القسم الحالي: ESSWALA
الدرس Obukwakkulizo obutuusisa esswala n'ebigendererwa mu kusaala
Obukwakkulizo obutuusisa esswala
Okweetukuza okwejjako ekizuusi wamu n'obukyaafu. Hadith ng'eva ku Abdullahi mutabani wa umar okusiima kwa Allah kube ku bombiriri yagamba: nawulira nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye ng'agamba: "esswala tekkirizibwa ewatali kweetukuza" (mu kitabo kya muslim: 224)
Kakwakkulizo okubikka obwereere ng'okozesa olugoye olutalaga bitundu bya mubiri olw'okuba olumpi oba olutangaala.
Okuva ku kkundi mpaka ku maviivi
Omubiri gwe gwonna okujjako ekyenyi kye n'ebibatu bye. Hadith eva ku Aisha Allah asiima ku yye: nabbi muhammad yagamba: "Allah takkiriza swala ya mukazi yenna agenda mu nsonga (omukulu) okujjako nga yebikkiridde" (abu dawuda: 377 ne tirmidhi: 641)
Allah ow'ekitiibwa agamba: "abange abaana ba Adam mutwalenga okwenyiriza kwamwmwe ewali buli ssinzizo" (surat Al-a’raaf aya 31), era okubikka obwereere ky'ekigero ekisembayo obutono mu kwewunda, n'ekitegeezebwa mu buli ssinzizo: buli sswala.
Allah ow'ekitiibwa yagamba: "era buli wonna w'obanga oli yolekezanga amaaso go oludda lw'omuzikiti ogw'emizizo" (surat bakara aya 149)
Ekibula ky'abasiraamu ye kaaba ey'ekitiibwa eyo eyazimbibwa taata wa ba nabbi ibrahiim emirembe jibeere ku yye, era ba nabbi emirembe jibeere ku bbo nebagenda jeeri okukola hijja, era ffe tukimanyi kaaba eyo mayinja tegasobola kukosa yadde okugasa, naye Allah ow'ekitiibwa yeeyatulagira tutunule ku ludda lwaayo mu sswala, olwo abasiraamu basobole okubeera obumu mu kusinza kwaabwe nga batunudde ku ludda lumu, era nga kyo eky'okutunula ku ludda lwa kaaba kikolwa kya kusinza Allah.
Tutunula tutya mu kibula
Ekikakata ku musiraamu kwe'kutunula mu kaaba yenyini bwaaba ng'agirabako, naye bwaagibeera ewala kimumalira okutunula ku ludda lweeliko olwe makka, n'okukyaamamu kko okutono mu kuteeba oludda lwaayo tekukosa, nga nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyagamba nti: "wakati w'ebuvanjuba ne bugwanjuba weewali ekibula" (kitabo kya tirmidhi: 342)
Oyo obwetteekwa bw'okutunula mu kibula buba bumuvuddeko, nga buli kyatteekwa bwekiva ku muntu abeera tasobodde kukikola, Allah ow'ekitiibwa yagamba: "mutye Allah nga bwemusobola" (surat taghabun: 26)
Era ko kakwakkulizo akatuusisa esswala, era esswala tetuuka ng'obudde bwaayo tebunnatuuka, era kiziyizibwa okukeereyesa esswala okusukka ku budde bwaayo, nga Allah bwagamba: "mazima esswala zaalaalikibwa ku bakkiriza ebiseera ebigere" (surat nnisa: 103)
Ekisinga obulungi kw'ekusaala mu kiseera ekisooka mu budde bw'esswala, hadith eva ku Ummu farwa Allah asiime ku yye: omutume okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yabuuzibwa nti: mulimu ki ogusinga obulungi? N'agamba: "okusaalira esswala mu kiseera kyaayo ekisooka" (kitabo kya abu dauda 426)
Kikata okusaala esswala mu biseera byaayo, era kyaaziyizibwa okugikeereyesa okujjako mu mbeera ezimu omuntu weyakkirizibwa okugatta esswala ebbiri omulundi ogumu.
Kimukakatako okwanguyiriza okugiriwa wabeera ajijjukiridde, hadith eva ku anas mutabani wa malik Allah asiime ku yye: nabbi wa Allah ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "omuntu aba yeerabidde esswala oba neyeebaka neemuyitako, omutango gwaayo kugisaala wabeera ajijjukiridde" (kitabo kya muslim: 684)
Obwetteekwa bw'esswala
Esswala ekakata ku buli musiraamu omukulu ng'ategeera, atali mukyaala ali mu nsonga oba omusaayi gw'okuzaala oyo yye tasaala mpaka lwaatukula, ate era taliwa sswala zaamuyitako mu kiseera ekyo.
