Ekitundu ekiriwo kati: Okusinza
Omusomo Okugatta ku Allah
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Amakulu gw'okugatta ku Allah
Eby’okulabirako by'okugatta ku Allah
Emitawaana gy'okugatta ku Allah
Okugatta ku Allah kiviirako emirimu gyonna okusazibwamu, nga Allah Omugulumivu bweyagamba: (naye singa baagatta ekintu e kirala kyonna ku Allah, byandiboonoonekedde ebyo bye baali bakola.) (An'amu 88)
Okugatta ku Allah kiviirako kamukola okuwangarira mu muliro lubeerera nga Allah Omugulumivu bwe yagamba; (mazima ddala oyo agatta ku Katonda ekintu ekirala Katonda yamuziyizaako okuyingira e jjana, nga n’obuddobwe muliro. ) (Al-Maedah 72)
Ebika bya shirik
Kwekukyusa omuddu okusinza kwe eri ekintu kyonna ekitali Allah Omugulumivu, Buli kigambo oba ekikolwa eky’okusinza Allah Omugulumivu kyayagala, bwe kiba nga kitunuuliddwa eri ekintu kyonna ekitali Allah, buba bushirku(kugatta ku Allah) n’obutakkiriza. Eky'okulabirako ky’obushiriku obunene kwe kusaba omuntu ekintu ekilala ekitali Allah n’okukikoowoola okumuwonya obulwadde bwe, oba okugaziya riziq ye, era mu ngeri y’emu singa omuntu assa obwesige bwe mu kintu ekitali Allah, oba n'asaala ku lw'ekitali Allah, oba akola ssaddaaka eri ekintu ekitali Allah.
Okukyusa okusaba n'emirimu n’ebirala ebiringa ebyo eri ekintu kyonna ekitali Allah, kuba okugatta ku Allah n’obutakkiriza. Kubanga okuwonya n’okugabirila bye bimu ku bintu eby’obwakatonda, era okwesigamila Allah, okusaala, n’okusaddaaka (okusala ebisolo) bye bimu mu kwawula Allah mu bw’obwakatonda.
Shirik omutuno
Eby'okulabirako bya shiriki omutono
Okusaba abantu kitwalibwa ng’okugatta ku Allah?
Okusaba ekintu ekitalina bulamu oba omuntu omufu kitwalibwa nti kugatta ku Allah kikontana n'obwongo n'obusiraamu n'obukiriza; kubanga omuntu omufu oba ekitali kilamu, tekisobola kuwulira kusaba wadde okukuddamu kubanga okusaba okusinza n'okukukyusa eri atali Allah kuba kumugattako, era mukadde Allah weyatumila Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere Ku yye shirik wabawalabu yali kusaba bintu ebitalina bulamu n'abantu abafu