nti mazima Omubaka ebyengera n'emirembe bibeere ku yye yatuusa obubaka obujjuvu, natuukiriza obwesigwa, n'awabula ekibiina, Tewali kirungi kyonna okuggyako nga yakigamba ekibiina kye n’akikubiriza okukikola, era tewali kibi okuggyako nga yakigaana ekibiina kye n’okukilabula kukyo. Allah agamba: (Olwaleero mbajjulizza eddiini yammwe, era nembajjuliza ebyengera byange, era nembasalirawo obusiramu okuba nga ye ddiini (yammwe). (Al Maedah:4)

Baswahabah ba Nabbi baawa obujulizi ku Nabbi nti yatuusa obubaka mu lukuŋŋaana lwabwe olwasinga obunene ku lunaku lwe yayogera nabo mu Hijja ey’okusiibula. Mu hadith ya Jabir, Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yagamba nti: “Era mujja kubuuzibwa ku nze, kale muligamba ki?” Bagamba nti: Tuwa obujulizi nti otuusizza obubaka, otuukirizza omulimu gwo, era obuliridde. N’olwekyo, yasitula engalo ye ey’omukono n’agitunuza mu bbanga n’agisonga ku bantu: “Ayi Allah, beera omujulirwa, ayi Allah, beera omujulirwa” emirundi esatu. Muslim (1218).

Mazima omusomo ogumaliriza bulungi


Tandika ekibuuzo