Ekitundu ekiriwo kati: ESSWALA
Omusomo Esswala kyekki, wamu n'obukulu bwaayo
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Esswala kyekki
Esswala kye kyookusinza ekikolebwa omubiri ekisinga obunene n'obukulu, era kya kusinza ekibuna omutima, obwongo, n'olulimi, era obukulu bw'esswala bulabikira mu nsonga nyingi, mu zzo:
2. Ky'ekyaawula wakati w'abasiraamu n'abatali, nga nabbi okusaasira ebyengera n'emirembe bibeere ku yye bweyagamba: "mazima ddala ekyaawula wakati w'omutu ne shiriki n'obukaafiiri kuba kuleka sswala" (muslim 82), era n'agamba: "ekyaawula wakati waffe abasiraamu n'abatali ye sswala, oyo yenna ajireka aba akaafuwadde" ( hadith yafulumizibwa tirmidhi 2621, ne nasaa-i 463)
3. Mazima ddala Allah yatulagira okujekuumirako mu mbeera zonna, mu lugendo ne nga tuli waka, mu mirembe ne mu ntalo, nga tuli balamu ne bwetuba balwadde, era ekolebwa okusinziira ku buli muntu bwaasobola, nga Allah bw’agamba: "mweekumire ku sswala" (surat bakara: 238", era yatenda abaddu be abakkiriza ng'agamba: "era n'abo abekuumira ku sswala zaabwe" (surat mu-uminuun: aya 9)
Obukulu bw'esswala
1. Yyo esonyiyisa amazambi, nga nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bw’agamba: "esswala ettaano, ejjuma ku jjuma, okuva ku lamanzaani okutuuka ku lamanzaani, bisonyiyibwa ebyonoono ebitono ebibeera wakati waabyo singa byeewalibwa ebyonoono ebinene" (eri mu kitabo kya muslim: 233 , ne tirmidhi 214).
2. Mazima esswala kitangaala ekimulisa omusiraamu mu bulamu bwe nga kimukowoola okudda eri ebirungi n'ekimweewaza n'ebibi, Allah ow'ekitiibwa agamba: "mazima esswala eziyiza okukola eby'obuwemu n'ebitayagalwa mu ddiini" (surat ankabut:45), ne nabbi muhammad yagamba: "esswala kitangaala" (kitabo kya muslim: 223).
Esswala keekaseera akasinga okuba akawoomerevu ak'omukiriza kuba aba ayogera ne katonda we, n'afuna obutebenkevu okukkakana n'okubeesabeesa kwa Allah ow'ekitiibwa
Era bw'ebuwoomerevu nabbi muhammad okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyasinga nga okufuna nga bweyagamba nti: "era esswala Allah yagifuula ekintu ekintebenkeza" (mu kitabo kya nasaa-i:3940)
Nabbi muhammadi yagamba nga omwazinyi we eyakowoolanga abantu okusaala bilal Allah yasiima ku yye: "owaaye bilal, kola okukowoola kw'esswala, tuweeweze ne sswala" (eri mu kitabo kya abu dawuda: 4985)
Era Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye ensonga bweyamukwaatangako enyo yagenda nga n'asaala" (abu dauda: 1319)