القسم الحالي: Obukkiriza
الدرس Okukkiriza ababaka
Amakulu g'okukkiriza ababaka
Kwe kukkiriza okunywevu nti Allah yasindika mu buli kibiina omubaka okuva mu bo abakowoole eri okusinza Allah yekka, nga talina amugatibwaako, nga Allah bwe yagamba: (Era mazima twatumanga mu buli kibiina omubaka (abalagire nti) musinze Allah, mweke(okusinza) ab'obulimba) (Al Nahli;36)
Tukkiriza nti Ababaka bonna ba mazima era abeesigika, batya Allah era beesigwa, era nga baluŋŋamizibwa era nga balungamwa, era nti baatuusa buli kintu Allah kye yabatuma nakyo, era tebaakikweka wadde okukikyuusa, wadde okukigattako ennukuta emu eyabwe, era tebaagiggyako, nga Allah Omugulumivu bwe yagamba nti: (Abo abatuusa obubaka bwa Katonda ne bamutya ne batatya muntu yenna okuggyako Allah. Kimale okuba nga Allah ye Muyambi, Omubazi” (Al-Ahzab: 39).
Abantu beetaaga obubaka obw’obwakatonda obubannyonnyola amateeka era obubalung’amya okutuuka ku kituufu, Obubaka mwoyo gw'ensi , ekitangaala, n’obulamu bw’ensi, butukirivu oba kulongoka kii okwensi bwe buba tebuliimu mwoyo, bulamu, n’ekitangaala?
Eyo y’ensonga lwaki Allah yayita obubaka bwe omwoyo, era omwoyo bwe guba teguliiwo tewali bulamu, Allah Omugulumivu yagamba nti: (Nabwekityo twakutumira (ggwe Nabbi Muhammad) omwoyo (Kur’ani eyitibwa omwoyo wano olwokuba yeewa emyooyo gy’abantu obulamu) nga ekyo kisinziira ku kiragiro kyaffe. Wali tomanyi nti ekitabo (Qur’ani) kye ki, wadde obukkiriza naye twagifuula ekitangaala nga tulungamya nayo oyo gwetuba twagadde mu baddu baffe, era mazima ggwe ddala olungamya eri ekkubo eggolokofu.) (Shuraah:52) Kino kiri bwe kityo kubanga ebwongo, wadde nga bumanyi ebirungi okuva ku bibi okutwaliza awamu, tebusobola kumanya bikwata ku byo n’ebikwata ku nsonga eyo. Okukola ebikolwa by’okusinza n’enkola zaabyo bisobola okumanyibwa okuyita mu bw'asibwa n’obubaka bwokka.
Tewali ngeri yonna ey’essanyu n'obuwanguzi mu nsi n'enkomerero okuggyako okuyita mu mikono gy’Ababaka, era tewali ngeri yonna gy’oyinza kumanya kirungi n’ekibi n’obutuufu okuggyako okuyita mu bo. Allah Omugulumivu yagamba nti: {Netugamba nti, kale mwenna mugifulume (e jjana). Buli lwonna obulungamu lwe bu n'abajjiranga okuva gyendi, abo abaligoberera okulungamya kwange tebaliba na kutya era tebagenda kunakuwala.Naye abo abaligaana okukkiriza ne balimbisa ebigambo byaffe be b'okuba mu muliro obugenderevu.} [Al-Baqarah: 38-39]
Yemu ku mpagi z'okukkiriza
Okukkiriza mu Batume y’emu ku mpagi z’okukkiriza omukaaga Allah Omugulunivu agamba nti: (Omubaka yakkiririza mu ebyo ebyabikkulwa okuva eri Mukama we, era [bwe batyo] n'abakkiririza bakiririzza mu Katonda ne bamalayika be n’ebitabo bye n’ababaka be (bagamba abakkiriza) nti: Tetwawula wakati w'omu mu babaka be.) (Al Baqara:285). Ayah eraga obwetaavu bw’okukkiriza ababaka bonna, emirembe n’emikisa bibeere ku bo, awatali kwawula Ffe tetukkiririza mu babaka abamu ate abalala ne tutakkiriza, nga bwe kiri ku Bayudaaya n’Abakristaayo.
Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye yagamba ku kukkiriza nti: (Kwe kukkiriza Allah, bamalayika be, ebitabo bye, ababaka be, olunaku olw’enkomerero, n’okukkiriza okugela Kwa Allah, ekirungi n’ekibi) (Muslim 8).
Obubonero n'ebyamagero bya Bwe
Allah yawagira Ababaka be, emirembe gibeere ku bo, n’obukakafu n’obujulizi obw’enjawulo obulaga amazima gaabwe n’obunnabbi bwabwe, omuli n’okubawagira n’ebyamagero n’obubonero obulabika obusukkulumye ku busobozi bw’abantu. Okusobola okukakasa obutuufu bwabwe n’obunnabbi bwabwe. Ebyamagero bitegeeza: bye bintu eby’enjawulo Allah by’alaga ng’ayita mu bannabbi be n’ababaka be mu ngeri abantu gye batasobola kulenta kintu kyonna ekiringa ekyo.
Mu byamagero bya bannabbi, emirembe gibeere ku bo
Okukkiriza Ababaka kuzingiramu kii?
1- Okukkiriza nti obubaka bwabwe bwa mazima okuva eri Allah Omugulumivu, era nti obubaka bwakkiriziganya mu kukoowoola kwabwe okusinza Allah yekka nga tagattibwako.
Yagamba Allah Omugulumivu: (Mazima buli bantu twabatumira omubaka (nga agamba) nti musinze Katonda mwewale ebisinzibwa ebirala byonna) (AL Nahli:36)
Amateeka ga bannabbi gayinza okwawukana mu matabi g’ebyo ebikkirizibwa n’ebigaanibwa okusinziira ku bibiina byabwe. nga Allah Omugulumivu bwagamba: (buli bamu mu mwe twabawa amateeka n'enkola) (Al Maedah:48).
2- Okkukiriza Banabbi n'abakaka bonna
Tukkiririza mu Bannabbi Allah be yatubulila amannya, gamba nga: Muhammad, Ibulayimu, Musa, Issa, Nuuhu, Yakobo, Yusufu, Yunusu, n’abalala, emirembe n’emikisa bibeere ku bo Ate abo be tutamanyi mannya gaabwe, tubakkiriza okutwaliza awamu, era oyo yenna atakkiriza bubaka bw’omu ku bo aba takkiriza bonna.
3- Okukkiriza obutuufu bw’amawulire gaabwe n’ebyamagero byabwe.
Tukkiririza mu mboozi entuufu ez’ababaka n’ebyamagero byabwe mu Qur’an ne Sunnah, gamba ng’emboozi y’okwetemaatemamu kw’ennyanja ku lwa Musa, emirembe gibeere ku yye.
4- Okukolera ku mateeka g’Omubaka eyatumibwa gyetuli, asinga era asembayo mu bo: Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere ku yye.
Mu bitendo bya Babaka:
1- Mazima bo bantu
Enjawulo wakati waabwe n’abalala eri nti Allah yabawula n'ebyasibwa n’obubaka, Allah Omugulumivu yagamba nti: (Oluberyeberyelwo tetwatumanga okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze abalina okumanya bwe muba nga temumanyi.) (Al-Anbiya: 7), era n’agamba nti: (Bagambe nti mazima nze ndi muntu nga mmwe, (wabula) nfuna obubaka nga bugamba nti mazima Allah wa mmwe ali omu) (Al-Kahf: 110). Tebalina kibeyawulidde kyonna mu nkizo z’Obwakatonda oba Okusizibwa, naye bantu abatuuka ku butuukirivu mu kutondebwa , nga bwe batuuka ku ntikko y’okutuukirizibwa kw’empisa era be basinga obulungi mu bantu mu lunyiriri, era balina ebirowoozo ebirungi n’ennimi entangaavu ebibafuula abasaanira okwetikka obuvunaanyizibwa bw’obubaka n’okwetikka emigugu gy’Obunnabbi. Allah yakola Ababaka okuva mu bantu basobole okuba eky'okulabirako okuva mu kika kyabwe. Olwo, okugoberera Omubaka n’okumukoppa kyandibadde mu busobozi bwabwe era mu kkomo ly’obusobozi bwaabwe.
2- Yabawula Allah n'obubaka.
Allah Omugulumivu yabawula n'obubaka, okwawukanako n'abantu abalala, nga Ye Ali Waggulu Ennyo bwe yagamba: (Allah alonda mu ba Malayika ababaka, bwatyo ne mu bantu, mazima Katonda muwulizi alaba nnyo.) (Al Hajji:75) Obunnabbi n’obubaka tebifunibwa okuyita mu bulongoofu obw’omwoyo, amagezi, oba enzikiriziganya ey’amagezi, wabula okuyita mu kulonda n’okusunsula okw’obwakatonda Allah yalonda ababaka n’abalonda mu bantu bonna, nga Allah bwe yagamba nti: (Allah amanyidde ddala wassa obubaka bwe) (Al-An’am: 124).
3- Tebasobya mu bye batuusa okuva eri Allah.
Tebakola nsobi mu kutuusa obubaka bwa Allah, era tebakola nsobi mu kussa mu nkola ebyo Allah bye yabasiira.
4- Amazima
Ababaka emirembe gibeere ku bo, ba mazima mu bigambo byabwe ne mu bikolwa byaabwe Allah Omugulumivu yagamba nti: (ekyo kyekyo Allah Omusaasizi enyo kye yalagaanyisa n'ababaka baayogera mazima.) (Yasiin:52)
5- Obuguminkiriza
Bakoowola eri ddiini ya Allah Omugulumivu, nga baleeta amawulire amalungi n’okulabula, era olw’ekyo ne babonyaabonyezebwa ebibi n’ebizibu eby’enjawulo, naye ne bagumiikiriza era ne bagumiikiriza olw’okusitula ekigambo kya Allah nga Allah bwe yagamba; (N’olwekyo (gwe omubaka) guminkiriza nga ababaka abavumu bwe baguminkiriza ) (Al Ahqaaf:35).
Okukkiriza mu Babaka kulina ebibala ebinene, omuli:
Allah Omugulumivu yagamba; (N'oyo yenna aligoberera okulunngamya kwange ( okulireetwa ababaka)talibula, wadde okwonooneka, Ate oyo ava ku kubuulirira kwange, mazima abeera mu bulamu obunyiga, ate ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuzuukiza nga muzibe.) (Al Ambiya: 123-124)