Ekitundu ekiriwo kati: Obukkiriza
Omusomo Okukkiriza obulabirizi bwa Allah
Amakulu g'okwawula Allah mu bulabirizi Bwe:
Mazima Allah Ali omu, Omutonzi wa buli kimu ekiri mu nsi, era Teri mutonzi atali Yye, nga bweyagamba Omugulumivu: (Allah Ye Mutonzi wa buli kintu kyonna) (Azzumar: 62). Naye okukola kw'omuntu kuba kukyuusa okuva mu kitendo ekimu okudda mu kirala, oba okukunnganya n'okugattagatta, n'ekiringa ekyo tekuba kutonda kwennyini wadde okuteekawo ekitabaddeewo, wadde okuwa obulamu oluvannyuma lw'okufa.
Ye Mugabirizi w'ebitonde byonna, era teri mugabirizi atali Yye, nga Bwagamba Omugulumivu: (Tewali kitonde kyonna mu bitambula ku nsi okuggyako nga okugabirirwa kwa kyo kuli ku Allah) (Huud: 6)
Ye Mufuzi wa buli kintu, era teri mufuzi mutuufu ataali Yye, nga bweyagamba Omugulumivu: (Obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi n'ebirimu) (Al Maa-idah: 120)
Ye Mukwasaganya wa buli kimu era teri mukwasaganya okujjako Yye, nga bwe Yagamba Omugulumivu: ((Allah) atambuza e bintu byonna (nga ebiragiro) biva mu ggulu ne bijja ku nsi) (Assajdah: 5).
Enteekateeka ya Allah n'enteekateeka y'omuntu
Abashiriku b’Abawalabu mu kiseera ky’Omubaka wa Allah bakkiriza Obulabirizi bwa Allah:
Kisoboka kitya omuntu akakasa nti Allah Yatonda buli kintu era Ye Mutambuza w'ensi Yaawa obulamu era Yatta oluvannyuma nayolekeza ekusinza eri ekitali Allah? Buno bw'ebulyazaamanyi obusinga obubi n’ekibi ekisinga obunene, era eno y’ensonga lwaki Luqman yagamba omwana we ng’amuwabula n’okumulunngamya nti: (Ayi mwana wange, togatta ku Allah, okugatta ku Allah ekintu ekirala bw'ebulyazaamanyi obusinga obubi.) (Luqman: 13).
Bweyabuuzibwa omubaka wa Allah okusaasira n'emirembe bibeere ku yye: Kyonoona ki ekisinga obunene ewa Allah? Yagamba: (Okuteekawo omuvuganya ku Allah ate nga Ye yakutonda.) (Bukhaari 4477, Muslim 86).
Omuddu bw'amanya okumanya okukakafu nti teri kitonde kyonna kisobola kufuluma mu kugera kwa Allah Omugulumivu; kubanga Allah Omugulumivu yeyabatonda bonna, teri mutonzi okujjako Yye, kuba Ye Mufuzi waabwe abakyusakyusa nga bwaba ayagadde okusinziira ku kigendererwa kye, era bwamanya ddala ensonga zonna ziri mu mukono Gwe Omugulumivu, teri atambuza nsi okujjako Yye yekka, era tekasobola akasirikitu okwenyenya okujjako ku kiragiro Kye, era tekatebenkera okujjako na kiragiro Kye, singa era amanya okumanya okukakafu nti ddala teri Mugabirizi okujjako Allah = kimuleetera obutebenkevu mu mutima n'okwekwata ku Allah yekka n'okumusaba n'okulaga obwetaavu gy'Ali, n'okumwesigamira yekka mu nsonga z'obulamu.