تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: QUR'AN EY'EKITIIBWA

الدرس QUR'AN EY'EKITIIBWA

Essomo lino liyamba omuyizi okubeera nga asobola okufuna ekifaananyi mu bwongo bwe ku bwennyini bwa Qur'an ey'ekitiibwa n'engeri gye yakkamu n'emitendera gy'okugikungaanya.

Ebigendererwa

  • Okumanya obwennyini bwa Qur'an ey'ekitiibwa n'omuwendo gw'ejjuzu  zaayo ne ssuula zaayo.
  • Okumanya emitendera gy'okukungaanya Qur'an entukuvu.

QUR'AN ENTUKUVU

Allah ow'ekitiibwa yassa Qur'an kw'oyo asinga obulungi mu bitonde bye byonna era eyasembayo mu ba Nabbi be Muhammad okusaasira ebyengera n'emirembe bibe ku yye, olw'okuluŋŋamya abantu n'okubafulumya mu bizikiza okubazza eri ekitangaala. Allah yagamba: (Mazima ekitangaala kibajjidde okuva eri Allah n'Ekitabo ekyeyolefu (Kuraane), * Allah alunngamya nakyo omuntu agoberera okusiima Kwe eri amakubo ag'emirembe. N'abaggya mu bizikiza okubalaza eri ekitangaala olw'okwagala Kwe, n'abalunngamya eri ekkubo eggolokofu). [Al-Maaeda: 15, 16].

ENNYINYONNYOLA YA QUR'AN ENTUKUVU

Qur'an entukuvu: Bye bigambo bya Allah ebyamagero, ebyassibwa ku Muhammad okusaasira ebyengera n'emirembe bibe ku yye, nga okubisoma kuba kusinza, ebiggulwaawo ne Surat Al-Fatihah ne bikomekkerezebwa ne Surat An'Naasi.

Quran Entukuvu erina amannya mangi agalaga ekitiibwa kyayo n’obulungi bwayo, Mu mannya gaayo mulimu:

١
Qur’an: Allah Omuyinza w’ebintu byonna yagamba nti: “Mazima Qur’an eno elungamya ku ekyo ekisinga obugolokofu [Al-Isra’: 9].
٢
Ekitabo: Allah Omuyinza w’ebintu byonna yagamba nti: “Kino kye kitabo ekitaliimu kubuusabuusa” [Al-Baqarah: 2].
٣
Al-Furqan: Nga Allah Omuyinza w’ebintu byonna bwe yagamba nti: “Alina omukisa oyo eyassa ekyawula wakati w'amazima n'obulimba ku Muddu we” [Al-Furqan: 1].
٤
Okujjukira: Nga Allah Omuyinza w’ebintu byonna bwe yagamba nti: “Mazima ffe twassa Qur’an era ddala, Ffe tujja okujikuuma" [Al-Hijr: 9].

OKUKKA KWA QUR'AN ENTUKUVU

Quran yakka omulundi ogwasooka ku Mubaka okusaasira ebyengera n'emirembe bibe ku yye mu kiro eky'okugera mu Ramadhan, Allah yagamba: (Mazima twajissa mu kiro eky'okugera). (Al-Qadr: 1). Era Allah yagamba: (Omwezi gwa Ramanzaane ogwo ogwakkiramu Kuraane ku lw'okulunngamya abantu n'okunnyonnyola obulunngamu, era enjawuzi (eyawula wakati w'amazima n'obulimba). N'omuntu aba aliwo mu mwezi (ogwo) ateekwa agusiibe, n'oyo abeera nga mulwadde oba nga ali mu lugendo, alina okubala (n'asasula ennaku z'atasiibye) mu nnaku endala (ezitali mu mwezi gwa kisiibo). Katonda Abaagaliza bwangu, era Tabaagaliza buzito; muteekwa mujjuze omuwendo (gw'ennaku), era mumugulumize Katonda kw'ekyo kye yabalunngamyamu, oba olyawo ne mwebaza).

