تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Obukkiriza

الدرس Okukkiriza Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye.

Olw’obutume bwa Nabbi waffe Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, enzigi zonna eri Allah Omugulumivu zaggalwa okujjako oluggi lwe, era tewali kukkiriza kukkirizibwa okuva eri muntu yenna okutuusa lw’amukkiririzaamu n'ebyo byeyaleeta okuva eri Mukama we.

  • Okuyiga ebimu ku by'etulina okukola eri Nabbi waffe Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye.
  • Okumanya ebw'eyawuriridde obubaka bwa Muhammad.
  • Okumanya ky'etulina okukola eri baswahaaba ba Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye n’amaka ge.

Kitukakatako eri Nabbi waffe Muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, esonga nyingi omuli:

1 - Tukkiriza nti Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, muddu era omubaka wa Allah, era nti ye mubaka asembayo, era tewali Nabbi oluvannyuma lwe, Yatuusa obubaka, n’atuukiriza obwesige, n’awabula ekibiina kye, era yalafuubana (mu kkubo lya) Allah mu bulambulukufu bw'okulafuubana okwo,

2- Tumukkiriza mu by'eyatugamba, tumugondera mu by'eyalagira, twewala ebyo bye yagaana n'okulabula, tusinza Allah nga tugoberera Sunnah (enkola) ze, ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, era tumugoberera ye so si mulala. yagamba Allah: ( Mazima mulina mmwe mu Mubaka wa Allah eky'okulabirako ekirungi eri oyo abeera nga akkiriza Allah n'olunaku lw'enkomerero, era naayogera nnyo ku Allah nga amutendereza.) (Al Ahzab: 21).

3- Tulina okukulembeza okwagala kwa Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, okusinga okwagala kwa bazadde baffe, n'abaana baffe, n’abantu bonna, nga Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye yagamba: “Tewali n’omu ku mmwe akkiriza mu mazima okutuusa nga ndi mwagalwa nnyo gy’ali okusinga kitaawe, omwana we, n’abantu bonna” (Bukhari 15, Muslim 44). n’okukoppa obulagirizi bwe. Essanyu erya nnamaddala n’obulagirizi obujjuvu bisobola okutuukirizibwa nga tumugondera, nga Allah Omugulumivu bwe yagamba nti: (Era bwe munaamugondera, mujja kulungamizibwa era Omubaka talina mulimu gwonna okuggyako okutuusa obubaka mu bulambulukufu.) (AL Nuur:54)

4- Tulina okukkiriza ebyo Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, bye yaleeta, era tugoberere Sunnah (enkola) ze, era n’okulung’amya kwe tufuule ensibuko y’ekitiibwa n’okumussaamu ekitiibwa. nga Allah bwe yagamba: (Ndayidde Mukama Katonda wo tebayinza kubeera bakkiriza abannamaddala okugyako nga ggwe gwebasalawo okubalamula mu buli kintu kyebaba bakaayaganyeeko, ate nebatasigaza mu mitima gyaabwe kakuku ku ngeri gyoba osazeewo era nebakkiriza olukkiriza olulambulukufu.) (Nisa; 65).

5- Tulina okwegendereza, obutagondera kiragiro kye, ebyengera n'emirembe bibeere ku yye Kubanga okujeemera ekiragiro kye kireeta enkaayana, okubuzaabuzibwa, n’okubonyaabonyezebwa okuluma. nga Allah Omugulumivu bwe yagamba: (abo abaawukana ku kigambo kye bateekeddwa okutya okuba nga batuukwako okugezesebwa oba ebibonerezo ebiruma ennyo.) (Al Nuur;63)

Ebwenjawolo ku bubaka bwa Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere Ku yye

Obubaka bwa Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere Ku yye bwawukana ku bubaka obw’emabega olw’engeri n’ebirungi ebiwerako, omuli:

1- Obubaka bwa Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere Ku yye bwe bufundikwa bw’obubaka obwayita Katonda Omuyinza w’ebintu byonna yagamba nti: (Muhammad tabangako kitaawe w'omu ku basajja mu mmwe wabula (yye) Mubaka wa Katonda, era ow'enkomerero wa ba Nabbi.) (Al Ahzab:40).