Omuntu alamulwaako okuba omukulu singa afuna akamu ku bubonero buno wammanga:
Esswala ettaano ez'etteeka n'ebisseera byaazo
Allah yalaalika ku musiraamu esswala ttaano mu lunaku lwe n'ekiro, nga zzo z'empagi ze ddiini, era ekyalaalikibwa ekisinga obunyweevu, era Allah n'aziteerawo ebiseera ebyeeyolese nga bwekiri wammanga:
Ebeera ya raaka bbiri, obudde bwaayo butandika ng'emmambya ey'okubiri esaze, era awo ekitangaala wekitandikira okulabika mu bwengula okuva ku ludda lw'obuvanjuba, nebuggwaako enjuba weeviirayo.
Erina eraaka nya, obudde bwaayo butandika enjuba kasita etandika okutambula okuva wakati weggulu ng'edda ku ludda lw'ebugwanjuba, era bukoma singa ekintu kiba kyenkana obuwanvu n'ekisiikirize kyaakyo.
Erina eraaka nya, obudde bwaayo butandikira obudde bwa zuhuri webukoma, nebuggwaako ng'ejuva egudde. Kisaanidde omusiraamu okwanguwa okusaala esswala eno ng'amafumu g'enjuba tegannanafuwa n'enjuba okulabikira enyo mu kyenvu.
Erina eraaka ssatu, obudde bwaayo butandika ng'enjuba egudde n'ebula neeva mu bwengula, nebuggwaako ng'ekire ekimyuufu ekijja oluvanyuma lwookugwa kw'enjuba kiweddewo.
Erina eraaka nya, obudde bwaayo butandika n'okubulawo kw'ekire ekimyuufu, okutuuka wakati weekiro, era esobola okusaalibwa okutuukira ddala ng'emmambya tennasala naye kino kiri kwooyo alina embeera eteewalika.
Ekifo Weetusaalira esswala
Obusiraamu bwaalagira abasajja okusaala esswala mu mbeera ey'ekikungo (jama), era nebukubiriza kikolebwe mu muzikiti, esobole okubeera ensisinkano y'abasiraamu, ebigatta abasiraamu bisobole okweeyongera, era ekyo kisingira ddala amadaala esswala omusajja gyaasadde yekka, nga nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyagamba nti: "esswala y'omusajja gyasaalidde mu kikungo esinga gyaasadde yekka amadaala abiri mumusanvu (27)" (eri mu kitabo kya bukhari 645, ne muslim 650, ne ahmada 5921)
Ekifo ekisaalirwaamu kiyina kuba kitya
Obusiraamu buteekawo akakwakkulizo k'okuba nti ekifo ewasaalirwa kitukuvu, Allah agamba: [ne tulagira Ibrahim ne ismaili nti: mutukuze enyumba yange (kaaba) kulwaabo abagyetoloola n'abo abagituulamu, n'abakutama okuvunnamiramu nga basaala]. (Essuula bakara:125)
Ensibuko mu nnamula z'obusiraamu eri nti buli kifo kiba kitukuvu
Ensibuko bweebutukuvu, era ennagisi ejja buzzi, kasita oba nga tomanyi nti waliwo ennagisi olwo twaala ennamula nti watukuvu, era esswala ekkirizibwa ku buli kifo ekitukuvu, era tekisaanidde kweekaluubiriza nakufuna musaalo oba olugoye nti kwoolina okusaalira.
Waliwo ebifuga ekifo ewasaalirwa omuntu asaala byaalina okufaako, mu byo:
1. Obutanakuwaza bantu mu kifo w'asaalira, ng'omuntu asaalira mu kkubo elikozesebwa wamu n'ebifo ebitakkirizibwa kuyimiriramu olw'akavuyo akabeerawo, era omutume okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagaana okunakuwaza n'okukosa ng'agamba nti: "tewali kukosa yadde okweekosa" (eri mu kitabo kya ibun maaja 2341, ne Ahmada 2865)
2. Obutabaawo bitawanya musaaze, ng'ebifaananyi, oba amaloboozi agali waggulu oba enyimba.
3. Ekifo okuba ng'assi kyaakukoleramu byonoono, ng'okuyimbiramu n'okukyakaliramu ekiro, ekyo kitamwa okukisaaliramu.