Ekitundu ekiriwo kati: OKWEETUKUZA
Omusomo Empisa z'okwelongosa n'amazzi n'okumala ekyetaago
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Empisa z'okumala ekyetaago
Kikakata ku Musiraamu okubikka obwereere bwe okuva eri amaaso g'abantu mu kiseera ng'amala ekyetaago kye.
kigaanibwa eri omuntu okumala eky'etaago mu kifo ekinakuwaza abantu
Omusiraamu bwaaba ali mu ekyeererezi takkirizibwa kumala kyetaago kye mu kinnya kubanga musobola okubaamu ebisola byaakosa obo bbyo okumukosa.
Kyateeka gya'ali okwekuuma obutagwa ku ngoye ze wadde ku mubiri gwe kintu kyonna mu bikyaafu era alina okunaaza ewo wekiba kigudde.
Bw’aba amazze okumala ekyetaago kye, alina okukola emu ku nsonga ebbiri:
Istinja: kwe okuyonja ekifo omusulo n’obukyaafu we bifulumira mu mubiri n’amazzi
Istijmar: kwe okuyonja ekifo omusulo ne obukyafu we bifuluma nga tukozesa ebipapula bisatu oba okusingawo, amafufungu , oba ekintu ekifaananako bwe kityo ekirongoosa omubiri n’okugulongoosa obucaafu.
Ekizuusi
Ekizuusi kiva ku musiraamu singa afuna wuzu oba ng'anaabye n'amazzi amatukuvu: era ago g'emazzi agateetabiseemu nagisi yonna ekyuusa langi, mpooma oba mpunya yaago.
Ekizuusi kiteekululwaamu emiteeko ebiri
Ekizuusi ekitono n'okufuna wuzu okukyejjako
3. Omuntu okulya enyama y'engamiya, Nabbi Muhammad okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yabuuzibwa nti: tufune wuzu nga tulidde enyama y'engamiya? N'agamba nti: "yye". Hadith yayogerwa imaam muslim.
4. Omuntu okuba nga takyaategeera, nga kivudde ku tulo, okugwa eddalu ,okuzirika oba okutamiira.