Sigala ng'oyiga

Tewayingidde
Wewaandiise kati ku mukutu gwa Taa otandike okuyiga, ogoberere enkulaakulana yo, okunngaanye obubonero era oyingire empaka, oluvannyuma lw'okwewandiisa, ojja kufuna satifikeeti ey'omutimbagano ku miramwa gy'osomye

Ekitundu ekiriwo kati: Obukkiriza

Omusomo Okukkiriza okusinzibwa kwa Allah

Allah Omugulumivu Yasinzibwa yekka mu butuufu, era ebisinzibwa ebirala bisinzibwa mu bukyamu. Mu ssomo lino, ogenda kusoma amakulu n'emigaso gy'okwawula Allah mu kumusinza

  • Okumanya amakulu g'okwawula Allah mu kumusinza
  • Okumanya emigaso gy'okwawula Allah mu kumusinza

Amakulu g'okwawula Allah mu kumusinza

Okukakasa okunywevu nti Allah Omugulumivu mu bwa nnamunigina bwe yagwanidde okusinzibwa mu kusinza kwonna okweyolefu n'okwekyama, nabwekityo twawula Allah mu miteeko gyonna egy'okusinza, nga okusaba, okutya, n'okwesigamira, okusaba okuyambibwa, okusaala, okutoola Zakah, okusiiba, ddala teri kisinzibwa mu butuufu okujjako Allah Omugulumivu, nga bweyagamba Oyo eyayawukana: (Omusizibwa wa mmwe ali omu, kale nno, buli yenna asuubira okusisinkana Mukama omulabiriziwe ateekwa okukola emirimu emirungi era mu kusinza n’atagatta kintu kyonna ku Mukama Omulabiriziwe.) (Al Kahf: 110).

Atutegeeza Owawaggulu nti Allah Ali omu, kwegamba Asinzibwa Ali omu, era tekikkirizibwa kuteekawo kisinzibwa kitali Yye wadde okusinzibwa kwekyo ekitali Yye.

(Mazima Omusizibwa wammwe ye Allah oyo awatali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okuggyako yye, yamalayo buli kintu kyonna mu kumanya.) (Twaahaa: 98).

Obukulu bw'okwawula Allah mu kumusinza:

Bweyoleka obukulu bw'okwawula Allah mu kumusinza mu ngeri nyingi:

Ddala kyekigendererwa ekikulu lwaki amageege (amajinni) n'abantu byatondebwa

Tetwatondebwa okujjako okusinza Allah yekka mu bw'omu Bwe nga tagattiddwaako, nga bwe yagamba Omugulumivu:(Saatonda amageege (amajinii) n'abantu wabula Ku lwa kunsinza.) (Addhaariyaat: 56).

Kubanga ky'ekigendererwa ekikulu mu kutumibwa kwa ababaka n'okussa ebitabo

Ng'ekigendererwa mwekyo kw'ekukoowoola ebitonde okusinza Allah yekka, n'okuwakanya byonna ebisinzibwa ebitali Yye, nga bwe Yagamba Omugulumivu: ( Mazima buli bantu twabatumira omubaka (nga agamba) nti musinze Allah mwewale ebisinzibwa ebirala byonna.) (Al Nahli:36).

3.Mazima kye ky'obweteekwa ekisooka eri omuntu.

Nga bwe kyajja mu kiraamo kya Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye eri Muadh ibn Jabal Allah amusiime bwe yamusindika e Yemen, ng’amugamba nti: “Ogenda eri bannannyini kitabo, kibeere ekintu ekisooka okubakoworelako kusinza Allah Omugulumivu” (Bukhari 1458, Muslim 19).

4.Mazima Okwawula Allah mu Ku musinza (Tawhiid al Uluhiyyah) ge makulu amatuufu aga "Tewali asinzibwa mu butuufu bwakusizibwa okuggyako Allah.

Katonda y’oyo asinzibwa, era amakulu ga “Tewali asinzibwa mu butuufu okuggyako Allah ge gano: Tewali asinzibwa wa mazima okuggyako Allah. Tumusinza yekka era tetukyusa kika kya kusinza kwonna eri kintu kilala kyonna.

5. Okukkiriza okusinza Allah kiva mu magezi okuva mu kukkiriza nti Allah yekka ye Mutonzi, Omufuzi, era Omugoba w’ensonga.

Mazima omusomo ogumaliriza bulungi


Tandika ekibuuzo