Ekitundu ekiriwo kati: HADITHI NE SUNNAH (EBIGAMBO N'EBIKOLYA BYA NABBI)
Omusomo SUNNAH Z'OMUBAKA EBENGERA N'EMIREMBE BIBEERE KU YE
Sunnah z’omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye obubaka bya Allah bwe yassa ku Nabbi we Muhammad ebyengera n'emirembe bibeere yye awamu n’ekitabo kya Allah eky’ekitiibwa, gwe musingi era ensibuko y’eddiini y’Obusiraamu. bitambula wamu, tebwawukana, nga bwe kiri mu kujulira nti tewali asizibwa mu butuufu okuggyako Allah n’okujulira nti Muhammad Mubaka Allah. Oyo yenna atakkiriza Sunnah takkiriza Qur’an.
Okunnyunyula Sunnah
Sunnah za Nabbi ze: ebyo ebyassibwa ku Nnabbi, ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, mu bigambo oba ebikolwa oba okusiima kwe oba ebitendo by’omubiri oba e by’empisa.
Ekifo kya sunnah za Nabbi
Sunnah za Nabbi zilina ekifo ekyamanyi mu busiraamu, n'ebimu mu kifo kya zo bwe bino:
1. Ye nsibuko ey'okubiri eya mateeka g'obusiraamu.
Sunnah y’ensibuko y’eddiini eyookubiri oluvannyuma lwa Qur’an Entukuvu. hadith nga eva ku Al-Miqdam bin Ma’dikarib Al-Kindi, yagamba: Omubaka wa Allah, yagamba nti: “Naweebwa Ekitabo n’ekintu ekifaananako nakyo. Naweebwa Qur’an n’ekintu ekifaananako nakyo. Omusajja mu bbanga ttono ajja kugalamira ku kasolya ke, ng’ajjudde, n’agamba nti: ‘Kyonna ky’osanga mu kyo ekyo kiri kikkirizibwa, olwo kitwale nga kikkirizibwa, era kyonna ky’osangamu ekiziyiziddwa, olwo kitwale nga kiziyiziddwa.’” Musnad Ahmad (17174).
2. Mazima bubaka okuva ewa Allah Omugulumivu
Sunnah za Nabbi bubaka obuva ewa Allah Omugulumivu eri Omubaka we ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yagamba Allah Omugulumivu: (Era tayogera nga asinziira ku kwagala kwe, Tebiri byo (byayogera) okugyako okuba nti bubaka obuwereezebwa (gyali nga buva ewa Allah, Yabimuyigiriza owamaanyi amayitirivu (Malayika Jiburilu.) (Najim;3-5)
3. Mazima zo zinnyonnyola Quran
Sunnah za Nabbi zirimu okunnyonnyola Quran. Allah Omugulumivu agamba nti: (Tubatuma nga tubawa) obujulizi obweyolefu n'ebitabo, era twassa ku ggwe ekyokujjukiza osobole okunnyonnyola abantu ekyo ekyassibwa gye bali olwo babe nga beefumiitiriza.) (Nahli:44)
Aya za Qur’an Entukuvu zajja mu nsonga nnyingi nga murimu amateeka ag'awamu, era Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yazinnyonnyola mu bujjuvu mu bigambo oba mubikorwa nga byekyayogerwako mu Quran Entukuvu. Okugeza nga mu kigambo kya Allah Omugulumivu: (Muyimirizeewo e sswala era mutoole zzaka mugondere n'omubaka mube nga musaasirwa.) [An-Nur: 56]. Ekiragiro ky’okuyimirizaawo eswala n’okutoola zaka kyali mu ngeri ey’awamu ante nga ebuna, era kwajja okunnyonnyola ebyo mu Sunnah, era yannyonnyola ebiseera by’esswala ettaano eza buli lunaku, engeri gy'ezisalibwamu, n’emateeka gazo amalala gonna. Era nekonnyonnyalwa okutoola zaka mu bujjuvu.
Sunnah za Nabbi zezimu ku bijjukiza Allah bye yeyama okukuuma nga Allah Omugulumivu bwe yagamba : (Mazima ffe, ffe twassa ekijjukiza (Qur’ani) era mazima ffe tujja kugikuuma.) (Al-Hijr: 9) Okujjukiza: linnya eriweebwa buli kintu Allah kye yassa ku Nabbi we ebengera n’emirembe bibeere ku ye, okuva ku Qur’an ne Sunnah.
Ekimu ku byeyoleka mu kukuuma kuno kwe kuba nti Allah Omugulumivu yateekateeka abamanyi ba Sunnah za Nabbi abaafuba ennyo okukung’aanya n’okuwandiika Sunnah, n’okussaawo amateeka agalung’amya okuginyumya. Baawulamu ebyo ebyayingira mu zo mu by’obulimba, n’ensobi, era ne bazeetoolola olwetoololwa olwawangulo, era ne bazikuuma olukuuma okwawangulu ennyo, era ne beetegereza embeera z’abazitambuza n’abazinyumya.
Allah yeyama okukuuma Sunnah ng’ayita mu banyumya n’abamanyi bano be yawa amaanyi okukuuma Sunnah ya Nabbi we ebyengera n'emirembe bibeere ku yye.
Sunnah za Nabbi y’ensibuko eyookubiri eyamateeka oluvannyuma lwa Qur’an ey’ekitiibwa, era eddiini ya Allah Omugulumivu tesobola kujjula okuggyako nga Qur’an ne Sunnah bitwaliddwa bibiri bibiri.
Sunnah nsibuko enkulu ey’okuggyamu amateeka g’Obusiraamu, era erina okukolebwako mu nsonga z’enzikiriza ne mu mateeka g’Obusiraamu.
Sunnah eyinza okujja okunnyonnyola amateeka ga Qur’an Entukuvu, era eyinza n’okujja nga yeetongodde okuteekawo amateeka. Eringanga Qur’an mu kukkiriza ebikkirizibwa n’okugaana ebiziyiziddwa.
Obujulizi bwa Qur’an Entukuvu ne hadith za Nabbi bwakakasa obujulizi bwazo n’ekifo kyazo mu mateeka g’Obusiraamu. Aya nnyingi ne hadith nnyingi eziragira okunywerera ku Sunnah oba Hadithi, n'okujjamu obujulizi, n’obwetteeka bw'okugondera Omubaka ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, Yagamba Omugulumivu: (Ebyo byonna omubaka byaba abaleetedde mubitwale. Ate ebyo byonna byaba abaziyizza mubireke mutye Katonda anti Katonda muyitirivu w'akubonereza.) (Al Hashir:7)
Hadithi nga eva ku Al-Miqaddam bin Ma’dikurib Al-Kindi, mazima Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yagamba nti: (Akaseera kanaatera okutuuka nga omusajja ng’agalamidde mu ntembe ye, nga anyumya hadiithi yange, era nagamba nti: ‘Wakati waffe naawe kye kitabo kya Allah Omugulumivu, kale kyonna kye tunaasangamu ekikkirizibwa tujja kukitwala nga kikkirizibwa, era kyonna kye tunaasangamu ekigaaniddwa tujja kukitwala nga kigaaniddwa. Abaage mazima ekyo kyaziyizza Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye kifaanagana nga ekyo Allah kyaziyizza ) ibn Majja (12).
Allah yakifuula kyatteeka ku baddu be okugondera Omubaka we ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, n’okugoberera Sunnah ze, mu bigambo bye, mu bikolwa bye, ne mu nneeyisa ye. Yagambye nti: (Gamba abantu (ggwe Muhammad () nti bwe muba mwagala Katonda, kale nno mungoberere Katonda ajja kubaagala era abasonyiwe ebyonoono byammwe, bulijjo Katonda musonyoyi musaasizi.) (Imreen:31) era yagamba: (olwo nno mube nga mulungamye.) (A'raaf: 158)
Hadithi nga eva ku Al-Erbadh bin Sariyah Allah amusiime, nti Omubaka wa Allah ebyengere n'emirembe bibeere ku ye, yagamba nti: “Naye mbakuutira okwekwata kunkola yange (Sunnah) n'enkola yabasigire bange abalunngamu era abalunngamya, mugyekwateko namagego, mbekesa ebintu byonna ebizuule mu ddiini kubanga buli kizuule (muddiini) kyabubuze. .” Abu Dawud (4607).
Okugoberera kitegeeza okunywereza ku ebyo Omubaka ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, bye yayogera oba bye yakola, n’okugoberera ekkubo n’enkola ya Nabbi mu kugoberera ebiragiro n’okwewala ebyaganibwa, n’okussa mu nkola eddiini n’okujikolerako.
Okugoberere (Nabbi) kyabwatteeka mwebyo eby'obwetteeka era kyagalibwa mwe bwo eby'ekyeyagarile.
Okugoberera Sunnah kulina ebilungi n’emigaso mingi, omuli:
Okugoberera Sunnah n’okuzinywererako kijja kutaasa omuntu okugoberera ebibiina Nabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku ye, bye yasuubiza omuliro gwa Jahannam. Hadithi nga eva ku Abdullah ibn Amr Allah abasiime bombi, yagamba nti: Omubaka wa Allah okusaasira n’emirembe bibeere ku ye yagamba nti: “Ebyatuuka ku Baana ba Isirayiri bijja kutuuka ku kibiina kyange, kigere ku kigere (omutendera ku mutendera), okutuuka ku ssa nti omu mu bo yeegatta ne nnyina mu lwatu, wajja kubaawo omuntu mu kibiina kyange ajja okukola kye kimu. Abaana ba Isirayiri bayawukana mu ebibinja nsanvu mu bibiri, n’ekibiina kyange kijja kweyawulamu ebibinja nsanvu mu bisatu, byonna nga biri mu muliro gwa Geyeena okuggyako ekibijja kimu.” Ne bagamba nti: “Era abo bebaani, owange gwe Omubaka wa Allah?” Yagamba nti: Oyo yenna anagoberera ekyo nze kyendiko ne baswahaaba bange.” Tirmidhi (2641).
Okunywerera ku Sunnah y’engeri y’okufuna obulunnggamu n’obukuumi okuva eri obubuze. Allah Omugulumivu yagamba nti: (era mu mugoberere, olwo nno mube nga mulungamye.) [Al-A’raf: 158]. Hadithi nga eva ku Abu Hurayrah Allah amusiime, yagamba nti: Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, yagamba nti: “Ndise mu mmwe ebintu bibiri temugenda kubula nga mubwekuteko: Ekitabo kya Allah ne Sunnah zange.” Al-Mustadrak Al-Hakim (319).
Okukkiriza omulimu omulungi kisinziira ku kukwatagana kwago ne Sunnah, Gulina okuba nga omulimu gukwatagana ne Sunnah za Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, Hadithi ega eva ku Aisha Allah amusiime, nti Omubaka wa Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku ye, yagamba nti: (Buli yena akola ekikolwa ekitaliiko kiragiro kyaffe, kigenda kumudizibwa.) Muslim (1718).
Okugoberera Sunnah kabonero akalaga nti ogoberera Nabbi okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye, era oyo yenna ava ku Sunnah aba avudde ku Nabbi. Anas ibn Malik Allah amusiime yagamba: Abasajja basatu bajja eri amayumba ga bakyala ba Nabbi okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye, nga babuuza ku kusinza kwa Nabbi okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye. Bwe baategeezebwa, baakitwala nga okusiza kwa Nabbi okuzito ne bagamba nti: Tuli ludda wa nga tugeraageranya ne Nabbi okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye? Ebibi bye eby’emabega n’eby’omu maaso bwasonyiyibwa. Omu ku bo n’agamba nti: Nze nja kusaala ekiro kyonna emirembe gyonna. Omulala n’agamba nti: Nja kusiiba buli kiseera era nga sisiibulukuka. Omulala n’agamba nti: Nja kwewala abakazi era sijja kuwasa. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye yajja gye bali n’abagamba nti: “Mmwe bayogedde bwe batyo n'ebye batyo, Naye nze ndayira Allah, nze abasinga okutya Allah kusinga mmwe, naye nsiiba n’esiibulukuka, nsaala ne nneebaka, era mpasa abakazi. Oyo yenna ava ku Sunnah yanze si wamu nze.” Al-Bukhari (5063).
Mu kweekumila ku Sunnah songa ey'okuwoona okuva eri okugezesebwa n’ebibonerezo ebiruma ennyo, Allah Omugulumivu yagamba : (Abo abaawukana ku kigambokye bateekeddwa okutya okuba nga batuukwako okugezesebwa oba ebibonerezo ebiruma ennyo.) (Nuur:63)
Omuntu bw’agoberera Sunnah n’okuzenywerezako, ajja kutuuka ku buwanguzi n’essanyu ku nsi n'enkomerero. yagaba Allah: (Oyo yenna agondera Allah n'Omubaka We n'atya Allah ne yeeyisa nga Allah bw'ayagala abo be bawanguzi.) (Nuur:52).