Oyo eyassa Qur’an okuva ewa Allah Omuyinza w’ebintu byonna eri Nabbi okusaasira n'emirembe bibe ku yye, ye Jibriel, emirembe gibeere ku yye, omu ku bamalayika ab’ekitiibwa, ab’okulusegere, Allah ow'ekitiibwa yagamba nga ayogera ku Qur’an: “Era mazima, yyo yassibwa okuva eri Mukama w’ensi (192) Yakka nayo mwoyo Omwesigwa (193) ku mutima gwo osobole okuba mu balabuzi 194) Mu lulimi Oluwarabu olutangaavu (Ash-.” Shu'ara': 192-195).

Aya za Qur’an ezaasooka okukka ku Nabbi, okusaasira n’emirembe bibe ku yye, ze Aya ttaano ezisooka mu Surat Al-Alaq, nga nazo kye kigambo kya Allah Omuyinza w’ebintu byonna: “Soma ku linnya lya Mukama wo eyatonda (1) Yatonda omuntu nga amujja mu kitole ky'omusaayi(2) Soma Ne Mukama wo y’asinga Obugabi (3) Y’Oyo eyayigiriza n’ekkalaamu, (4) Oyo ayayigiriza Omuntu ebyo bye yali tamanyi (Al-Alaq: 1- 5) .

Oluvannyuma Qur’an n’ekka eri Nabbi, okusaasira n’emirembe bibe ku yye, mu bitundu mu biseera eby’enjawulo mu Makka ne Madina mu bbanga ery’emyaka abiri mu esatu, okusinziira ku kubyaaliwo ebinyumizibwa.

Hadith eva ku Ibn Abbas, Allah asiime ku bombi, yagamba nti: “Qur’an yassibwa omulundi gumu eri eggulu ly'okunsi mu kiro eky’okugera, oluvannyuma lw’ekyo n'essibwa mu myaka amakumi abiri” (Al -Asma’ wa’l-Sifat ekyawandiikibwa Al-Bayhaqi 497).

ESSUULA ZA QUR'AN

Omuwendo gw’essuula za Qur’an Entukuvu guli (114) essuula kikumi kkumi nannya, esooka ku zo ye Al-Fatihah ate esembayo ye An-Naas.

ESSUULA Z'EMAKKA N'EZ'EMADIINA

١
Omuwendo gw'essuula z’e Makka guli 86, nga zeezo ezassibwa eri Nabbi, ﷺ, nga tebannasenguka.
٢
Omuwendo gw'essuula z’e Madiina guli 28, ezassibwa eri Nabbi ﷺ, oluvannyuma lw’okusenguka.

Ejjuzu za Quran Entukuvu ziri ejjuzu amakumi asatu, n’ebitundu byayo biri ebitundu nkaaga.

OKUWANDIIKIBWA KWA QUR'AN N'OKUJIKUNNGAANYA

Emitendera gy’okuwandiikibwa kwa Qur'an n’okugikung’aanya jiri esatu :

Omutendera ogusooka: ku mulembe gwa Nabbi okusaasira n’emirembe bibe ku yye

Ku mutendera guno, okwesigama kwali kusinga kukubeera ku kya kukwata mu mutwe okusinga okuwandiika, olw’amaanyi g’okujjukira, obwangu bw’okukwata mu mutwe, n’ebbula ly’abawandiisi n’engeri y’okuwandiika N’olwekyo, teyakung’aanyizibwa mu kitabo, wabula kyabeeranga omuntu yenna awulira Aya nga ajikwaata mu mutwe, oba nga ajiwandiika mu ebyo bye yali asobola okufuna okuva ku matabi g’enkindu, ebitundu by’amaliba, ebikuta by’amayinja, n’ebitundu by’enku ebyamenyese n’abasomi baali bangi.

Omutendera ogwokubiri: ku mulembe gwa Abu Bakr, Allah amusiime

Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogwa Hijra, abasomi abangi bwe battibwa mu lutalo lw’e Yamamah, Abu Bakr, Allah amusiime, yalagira okukung’aanya Qur’an ereme kubula.