2- Obubaka bwa Muhammad bwasazaamu amateeka agakulembela, Allah takkiriza ddiini yonna okuva ku muntu yenna oluvannyuma lw’obutume bwa Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, okujjako nga agoberera Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, Teri asobola kutuuka ku ssanyu lya Jjana okuggyako nga ayita mu ye, Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, y’asinga ekitiibwa mu babaka bonna, era etteeka lye lye lisinga obujjuvu mu mateeka. Allah Omugulumivu yagamba nti: (Abaffe abo (abonoonyi) baagala etali ddiini ya Katonda (Busiramu?) ate nga kululwe byewaayo (nebisiramuka) byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi mu kugonda ne mu kukakibwa, era nga gyali gyebiggya okuzzibwa.).” Nabbi Katonda amuwe emirembe n’emirembe, yagamba nti: “Oyo mwoyo gwa Muhammad gwe guli mu Mukono gwe (Nabbi yali alayila), tewali alimpulirako mu mulembe gunno, ka kabeere Muyudaaya oba Mukristaayo, ampulira n’oluvannyuma n’afa nga takkiririza mu ekyo kye nnasindikibwa nakyo, okuggyako nti ajja kuba mu bantu b’omuliro” (Muslim 153, Ahmad 8609).

3- Obubaka bwa Muhammad bwa bulijjo eri ebika by’ebitonde byombi: majiini n’abantu. Allah Omugulumivu yagamba, ng’anyumya ebigambo by’amajiini nti: (Abange bannaffe mwanukule omukowooze wa Katonda, era mumukkirize (Katonda),) (Al-Ahqaf: 31). Allah Omugulunivu yagamba nti: (Era tetukutuma, [Ayi Muhammad], okuggyako ng’omuleeta amawulire amalungi era omulabuzi eri abantu bonna.” Nabbi, Katonda amuwe emirembe n’emirembe, yagamba nti: “Mpeereddwa ebintu mukaaga ku bannabbi: Nfunye okwogera okumpimpi, nnyambibwako entiisa, omunyago gw’olutalo gufuuliddwa mu mateeka, ensi n’efuulibwa ennongoofu n’ekifo eky’okuvunnama gyendi, ntumiddwa eri ebitonde byonna, era nze omusiraamu asembayo mu Bannabbi” (Bukhari 2977, 523).

Baswahaba b’Omubaka wa Allah n’ab’omu maka ge ag’ekitiibwa

Allah teyatuma Nabbi okuggyako nti ba swahaba be ne abagoberezi be bebaali basinga mu bagoberezi be, era omulembe gyaabwe gwe gwali omulembe ogusinga obunene mu ggwanga lye. Katonda yalonda ebisinga obulungi mu bitonde bye oluvannyuma lwa bannabbi n’ababaka babeere banne ba Nabbi we, basobole okusitula eddiini eno ne bagituusa eri abantu ennongoofu era etaliimu bukyaafu, nga Nabbi, Katonda amuwe omukisa era amuwe emirembe, n’agamba nti: “Ekisinga obulungi mu ggwanga lyange gwe mulembe mwe nnasindikibwa, olwo abo abajja oluvannyuma lwabwe” (Muslim: 2534).

Ennyonyola ya Swahaaba

Swahaabah y’omuntu: eyasisinkana Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere Ku yye ng’Omusiraamu n’afa bw’atyo (n'afa nga musilamu), nga tamaze kwewaggula oluvannyuma lw’okufa kwa Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere Ku yye

Kwajja okutendereza baswahaba b’omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, n’okwogera ku ebitendo byaabwe n’empisa ennungi kwajja mu bifo bingi mu kitabo kya Allah ne Sunnah z’omubaka we ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, omuli:

١
Allah Omugulumivu yatendereza ba Swahaaba, n’abasiima, n’abasuubiza ebirungi, nga Allah Omugulumivu bwe yagamba nti: (N'abo abaasookera ddala okukkiriza mu baasenguka okuva e Makkah ne ba Answari (abaataasa Nabbi) n'abo abaabagoberera mu kukola obulungi, Allah yabasiima nabo ne bamusiima, era Katonda yabateekerateekera e jjana ezikulukutiramu e migga nga baakubeera mu zo olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu.) (Taubah:100)
٢
Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yabatendereza ng’abantu abasinga obulungi mu kibina kyonna. Basinga obulungi mu kibina kinno, Hadith nga Eva ku Abdullah ibn Masoud, Allah amusiime yagamba, nti Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye yagamba nti: (Ekibina ekisinga obulungi mu kibina kyange gwe mulembe gwange, olwo abo abajja oluvannyuma lwabwe) (Bukhari 2652, ne Muslim 2533).
٣
Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye yakirambika bulungi nti empeera zaabwe n’ebikolwa byabwe bijja kukubisibwamu, Abu Sa`id al-Khudri, Allah amusiime, yagamba: Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye yagamba nti: (Temuvuma ba Swahaaba bange, kubanga singa omu ku mmwe asadaaka zaabu eyenkanankana n’olusozi Uhud, teyandituuse ku ddaala ly’omu ku bo wadde ekitundu.) (Bukhari 3673).

Kiki ekirina okukolebwa eri ba Swahaaba, (Allah abasiime)

Kikakata ku musilaamu eri baswahabah ebintu ebingi:

1- Okubaagala, n'ekubawa ekitiibwa era n'okubasabira:

Allah yatendereza bamuhajireen abaaleka amaka gaabwe n’ebyobugagga byaabwe e Makka ne basenguka e Madinah olw’okufaayo ku ddiini yaabwe n’okunoonya okusanyusa Allah n’agoberera ekyo n’okutendereza Abaansar, abantu b’e Madinah, abaawagira baganda baabwe n’abagabana nabo obugagga n’ebintu bye baalina, n’okutuuka n’okuteeka baganda baabwe mu maaso gaabwe okutuusa ku lunaku lw’amazuukira obulungi n’eddaala lya ba Swahaaba, babaagala, era babasabire, era abatalina bukyaayi wadde okwetamwa mu mitima gyabwe ku muntu yenna ku bo.

Yagamba Allah: (Na bwe kityo abaavu abaasenguka okuva e (Makkah) ne bagobwa mu mayumba gaabwe ne balesebwa e mmaali yaabwe nga banoonya obulungi n'okusiima kwa Katonda era nga baali bataasa ddiini y'a Katonda n'omubakawe (balinako omugabo). Abo nno b'ebakkiriza abamazima. Abatuuze b'e Madinah abaasooka okukkiriza obusiramu (ba Answar) baagala abo abaasengukira gyebali (ba Muhajiruuna), era tebalina nsaalwa yonna kwebyo ebyaweebwa bannabwe (ba Muhajiruna) era nga beeresa newakubadde nga balina obwetaavu bo bennyini. Omuntu awona omulugube, abo nno b'ebokwesiimira ddala. Naabo abajja oluvanyuma lwabwe babasabira nga bagamba nti ayi Katonda tusonyiwe ne baganda baffe abaatukulembera mu bukkiriza, era tossa mu mitima gyaffe nsaalwa yonna eri abo abakkiriza. Ayi Katonda waffe gwe musaasizi oweekisa ekingi.) (Al Hashir:8-10)

2- Okusaba Allah abasiime bonna:

Kigwaana eri omusiraamu singa omu ku bbo aba ayongedwaako, alina okugamba nti: “Allah Omugulumivu amusiime, era Allah yatugamba nti yakkiriza ebikolwa byaabwe eby’obuwulize bwaabwe, era nti bamusiima olw’ekyengera ky’eddiini n’ensi eno gy’abawaddeyo, Allah Omugulumivu yagamba nti: (N'abo abaasookera ddala okukkiriza mu baasenguka okuva e Makkah ne ba Answari (abaataasa Nabbi) n'abo abaabagoberera mu kukola obulungi, Katonda yabasiima nabo ne bamusiima, era Allah yabateekerateekera e jjana ezikulukutiramu e migga nga baakubeera mu zo olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusukkulumu.) (Taubah:100)

Ekifo ky' aswahaabah

1- Baswahaba b’omubaka wa Allah bonna baali bantu ba mpisa n’abazirakisa, naye abasinga obulungi mu bo baali ba Khalifa abana abalung’amibwa obulungi, abaali, mu nsengeka: Abu Bakr al-Siddiq, Umar ibn al-Khattab, Uthman ibn Affan, ne Ali ibn Abi Talib, Allah abasiimye bonna.

2- Baswahaaba b’Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, bantu tebakumibwa okuva eri esonbi era basobola okugwa mu nsobi, naye ensobi zaabwe ntono okusinga ensobi z’abalala, era obutuufu bwabwe businga obutuufu ku bw’abalala, Allah yabalonda nga abantu abasinga obulungi okubeera banywanyi ba Nabbi we okusitula eddiini eno: “Abisinga obulungi mu kibina kyange ekyo kyanasindikibwa mu, olwo abajja oluvannyuma lwaabwe” (Muslim: 2534).

3- Tujulira ku Baswahaaba ab'ekitiibwa n'obwenkanya n’obulungi, era ne twogera ku mpisa zaabwe ennungi era tetugenda mu maaso n’okubunyisa ensobi oba okufuba okwali kukontana n’ebyo ebyali bituufu, kubanga baalina obwesimbu obu’okukkiriza, ebikolwa ebirungi n’okugoberera okusinga ebyo, nga Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yagamba nti: (Temuvuma baswaabah bange, kubanga omu ku mmwe singa awaayo olusozi Uhud mu zaabu, teyandituuse ku ddaala lya limu nabo wadde ekitundu kyalyo” (Bukhari 3673).

Abantu be nyumba y'obwannabbi

Abantu be nyumba yo Mubaka be bakyaala be n'abaana baabwe n'ebenganda be mu baana ba bataata be abato: Abantu ba Ali n'ebantu ba Aqeel, n'abantu ba Jaafar n'abantu ba Abassi ne abaana baabwe.

Abasinga obulungi bebo abaasisinkana Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, nga Ali ibn Abi Talib ne Fatima muwala wa Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye awamu ne batabani baabwe: Al-Hassan ne Al-Hussein, bakama b’abavubuka b’abantu b’ejjana, n’abakyala b’omubaka wa Allah, bamaama b’abakkiriza. Nga Khadija bint Khuwaylid, ne Aisha ow’amazima, Allah abasiimye bonna.

Allah Omugulumivu yagamba ku bakyala ba Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, oluvannyuma lw’okubalung’amya okutuuka ku mpisa ez’oku ntikko n’empisa ezisinga obulungi: (Allah ayagala okuggyako ebibi, mmwe abantu ab’omu Nnyumba, n’okubatukuza n’okutukuzibwa okujjuvu) (Al-Ahzab: 33).

Okwaagala abantu be'ennyumba ya Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere Ku yye

Omusiraamu ayagala nnyo amaka ga Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, abakkiriza abagoberera Sunnah ze, era ekyo bakifuula ekitundu ky’okwagala kwa bwe eli Nabbi ebyengera n'emirembe bibbere ku yye, mu kugondera hadith y’omubaka wa Allah mu kwagala kwe n’okulabirira amaka ge, ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, n’empisa ennungi gye balina:" Mbajjukiza Allah Ku bikwata Ku maka gange, mbajjukiza Allah ku bikwata ku maka gange, mbajjukiza Allah ku bikwata ku maka gange” (Muslim: 2408). Nga taata omusaasizi bw’agamba nti: nbajjukizza Allah, Allah, ku lw’abaana bange.

Omusiraamu yeesamba ebibinja ebyo ebibiri:

١
Ekibinja ekisukka ekkomo mu kussa ekitiibwa mu maka ga Nabbi ne kibasitula okutuuka ku ddaala ly’okutukuzibwa.
٢
Ekibinja ekitabawa kitiibwa, ekibawalana era ekitabagala.

Abantu b'omu nnyumba ya Nabbi nabo bakola ensobi (tebakuumibwa butakola nsobi)

Abantu b’omu nnyumba (ya Nabbi) balinga abantu abalala bonna, mu bo mulimu abasiraamu, abatakkiriza, abatuukirivu n’aboonoonyi, twagala abawulize mu bo era tusuubira empeera mukyo okuva eli Allah, era tutya ku lw’abo aboonoonyi mu bo ne tubasabila obulunngamu. Obusukkulumu bw’amaka ga Nabbi tekitegeeza nti be basinga okwagalibwa mu mbeera zonna, oba okusinga abantu bonna, Abantu baawukana mu ngeri nnyingi, era wayinza okubaawo omuntu asinga obulungi era ow’ekitiibwa mu bo.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار