القسم الحالي: Obukkiriza
الدرس Okulwanyisa enzikiriza enkyamu mu myoyo gy'abantu
Abawalabu n’amawanga okutwaliza awamu obusiraamu nga tebunaba okujja baali bawambe n'emboozi eyo bunyonyi, enzikiriza enkyamu n’okwefuula, ebyasaasaana mu nsi yonna era tewali ggwanga lyonna lyabiwona, okutuuka ku ssa Abawalabu ne bagamba - mu kusooka - nti Qur’an Entukuvu yali kika kya emboozi eya bunyonyi oba bulogo.
Obusiraamu bwe bwajja n’ekitangaala kyabwo n’obulungamu bwabwo, bwasumulula obwongo okuva mu maanyi g’enzikiriza enkyamu, enfumo, n’obulimba n’amateeka agakakasa obulongoofu bw’obwongo n’omwoyo, ne bufuula okwekwaata ku Allah yekka so si kirala kyonna, omuli:
Okulwanyisa obulogo n'obulaguzi:
Obusiraamu bwagaana obulogo, obulogo n’obulaguzi obw’engeri zonna ela obusiramu n'ebubifuula mu miteeko gyo okugatta Ku Allah. Obusiramu bwatutegeeza nti omulogo tajja kutuuka ku buwanguzi mu nsi oba ku nkomerero, nga Omugulumivu bwe yagamba: (Anti mazima ddala bye bakoze nkwe za mulogo ate nga omulogo buli waaba tawangula.) (Twaha:69)
Era kyagaanibwa eri Omusiraamu okugenda ew’abasamize n’abalaguzi n’abasaba okuwonyezebwa oba okujjanjabwa n’okubagonjoolela ebizibu. Oyo yenna akola ekyo atendebwa n'obutakkiriza mu ebyo ebyassibwa eri Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, kubanga emigaso n’obubi biri mu mikono gya Allah, era tewali amanyi bitalabika okuggyako Yye. Kale ye, Omubaka ebyengera n'emirembi bibeere ku yye yagamba nti: “Oyo yenna agenda ew’omulaguzi n’akkiriza by’ayogera aba takkiririza mu ebyo ebyassibwa eri Muhammad ebyengera bibeere ku yye” (Mustadrak al-Hakim: 15).
Omugaso n'akabenje biri mu mukono gwa Allah Omusukkulumu ennyo
Yannyonnyola Allah Omugulumivu nti ebitonde byonna, omuli abantu, amajinni, emiti, amayinja, ne pulaneti, ne bwe biba binene bitya, si kirala wabula bubonero obulaga obukulu bw’ebitonde bye, ekitiibwa kibeere gy’ali. Tewali muntu yenna alina maanyi agasukkulumye ku ga bulijjo agafuga obutonde bwonna. Okutonda, okulagira, amaanyi, n’okuddukanya biba biragirwa Allah Omugulumivu, nga Ye Omugulumivu bw’agamba nti: (Abange mukimanye nti okutonda n’ebiragiro bibye. Yayawukana Katonda omulabirizi w’ebitonde.) (Al Araaf:54).
Oyo yenna afumiitiriza ku bukulu bw’ebitonde bino n’obutuufu bw’ebitonde bino ajja kumanya nti Omutonzi waabyo ye Muyinza w’ebintu byonna, Omuddukanya wabuli kino, Yalina okwolesebwa Gya'li engeri zonna ez’okusinza, so si eri kintu kyonna oba muntu mulala yenna. Ye Mutonzi, n’ebirala byonna bitonde. Allah Omugulumivu agamba nti: (Ne mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kye kiro n’emisana ne njuba n’omwezi, temuvunnamiranga enjuba wadde omwezi, muvunnamirenga Allah oyo eyabitonda bwe muba nga yye yekka gwe musinza.) (Al Fusilat :37)
Allah yekka y’amanyi ebitalabika n’ebiseera ebyomu maaso.
Yagamba Allah Omugulumivu nti Ye yekka y’amanyi ebitalabika n’ebijja, era oyo yenna agamba nti amanyi ebitalabika, gamba ng’abalaguzi n’abalogo, mulimba. nga Omugulumivu bwe yagamba: (Era Yye yalina e bisumuluzo bye by’ekusifu tewali abimanyi okuggyako Yye,) (Al An'aam:59)
Mazima ddala Omubaka wa Allah asinga obulungi era asinga ekitiibwa mu bitonde, Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibere Ku yye, teyalina maanyi gonna gayinza kwetuusako bulabe oba okuganyula konna, era nga tamanyi bitalabika oba ebigenda okubawo omu maaso, kili kitya ate omuntu eyali wansi we mu kitiibwa n’eddaala nga Allah Omugulumivu bwe yagamba: (Gamba nti si nze neesalirawo e kirungi oba ekibi, okuggyako Allah kyaba ayagadde, era singa nnali mmanyi e byekusifu, nandiyitirizza okukola e birungi, mu ngeri y'emu tewandibadde kabi kantuukako, nze siri kintu kyonna okuggyako okuba omutiisa, omusanyusa eri abo abatya Allah) (Al Araaf:188).
Okuwera n'okuziyinza okwelaguza
Obusiraamu bwagaana enzikiriza enkyamu n’okwelaguza n'ebintu, nga langi, enjogera, n’ebirala ebiringa ebyo, era Obusiraamu bwakkiriza ebigambo n’endowooza ennungi ku biseera ebyomu maaso.
Eky'okulabirako ky’okwelaguza: omuntu yenna bw'eyelaguza mu lugendo lwe singa alaba ekika ky’ekinyonyi oba n’awulira eddoboozi lyakyo ku ntandikwa y’olugendo lwe era ayinza okulusazaamu n’atalumaliriza ( olugendo) Omubaka ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, kino yakinyonyola nti shirik (kugatta Ku Allah) ng’agamba nti: “Okwelaguza shirik” (Abu Dawud 3910, Ibn Majah 353). Kubanga kino kikontana n’enzikiriza ennywevu ey’Omusiraamu nti Allah yekka addukanya obutonde bwonna era amanyi ebitalabika. Obusiraamu bugaana obutaba na ssuubi n’okusuubira obubi ng’olaba oba okuwulira ekika ky’ekinyonyi oba ekisolo kyokka.
Ku luuyi olulala, yalagira okubeera n’essuubi, ng’alonda ebigambo ebikiraga, ng’asuubira ebirungi n’okuba n’ebirowoozo ebirungi eri Allah, Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yagamba nti: “Njagala nyo ebigambo ebilungi: ekigambo ekirungi kiba kigambo kyankizo” (Bukhari: 5776, Muslim: 2224).