القسم الحالي: Okusinza
الدرس Obwenyini bw'okusinza
Okusinza: ly'erinnya erikungaanya buli kimu Allah Omugulumivu kyasiima mu bigambo ne mu bikolwa eby'eyolefu n'ebyekweese bitwalibwa nga kusinza.
Obwenyini bw'okusinza.
Okusinza kwe; Okugondera okujjuvu n'okwagala n'okugulumiza n'okugonda, era mugabo gw'Allah eri abaddu be, gweyawulidde Allah yekka nga tewali mulala agwaanye kusizibwa, mulimu buli kimu Allah kyayagala ne kyasiima, mu bigambo ne mu bikolwa byeyalagira eby'eyolefu nga esswala ne zakka ne hijja, n'emumilimu gyekweese nga okujjukira Allah n'omutima n'okumutya n'okumweesingamira n'ekumusaba obuyambi, n'ebirara.
Mu kusaasira kw'Allah eri abaddu be kwe kubateerawo emiteeko gy"okusinza nga, mulimu;
Ekyigeedererwa ky'Allah okufuula okusinza mu miteeka ejenjawulo nga mingi, omuntu asobole okufunira amaanyi n'okwagala okusinza, nga takoowa wadde okwetamwa, omuntu asobole okusinza nga afuna amaanyi mu kwo.
Nga okusinza we kulina emiteeko n'abantu balina emiteeko mu busobozi bwabwe, mulimu abafuuna amaanyi mangi mu kusinza okusiinga ku balala, oboolyawo omu ku bo ayagala nnyo okuba owekisa eri abantu, ne omulala ayanguyizibwa okusiiba okutali kwa bw'atteeka, ne w'okusatu omutima gwe gwesiba ku kusoma Quran ne okugyikwaata mu mutwe.
Yagamba omubaka w'Allah ebyengera n'emirembe bibeere ku yye: "Oyo yenna eyali mu bantu b’esswala ajja kuyitibwa ( okuyingira ejjana) okuva ku mulyango gw’esswala, era oyo yenna eyali mu bantu ba jihad ajja kuyitibwa okuva ku mulyango gwa jihad, era oyo yenna eyali mu bantu abasadaaka ajja kuyitibwa okuva ku mulyango gw'asadaaka , era oyo yenna eyali mu bantu b’ekisiibo ajja kuyitibwa okuva ku mulyango gwa Al-Rayyan" yagamba Abubakar Aswiddiq; Ayi Omubaka wa Allah , waliwo omuntu yenna agenda okuyitibwa okuva ku milyango egyo gyonna? n'agamba Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye: iye, era nsubira okuba gwe mubbo. (Bukhar1897, Muslim: 1027).
Okusinza kuzingiramu ebikolwa byonna eby’omukkiriza singa aba agenderera okusemberera eri Allah Omugulumivu, Okusinza mu Busiraamu tekukoma ku mikolo egy’okusinza egyamanyibwa nga ku okussala n'ekusiiba, n’ebirala ebiringa ebyo Wabula, byonna eby’omugaso ebirina ebigendererwa ebirungi ekigendererwa kifuuka ebikolwa eby’okusinza ebijja okusasulwa mu empeela, Singa Omusiraamu alya oba yeebaka n’ekigendererwa eky’okugondera Allah Omugulumivu mu ngeri ey’okutya Allah; Ajja kusasulwa olw’ekyo
Omusiraamu awangaala obulamu bwe bwonna ku lwa Allah, alya asobole okweyongela amaanyi ayimilizeewo obuwulize bwe eri Allah, era okulya kwe n’ekigendererwa kino kubaa kusinza, Awasa okwewonya ebibi ebigaanibwa, n’olwekyo obufumbo bwe bufuuka ekikolwa eky’okusinza ng’alina ekigendererwa ng’ekyo, n’okufuna ssente kufuuka okusinza, era n’okufuna okumanya ne satifeketii, okunoonyereza kwe, okuzuula kwe(ebikwaata ku diini yye), n’okuyiiya kwe kufuuka okusinza. Omukazi okulabirira bba, abaana be, n’amaka ge kikolwa kya kusinza, era n’ebitundu byonna eby’obulamu n’emirimu gyabyo egy’omugaso n’ensonga zaabyo bwe bityo, kasita ebyo byonna biba nga bigattiddwa wamu n’ebigendererwa ebirungi.
Okusinza kyekigendererwa ky'okutonda:
Yagamba Allah; (Era Ssaatonda amajinni n’abantu wabula lwakuba nti bansinze.Sibaagalamu Riziki era Ssaagala bandiise.Mazima Katonda yye yaagaba Riziki nannyini maanyi omusobozi.) (Dhariyaat 56-58)
Allah Omugulumivu yatugamba nti ekigendererwa ekili emabega w’okutonda amajinni n’abantu kwe kuba nti balina okusinza Allah Omugulumivu, era Allah Omugulumivu teyeettaga kusinza kwaabo, naye bo bebetaaga okumusinza olw’obwavu bwaabwe eri Allah Omugulumivu.
Omuntu bwalagajjalira ekiruubirirwa ekyo nasaa esila mu ssanyu ely’ensi nga tajjukira kiruubiririwa ky'Allah olwokubeerawo kwe; akyuuka nafuuka ekitonde ekitaliina mugaso gwonna ku bitonde ebirala eby’ensi eno, Ebisolo nabyo birya era bisanyuka, n'ewankubadde nga tebijja kuvunaanibwa mu bulamu obw’oluvannyuma lw’okufa, okwawukanako n’abantu, Allah Omugulumivu yagamba nti: (N’abo abatakkiriza beeyagala era ne balya ng'ensolo bwezirya, era omuliro bwe buddo bwabwe.) (Muhammad: 12) nga bwe kiri. Bafaanana ebisolo mu bikolwa byabwe ne mu biruubirirwa byabwe, naye bajja kubonerezebwa olw’ekyo. Kubanga balina obwongo bye bategeera nabo, obutafaananako nsolo ezo ezitalowooza.
Okusinza Allah kwe yalagira kwesigamiziddwa ku mpagi ssatu enkulu, nga buli emu ejjuza n’endala
Empagi z'okusinza
Okusinza Allah kweyaragira baddu be kulina okuzingiramu obwetoowaze obujjuvu, okugondera Alah, n’okumutya, awamu n’okwagala okujjuvu, ekigendererwa kyakwo, okumwagala, n’okumusuubiramu.
Okusinziira ku kino, okwagala okutawerekerwako kutya oba kugonda - gamba ng’okwagala emmere ne ssente - si kusinza, era mu ngeri y’emu okutya okutaliimu kwagala - gamba ng’okutya ensolo n’omufuzi atali mwenkanya - tekutwalibwa ng’okusinza, Singa okutya , okwagala, n’essuubi bikwatagana mu bikolwa, kwe kusinza, era okusinza kulina okuba eri Allah yekka.
Singa Omusiraamu asaala oba asiiba era ekigendererwa kye eky’okukikola kwe kwagala Allah, essuubi ly’empeera ye, n’okutya ekibonerezo kye; aba ali mu kusinza, naye singa asaala aleme okugambibwa nti: Tasaala, oba yasiiba n’ekigendererwa eky’okukuuma obulamu bwe; Tebeela mu kusinza.
Allah Omugulumivu yagamba ng’atendereza Bannabbi be:(mazima bbo baalinga bettanira okukola ebirungi era nga batusaba ku lw'okwagala okufuna ebirungi bye tulina ne ku lw'okutya ebibonerezo byaffe era baalinga batugondera.) (Al Anbiya:90).
Ebika by’okusinza:
Okusinza okw'ekikolo
Kyekyo Allah n’Omubaka we bebalagira okukolebwa mu ngeri eyeetongodde, era tekiba okuggyako kiba kikolwa eky’okusinza kyokka, gamba nga: esswala, okusiiba, Hijja, okusaba, okwetooloola kaaba, n’ebirala ebiringa ebyo, tebikkirizibwa okwewaayo eri ekintu kyonna ekitali Allah, wadde okunoonya empeera ku lwabwe okuva eri ekintu kyonna akitali Yye.
2- Ekifuuka okusinza olw’ekigendererwa:
Mu byo mulimu empisa ennungi Allah zalagira oba abantu ze batamburilako, gamba ng’okussa ekitiibwa mu bazadde b’omuntu, okulongoosa eri abantu, okutaasa abanyigirizibwa, n’empisa endala ez’ekitiibwa Allah zalagidde okutwaliza awamu, era Omusiraamu aba ayonoona ng’alekawo kusinza okw’ekika kino, tekyetaagisa kugoberera mu bujjuvu Nabbi wa Allah ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, naye kimala obutamwawokanako n’obutagwa mu biziyivu.
Bino ebikolwa bw’oba n’ebigendererwa ebirungi era ng’agenderera okutuuka ku okugoondera Allah, ajja kufuna empeera, ate w'obikola nga togenderendemu kusiimisa Allah tofuna empeera wadde omusaango, mu bikolwa bino eby’okusinza mulimu ebintu eby’ensi mu bulamu gamba ng’otulo, okukola, okusuubulagana, okukola dduyiro n’ebirala ebiringa ebyo. Ku buli mulimu ogw’omugaso ogugendereddwa mu okusiimisa Allah Omugulumivu, oyo agukola ajja kufuna empeera Allah Omugulumivu agamba:(Mazima, tetuyonoona mpeera ya oyo akola emirimu emirungi) (Al-Kahf: 30).
Obukwakkulizo bw'okutuuka kw'okusinza buli bubiri:
Yagamba Allah Omugulumivu; (buli yenna asuubira okusisinkana Mukama omulabiriziwe ateekwa okukola emirimu emirungi era mu kusinza n’atagatta kintu kyonna ku Mukama Omulabiriziwe.) (Al Kahfi 110)
Ekigambo kya Allah Omugulumivu: (Era mu kusinza n’atagatta kintu kyonna ku Mukama Omulabiriziwe.) kilaga okuloongosa kusinza Allah yekka so si kintu kilala, n’okugamba kwe nti: (ebikolwa ebirungi) kulaga okugoberera Sunnah; Kubanga ekikolwa ekirungi kye kituufu, era omulimu si mutuufu okutuusa nga gutuukana ne Sunnah za Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye. Oyo yenna ayagala Allah n’enkomerero alina okusinza Allah ng’agoberera obukwakkulizo buno obubiri obwogeddwako mu Ayyah.