تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Obukkiriza

الدرس Okukkiriza okubaawo kwa Allah

Okubaawo kwa Allah ky'ekintu ekikyasinze okuba ekyeyolefu ku bintu byonna, kubanga byonna by'olaba mu bitonde byali tebisobola kubaawo nga taliiwo Oyo ow'ekitiibwa Omugulumivu. Tugenda kusoma mu ssomo lino obujulizi bungi obulaga okubaawo kwa Allah Omugulumivu.

Okutuukiriza obukkiriza obunywevu mu kubaawo kwa Allah Omugulumivu.

Amakulu g'okukkiriza Allah Omugulumivu

Kw'ekukkiriza okunywevu mu kubaawo kwa Allah Omugulumivu, n'okukkiriza obulabirizi Bwe n'okusinzibwa Kwe, n'amannya Ge n'ebitendo Bye.

Okuvunnama kuli mu bintu ebisinga okwoleka obwetowaze eri Allah Omugulumivu.

Entonda ya Allah

Okukkiriza okubaawo kwa Allah nsonga ya buwumbwa mu muntu teyetaaga kwekaluubiriza mu kuleeta obujulizi bw'ayo, ku lw'ekyo abantu abasinga bamanya okubaawo kwa Allah newamkubadde amadiini gaabwe gaawukanya.

Ffe tukiwulira mu ntobo z'emitima gyaffe ddala waali, tudda gy'ali mu mbeera eyakanyigo n'ebizibu, ku lw'obuwumbwa bwaffe, n'okuwanka okw'okusinza okwo Allah kwe Yateeka mu buli muntu, wadde nga abantu abamu bagezaako okukusanyawo (okuwanka okw'okusinza) n'okukugayaalirira.

Naffe tuwulira era ne tulaba okumu ku kwanukulwa kw'abakoowooze n'okuweebwa kw'abasabi n'okwanukulwa kwa bali mu buzibu ekiraga obujulizi obw'essimba okubaawo kwa Allah Omugulumivu.

Obujulizi bw'okubaawo kwa Allah, bweyolefu nnyo n'okusinga okubwogera n'okubukunnganya, era mu bwo:

Mu bimanyikiddwa eri buli muntu, mazima ekigwawo (ky'ekintu ekibaawo oluberebrye lw'okuba nti tekyaliwo) kirina okuba n'eyakigunjaawo (eyakiteekawo), era ebitonde ebyo ebingi ebyo byetulaba buli kiseera walina okuba nga waliwo Omutonzi eyabiteekawo, era ye Allah Omugulumivu, kubanga kigaanibwa okuba nga ekitonde tekirina mutonzi yakitonda, nga bwekigaanibwa okuba nti ky'ekyetonda; kubanga ekintu tekisobola kwetonda. Nga bweyagamba Allah Omugulumivu: (Oba batondwa awatali kintu (nti tewali Katonda yabatonda!) oba bo be batonda (ebitonde byonna nga nabo mwebali).) (Attwuur: 35). Amakulu ga aayah: Ddala tebatondebwa awatali mutonzi yadde bo okw'etonda, n'ekiba nga omutonzi waabwe ye Allah Omugulumivu.

Mazima ensengeka y'ensi eno nga mwotwalira eggulu n'ensi, n'ebintu ebibeera mu bwengula, n'emmunyenye n'ebyo ebigyetoolodde n'agayanja n'emigga n'ensozi n'emiti na byonna ebigirimu mu bitonde ebyewuunyisa biraga obujulizi obunywevu nti omutonzi w'ensi eno Ali omu nga ye Allah Omugulumivu: (okwo kwe kukola kwa Allah oyo eyakola buli kintu mu nkola esinga okuba eya waggulu) (Annaml: 88).

Zi ssenngendo ezo n'emunyenye eky'okulabirako bitambulira ku nteekateeka ennywevu etaliimu kukyankalana, buli emu etambulira mu kkubo lyayo terisukka wadde okuliyisa. Agamba Omugulumivu: (Tekisoboka enjuba kusisinkana mwezi era n'ekiro tekigenda kukulembera misana na buli kimu ku byombi kiri mu bbanga kiwuga)

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار