Ekitundu ekiriwo kati: ESSWALA
Omusomo Esswala esaalibwa etya
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
1. Okunuyirira
Omuntu ayimirira okusaala n'agamba: Allahu akbar ekitegeeza nti Allah yaasinga obunene, era n'asitula emikono gye okutuuka ku bibegaabega bye oba okutuusa ku bunyama bw'amatu ge, ng'ayanjuluzza ebibatu bye ng'abitunuza mu kibula.
Takibiira kyekki
3. Oluvanyuma lwokkuba takibiira ateeka omukono gwe ogwa ddyo ku gwa kkono mu kifuba kye, era ekyo akikola buli lw'abeera ng'ayimiridde mu sswala.
Kikakata ku musiraamu okukwaata surat Alfaatiha, kubanga okugisoma mpagi mu sswala, kwooyo asaala, oba omugoberezi mu sswala ezitali za lwaatu mu kusoma.
Essuura Alfaatiha
10. Oluvanyuma akuba takibiira ng'asitudde emikono gye okutuusa ku mutendera gw'ebibegabega bye oba waggulu ko, ng'atunnuza ebibatu bye mu kibula nga bweyakoze mu takibiira eyasoose.
11. Akutama: ng'aweta omugongo gwe n'egubeera ku mutendera gweegumu n'omutwe gwe nga ng'ateebedde mu kibula, n'ayanjuluza ebibatu bye n'abiteeka ku maviivi ge, n'agamba: "subuhaana Rabbiyal-adhwiimi" ekitegeeza nti "yayawukana omulezi wange Allah oyo agulumizibwa", era kikubirizibwa okukiddamu emirundi esatu, wadde nga ekyetteeka guba gumu, okukutama ku maviivi kifo kya kutendereza na kugulumirizaamu Allah.
Subuhaana Rabbiyal-adhwiimi kitegeeza ki: nneesambya Allah oyo agulumizibwa era n'emutukuza okuba nti talina bukendeevu bwonna. Omusaaze akyoogera ng'akutamye.
12. Asituka ng'ava ku maviivi ayimirire ng'abwaasitula emikono gye ng'abwaabadde akikola mu takibiira n'agamba: "sami-a LLahu liman hamidahu" bwaabeera imaam oba omuntu asaala yekka ekitegeeza nti "Allah awulidde oyo amutenderezza", oluvanyuma bonna bagamba (imaam wamu n'omugoberezi n'asaala yekka): "Rabbana walakal-hamdu" ekitegeeza nti "omulezi waffe amatendo gonna gago".
akubirizibwa okwongerako n'agamba: "....hamdan kathiira twayiban mubaaraka fiihi, mil-a ssamaa-i wa mil-al-ardhi wa mil-a ma shi-ita min shayi-in ba-ad"
13. Oluvanyuma akkirira nga bwaakuba takibiira avunname ku biyungo omusanvu: ekyenyi wamu ne nyindo, ebibatu byombi, amaviivi gombi, n'ebigere byombi, era akubirizibwa okwaawula emikono gye ku mbiirizi ze, bwatyo n'olubuto ku bisambi, kwossa ebisambi n'abyaawula ku magulu ge mu kuvunnama, era n'atayala mikono gye ku ttaka.
Okuvunnama by'ebimu ku bifo ebisinga obulungi okusabiramu edduwa, omusiraamu asobola okusabirawo oluvanyuma lw'okusoma edduwa yaawo ebyo byaaba ayagadde mu birungi bye dduniya n'ebya enkomerero, nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba nti "omuddu ekifo waasinga okubeera okumpi n'omulezi we ng'avunnamye, n'olwekyo muyitirize okusaba" (kitabo kya muslim:482).
15. Oluvanyuma agamba: "Allahu akbar", n'atuula wakati w'envunnama ebbiri, era akubirizibwa okutuula ku kigere kye ekya kkono, n'asimba ekya ddyo, n'ateeka ebibatu bye ku ntandikwa y'ebisambi bye.
Entuula y'omusswala
16. Agamba omusaaze ng'atudde wakati w'envunnama ebbiri: "rabbi igfir-li" ekitegeeza nti "mulezi wange nsonyiwa", era akubirizibwa okukiddamu emirundi esatu.
17. Oluvanyuma avunnama omulundi ogw'okubiri nga bweyavunnamye ogusooka.
18. Oluvanyuma ayimuka okuva mu kuvunnama kwe okw'okubiri ng'akuba takibiira (Allahu akbar), n'addayo n'ayimirira.
19. N'asaala raaka ey'okubiri nga bweyasadde esooka.
20. Oluvanyuma lw’oluvunnama olwookubiri mu raaka ey'okubiri, atuula ku tashahhudi nga bweyatudde wakati w'envunnama ebbiri, n'asonga n'akagalo ke akaddirira ekisajja ak'omukono ogwa ddyo ng'akatunuzza mu kibula n'agamba: "Attahiyyaatu lillahi wasswalawaatu wattwayyibaatu assalam alayika ayyuha nnabiyu warahmatullahi wabarakaatuhu, assalam alayina wa ala ibaadi llaahi asswaalihiin, ash-hadu alla ilaaha illa Llahu, wa ash-hadu anna muhammada abduhu wa rasuuluhu". Ebitegeeza nti "okulamusa okulungi kwonna kwa Allah wamu n'okusinza n'ebirungi, emirembe jibeere kuggwe owange gwe omubaka wa Allah n'ekisa kye n'emikisa gye, emirembe jibeere ku ffe n'abaddu ba Allah bonna abalongoofu,nkakasa nti teri kisinzibwa mu butuufu okujjako Allah era nenkakasa nti nabbi muhammad muddu we era mubaka we".
22. Oluvanyuma lw’oluvunnama olwookubiri mu raaka esembayo atuula ku tahiyyaatu esembayo, era wano atuula ng'asimbye ekigere kye ekya ddyo, ng'ate akabina ke aka kkono akatuuzizza wansi, ssi ku kigere, olwo ekigere kye ekya kkono n'akifulumyaayo kko wansi wa ekya ddyo, n'agamba kyeyayogedde mu tashahhudi eyasoose ku raaka ey'okubiri,oluvanyuma n'ayogera swalatu ibrahiimiyya (okusaalira nabbi): "Allahuma swalli ala muhammadi wa-ala ali muhammadi, kama swallayita ala ibrahiima wa-ala ali ibrahiima innaka hamiidu majiidu, wa baarik ala muhammadi wa ala aali muhammadi, kama baarakta ala ibrahiima wa ala aali ibrahiima innaka hamiidu majiidu" ekitegeeza nti "ayi Allah nsaba oteeke okusiima kwo n'okusaasira ku nabbi muhammad n'abantu be nyumba ye nga bwewateeka okusaasira ku ibrahiimu n'abantu be nyumba ye,mazima ddala Allah gwe atenderezebwa ow'ekitiibwa, ate era Allah nkusaba oteeke emikisa ku nabbi muhammad n'abantu be nyumba ye nga bwewateeka emikisa ku ibrahiimu n'abantu be nyumba ye,mazima ddala Allah gwe atenderezebwa ow'ekitiibwa".
23. Oluvanyuma atunula ku ludda lwe olwa ddyo ng'agamba nti: "Assalam alaikum warahmatullahi" era kyeekimu n'akyoogera ng'atunudde ku ludda lwe olwa kkono, era bw'amaliriza okutoola salaam,omusiraamu aba amalirizza esswala ye nga nabbi muhammad okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bwe yagamba nti: "ekiggulawo esswala eba takibiira era n'ekiggalawo ye ssalaam" (kitabo kya abu dawuda:618, ne tirmidhi:3"
24. Akubirizibwa oluvanyuma lw'okutoola salaam okugamba nti:
Oyo alina okufuba okukwaata al-faatiha mu lulimi oluwarabu kubanga esswala tetuuka nga teriimu, era ayina okufuba okukwaata ebisomebwa eby'etteekwa mu sswala nga: Al-faatiha, takibiira, subuhaana Rabbiyal-adhwiimi, sami-a llahu liman hamidahu, rabbana walaka al-hamdu, subuhaana rabbiyal-a-ala, rabbi igfir-li, tashahhudi, n'okusaalira nabbi mu sswala, ne ssalaam alaikum warahmatullah.
Ebbanga ly'amala ng'ali mu kukwaata ebintu ebyo, mu sswala ye abeera addingana ebigambo by'amanyi eby'okutendereza Allah nga subuhaanallah, Alhamdulillah, Allahu akbar, oba bwaaba alinayo aya ya Kuraan gyeyakwaata agisoma ng'ayimiridde, era obujulizi ku ekyo Allah agamba: "mutye Allah nga bwemusobola" (Q 64:16).
Oyo asaanidde alafubane nga bwaasobola okusaalira mu kikungo (jama), asobole okunyweeza n'okukasa ebikolwa by'esswala, ate era kubanga imaam aba amugattirawo ku bukendeevu obumu obubeera mu sswala y'omugoberezi.