Hadith eva ku Zaid bin Thabit, Allah asiime ku yye, yagamba nti: “Abu Bakari yasindikirwa amawulire g'okuttibwa kw’abantu be Yamamah, era Umar bin Al-Khattab yali naye , Abu Bakari Allah asiime ku yye naye n’agamba nti: Umar yazze gyendi n’agamba nti: Ettemu lifuuse lya maanyi ku lunaku lwa Yamamah ku basomi ba Qur’an, era ntya nti... Okuttibwa kw’abasomi kuyitiridde mu ggwanga, bingi ku Qur’an biyinza okubula, era nze ndaba nti olina okulagira okukung’aanya Qur’an. Ne ngamba Umaru nti: “Oyinza otya okukola ekintu Omubaka wa Allah okusaasira ebyengera n'emirembe bibe ku yye ky'ataakola ?” Umaru n'agamba nti: Kino kirungi, Wallaahi, Omar yasigala anzirinngana ku nsonga eyo okutuusa Allah lwe yaggulawo ekifuba kyange ku nsonga eyo, era nalaba mu kyo Omar kye yalaba. Zaid yagamba: Abu Bakr yagamba nti: Oli muvubuka mugezi, ffe tetukuteberezamu kibi kyonna, era nga wawandiikiranga Omubaka wa Allah ﷺ obubaka, n’olwekyo, goberera Qur’an ogikung’aanye “Ndayira Allah, singa baali bandagidde okusengula olusozi. tekyandibadde kizitowa gyendi okusinga ekyo kye yandagira okukola mu kukungaanya Kur’ani ne ŋŋamba nti, “Muyinza mutya okukola ekintu Omubaka wa Allah, okusaasira ebyengera n'emirembe bibe ku yye ky’ataakola.” ? N'agamba nti: Wallaahi kirungi. Abu Bakari teyalekera awo kunzirinngana ku nsonga eyo okutuusa Allah lwe yaggulawo ekifuba kyange eri ekyo ekyaggulirwaawo Abu Bakari ne Umaru Allah asiime ku bombi. Kale nanoonya Qur’an yonna okuva ku matabi g’enkindu, n’ebifuba by’abantu... Empapula zaali ne Abu Bakr okutuusa Allah lwe yamutwala, oluvannyuma ne Umar mu bulamu bwe, oluvannyuma ne Hafsa muwala wa Umar Allah amusiime. Al-Bukhari (4986).

Omutendera ogwokusatu: ku mulembe gwa Uthman bin Affan, Allah amusiime

Eggwanga ly’Obusiraamu (Gavumenti) lyagaziwa ku mulembe gwa Uthman ibn Affan, Allah asiime ku yye, era abantu ba buli nsi nebaggya enkola y’okusoma Qur’an okuva ku abo abaabayigiriza okuva ku ba Swahaaba Olw’amakubo amangi ag'okusoma Qur’an Entukuvu, ekikemo kyatiibwa okugwaawo, naddala eri abo abaali tebawulidde Qur’an Entukuvu okuva ku Nabbi, okusaasira ebyengera n'emirembe bibe ku yye. Kale Uthman yalagira abantu bonna babakuŋŋaanyize ku kkopi emu eya Qur’an, abantu baleme okwawukana n’okukaayana ku kitabo kya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna baleme na kwawukana.

Hadith eva ku Anas bin Malik, Allah amusiime, nti Hudhayfah bin Al-Yaman yajja ewa Uthman bwe yali alwanyisa abantu ba Ash-Sham mu kuwamba Armenia ne Azerbaijan n’abantu ba Iraaqa, Hudhayfah yatya olw’okwawukana kwaabwe mu nsoma ya Qur'an, kale Hudhayfah n’agamba Uthman nti: Owange Omukulembeze w’Abakkiriza, taasa Umma eno nga tebannayawukana mu kitabo. nga okwawukana kw’abayudaaya n’abakristaayo. Kale Uthman n’atuma eri Hafsa nti: “Tuweereze ekitabo ekyawandiikibwamu Qur'an tusobole okubikoppa mu kkopi za Qur’an, oluvannyuma tujja kuzikuddiza .” Hafswa n'akiweereza eri Uthman, n'alagira Zaid bun Thabit, ne Abdallah bun Zubair, ne Sa'eed bun Al'aswi, ne Abd al-Rahman bin al-Harith bin Hisham ne bajikoppamu kkopi za Qur’an endala nnyingi. Al-Bukhar (4987).

Qur’an yasigala nga bwe yali ekuŋŋaanyiziddwa okutuusa kati, ng’Abasiraamu bajeegattako nga ejja esomesebwa wakati waabwe.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار