القسم الحالي: Obukkiriza
الدرس Okukkiriza olunaku lw'enkomerero
Amakulu g'okukkiriza olunaku lw'enkomerero
Enzikiriza ennywevu nti Allah Omugulumivu ajja kuzuukiza abantu okuva mu ntaana zaabwe, oluvannyuma babalibwe era baweebwe empeera ku lw’ebikolwa byabwe, okutuusa ng’abantu b'eJjana nga batebenkedde mu ebifo byabwe, n’abantu ba geyeena (jahanamu) n'abo nga batebenkedde mu bifo byabwe. Okukkiriza mu lunaku olw’enkomerero y’emu ku mpagi z’obukkiriza, tekubeela(okukkiriza) kutuufu okujjako nga olukkiriza nga Allah Omugulumivu weyagamba: (Naye obutuukirivu buli [mu] oyo akkiririza mu Allah n’olunaku olw’enkomerero)(Al-Baqarah: 177).
Olunaku olw'enkomerero kye kii ?
Olunaku olw’enkomerero: lwe lunaku abantu lwe bagenda okuzuukira. ku lw'okubalibwa n’ okuweebwa empeera, n’abantu bagenda kuyingira mu jjana oba mu ggeyeena (jahanamu), era lwatuumibwa bwe luti; Kubanga tewali lunaku oluvannyuma lwalo. Lulina amannya mangi agaayogerwako mu Qur'an ne Sunnah, era luyitibwa olunaku lw’okuyimirira. Olw’ensonga ennene ezigenda okuyimirira mu lwo, omuli okuyimirira kw’abantu mu maaso g'Omulezi w’ebitonde byonna. Luyitibwa Essaawa, era luyitibwa Olunaku lw’okwaawula wakati wa mazima n'obufu, era luyitibwa Olunaku lw’okusasula. N’amannya amalala manji nyo.
Lwaki Qur'an yassa essira ku kukkiriza olunaku lw'okumerero?
Qur’an Entukuvu yassa essira ku kukkiriza mu lunaku olw’enkomerero, era n’elabula kulyo buli nsonga, era n’eggumiza okubeerawo kwalwo mu ngeri ez’enjawulo ez’Oluwarabu, era n’ekwataganya okukkiriza mu lwo n’okukkiriza Allah mu bifo ebisukka mu kimu; Okulaga obukulu bwalwo, abantu baleme kulusuulirira, era basobole okwetegekera ebiri mu lyo nga bayita mu bukkiriza n’emirimu emirungi.
Okukkiriza olunaku olw’enkomerero kiva mu kukkiriza Allah Omugulumivu n’obwenkanya bwe, ekitiibwa kye, Okunnyonnyola kino:
Allah tasiima bulyazaamanya, era taleka mulyazaamanya nga tabonerezebwa, wadde elyazaamanyizibwa nga tafunye bwenkanya, era taleka omukozi w’ebirungi nga tafunye mpeera na kusasulwa, awa buli muntu omugabo ggwe gw'asaanira, Tulaba mu bulamu buno obw’ensi abo ababeere nga balyazaamanya ne bafa nga balyazaamanya nga tebabonerezebwa, n’abo ababeera nga balyazaamanyizibwa ne bafa nga balyazaamanyizibwa nga tebafunye mugabo gw'abwe ogusaanira. Kitegeeza nti wateekwa okubaawo obulamu obulala obutali obulamu buno bwe tulimu. Wateekwa okubaawo ekiseera ekirala abakola obulungi lwe banaasasulwa, n'abakola ebibi ne babonerezebwa, era buli muntu wakufuna ekyimugwanidde.
Obubonero bw'olunako lw'enkomerero
Mu kukkiriza olunaku olw’enkomerero mulimu okukkiriza mu bubonero n’ebiraga olunaku lw'enkomerero, nga bino bye bintu ebigenda okubaawo nga olunaku lw’amazuukira terunnatuuka, nga biraga nti luli kumpi okubaawo. Obubonero n’ebiraga olunaku lwe nkomerero byawulwamu ebika bibiri:
1- Obubonero obutono
Buno bwe bubonero obukulembera Essaawa (olunaku lw'enkomerero) n’ebiseera eby’enjawulo, omuli obuwanvu bw’ebizimbe by’ababalunzi b'embuzi abatalina ngatto, abali obukunya (abataalina kantu konna), nga bwe kyayogerwako mu Hadiithi ya Jibriil emirembe gibeere ku ye: “Yagamba nti (nga abuuza omubaka ebyengera n'emirembe bibeere Ku yye) Kale mbuulira ku Ssaawa (olunaku lwe nkomerero).’” N’agamba nti: Oyo abuuzibwa ku nsonga eyo tamanyi kusinga oyo abuuzizza. Yagamba nti: Mbuulira kulunaku lw’enkomerero, namugamba nti: Tali abuzibwa kulwo nga yasinga okumanya (ebirukwata ko) okusinga abuzizza. Namugamba nti: Mbuulira kububonero bwalwo, namugamba nti: Y’omuzaana okuzaala mukamaawe, era kwekulaba abatayambala ngatto, ab’ayitanga obukunya, abaavu, abalunzi b’embuzi nga bavuganya mukuzimba amagoloofa (abaali batalina kantu konna abawansii n'ebafuna ebifo ebyamanyii)(Muslim 8).
Obubonero obunene
Zino ze nsonga ennene ezigenda okulabika nga olunaku lw’enkomerero lusembedde(nga luli kumpi kuyimirirawo), era bwe bubonero ekkumi, nga bwe kyayogerwako mu hadith ya Hudhayfah ibn Asid, egamba nti: “Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yeyolela gyetuli nga twejjukiza, n’agamba nti: Mwogera ku ki?” Bagamba nti: Twejjukizaku Essaawa (olunaku lw'enkomerero). Yagamba nti: Tejja kutuuka okujjako nga musoose kulaba bubonero kkumi: Yayogera ku mukka ne Ddajjalu, ne Ensolo, ne okuva kw'omusana mu maserengeta, n'okukka kwa Isa mutabani wa Maliyamu, emirembe gibeere ku yye, ya'ajuja ne Ma'ajuja, n’okuziba kw’enjuba okwe mirundi esaatu: okumu mu buvanjuba, okulala mu maserengeta, n’okulala mu kizinga ky’abawalabu, era ekisembayo ku ekyo gwe muliro oguva e Yemen gugoba abantu okugenda mu kifo we bajja okukunganira (Muslim 2901).
Biki ebili mu kukkiriza olunaku olw'enkomerero?
Okukkiriza kw'omusiraamu mu lunako lw'enkomerero mulimu ebintu bingi mu bwo:
Okukkiriza okuzuukira ne okukungaanyizibwa;
Kwe kuzuukira kw’abafu okuva mu ntaana zaabwe, n’okudda kw’emyoyo mu mibiri gyabwe. Abantu bajja kuyimirira mu maaso ga Omulezi w’ebitonde byonna, olwo bajja kukuggaanyizibwa mu kifo kimu, nga tebalina ngatto era nga bali bukunya, nga bwe baatondebwa omulundi ogw'aasooka. Okukkiriza mu kuzuukira kulagibwa mu Qur’an ne Sunnah, entegeera, n’obutonde obulungi Tukkiriza n’obukakafu nti Allah ajja kuzuukiza abo abali mu ntaana, emyoyo gijja kuzzibwa mu mibiri, era abantu bajja kuyimirira mu maaso g'Omulezi w'ebitonde byonna.
Allah yagamba nti: (Oluvannyuma lw’ekyo mazima ojja kufa. Olwo ku lunaku lw’amazuukira ddala ojja kuzuukira) (Al-Mu’minun: 15-16). Ebitabo byonna eby’omu ggulu (ebyasibwa) bikkiriziganya ku nsonga eno, era kino kye kigendererwa ekya magezi; Kyetaagisa Allah okukolera ebitonde kino ekifo eky’okuzuukira mw’alibasasula olw’ebyo byonna bye Yabalangira ng’ayita mu nnimi z’ababaka be: (Awo mwalowooza nti twabatonda bwereere era nti eli Ffe temwandikomezeddwawo?) (Al-Mu’minun: 115).
Okukkiriza okubalibwa ne minzaani:
Allah ajja Kubala abantu kulw’ebikolwa byabwe bye baakola mu bulamu buno obw’ensi, Omukkiriza mu Allah omu era omuwulize eri Allah n’Omubaka we, okubala kwe kujja kuba kwangu ate oyo eyagatta Ku Allah n'okujemeera amateeka Ge okubalibwa kwe kujja ba kuzibu.
Ebikolwa bijja kupimibwa ku minzani ennene, ng’ebikolwa ebirungi bigenda teekebwa ku ludda olumu ate ebikolwa ebibi ku ludda olulala oyo yenna ebikolwa ebirungi bye binasinga ebikolwa bye ebibi ajja kuba mu bantu b’ejjana, era oyo yenna ebikolwa bye ebibi webinasinga ebikolwa bye ebirungi ajja kuba muba abantu ba Geyeena (jahanamu). Omulezi wo tagenda kulyazaamaanya muntu yenna. Allah yagamba: (Tugenda kussaawo minzani entuufu ezirikozesebwa ku lunaku lw'enkomerero, olwo nno tewali muntu ali lyazamaanyizibwa kintu kyonna, ne bwe kiriba kyenkana obuzito bwe mpeke ya khardali(empeke esinga obutono enyoo) tugenda kukireeta. Kimala bumazi okuba nti ffe tuliba ababazi.) Al Anbiya 47
Jannah n'Omuliro
Ejjana kye kifo eky’essanyu ery’olubeerera, Allah yaggyitegekela abakkiriza abamutya, era abawulize eri Allah n’Ababaka be, Muyyo mwe muli essanyu ery’olubeerera erya buli ngeri, emitima gye byegomba n’amaaso be gasanyukira, okuva mu baagalwa ab’engeri zonna . Allah Omugulumivu yagamba, ng’akubiriza abaddu be okwanguwa okukola ebikolwa eby’obuwulize ela abayingize mu Jjana, obugazi bwayo obufaanana ng’obugazi bw’eggulu n’ensi:( Era mwanguwe nga munoonya okusonyiwa kwa Katonda wa mmwe, ne jjana eyo obugazi bwayo obwenkana eggulu omusanvu ne nsi, eyateekerwateekerwa abatya Allah.) (Al Emreeni: 133).
Ate go Omuliro, y'ennyumba y’okubonyaabonyezebwa okw’olubeerera, Allah yategekera abatakkiriza Allah ne bajyemera ababaka be, Mu go mulimu ebika by’okubonyaabonyezebwa, obulumi, n’ebibonerezo ebitayinza kulowoozebwako. Allah yagamba ng’alabula abaddu be ku muliro gwe yategekera abatakkiriza nti: ( Bwe muba nga temukikoze, era nga temugenda kukikola, muteekwa mwerinde omuliro, nga enku zaagwo bantu n'amayinja, ogwategekerwa abawakanya amateeka ga Allah.)
Ayi Allah tukusaba ejjana n’ebyo ebigitusembereza mu bigambo ne mu bikolwa, era tusaba obukuumi mu ggwe okuva mu muliro n’ebyo ebigusembereza mu bigambo ne mu bikolwa.
4. Ebibonyobonyo n’ebyengera by’entaana:
Tukkiriza nti okufa kwa mazima, Allah Omugulumivu yagamba nti: (Bagambe nti Malayika walumbe oyo eyaweebwa obuyinza ku mmwe agenda kubatta, oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe gye mulizzibwa.) (Sajidah 11). kintu ekirabibwako awatali kubusabusa, era tukkiriza nti oyo yenna afa oba attiddwa olw’ensonga yonna, okufa kwe kuli ku kiseera ekye teekebwawo, era tewali kikendeezebwamu gy’ali. yagamba Allah Omugulumivu: (Buli bantu balina e bbanga e lyabagererwa, Alllah bwasalawo e ntuuko yaabwe netuuka, tebayinza kusaba kaseera kubongozebwayo wadde okukendezebwako nebakifuna) (Al Araaf 34) Era oyo yenna afa, qiyaama ye eba etandise era agenda mu bulamu obw’oluvannyuma.
Zajja Aya nnyingi ez’ekitiibwa ne hadith ez’ekitiibwa okukakasa ebibonyobonyo by’entaana eri abatakkiriza n’abajeemu n’ebyengera byayo eri abakkiriza n’abatuukirivu, Tukikkiriza era tetubbinkira mu geri yaabyo, kubanga ebirowoozo tebirina obusobozi okumanya ngeri yabyo n’obutuufu bwayo, kubanga bili mu nsi y’ebitalabika nga ejjanna ne Geyeena, so si mu nsi y’ebyo bye tulabako. Obusobozi bw’obwongo bukolela ku kugeraageranya n’okuteebereza. N'ennamula yeesigamiziddwa ku ekyo ekimanyiddwa nga mu amateeka g'ensi gyetulimu.
Embeera z’entaana zezimu ku nsonga z’ebitalabika ezitasobola kutegeerwa ne mpulira yaffe, singa zaali zitegeerwa ne mpulira yaffe, omugaso gw’okukkiriza mu bitalabika gwandibadde gubula, ekigendererwa kyali badde kiggyibwawo, n’abantu tebandiziikiddwa, nga Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye yagamba nti: “Singa twali tetuziika , nandisabye Allah abawe okuwulira ku bibonerezo by’entaana.” 2868, Al-Nisa’i 2058). Bwe kyaali nga ekigendererwa ekyo tekyili mu bisolo ebibiwulira era ebitegeera, Nabbi ebyengera n'emirembe bibeere ku yye, yagamba nti: “Babonerezebwa n’ekibonerezo n’ebisolo bye bisobola okuwulira” (Bukhari 6366, Muslim 586).
Mu bujulirizi bwa Qur'an nga obuyimirizaawo okuzuukira:
Obujulirizi bwajja bungi mu Qur'an eyekitibwa nga buyimirizaawo okuzuukira oluvannyuma lw'okufa, ne mubujulirizi obwo:
Mazima Allah Omugulumivu yatonda abantu okuva ku lubereberye, era oyo asobola okutandika okutonda tasobola ku lwemwa ku bizzaawo. Allah agamba: (Era yye yooyo atandikawo ebitonde era nga yaabizzaawo (oluvanyuma lw'okufa kwabyo) (Ruum 27). Era Allah Omugulumivu n’ayogera ng’alagira okuddamu eri abo abawakanya okuzuukizibwa nga amagumba gamaze okuba amamerengufu.: ( Gamba nti agenda kugalamusa oyo eyagatandika omulundi ogwasooka era nga yye amanyidde ddala ebikwata ku buli kitonde.) (Yaseen 79).
Mazima ensi ebeera nfu nga terina bulamu, nga temuli muti gwa kiragala, olwo enkuba n’etonnya ku yo, n’ekakana nga ya kiragala era nga nnamu, n'ameza mu yo mu buli mutindo oguwa essanyu. Era oyo asobola okugizuukiza oluvannyuma lw’okufa asobola okuzuukiza abafu. Allah Omugulumivu agamba: (Era tussa amazzi okuva waggulu agoomukisa, olwo nno netumeza nago amalimiro n'empeke ebikungulwa. N’emitende emitumbiivu egirina ebirimba ebyeberese ku bina byo. Nga byakulya bya baddu, era tulamusa nago (amazzi) ettaka effu eriba likaze, nabwekutyo okuzuukira bwe kuliba.) (Qaaf 9_11)
Buli muntu omutegeevu akimanyi nti Oyo alina obuyinza ku Kineene era wa maanyi nnyo ku ekyo ekitono n'okusingawo, ye Allah Omugulumivu yatonda eggulu, ensi, n’obwengula, wadde nga byali binene, era bya kyewuunyo obutonzi n’olwekyo, alina amaanyi agasinga, Ye asobola okuzuukiza amagumba agafuuse amavundu. Allah Omugulumivu yagamba: (Abaffe oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi tasobola kutonda bintu (birala) biringa byo, weewaawo (asobolera ddala) era ddala yye ye mutonzi omumanyi ennyo.) (Yaseen: 81)
Ebibala by’okukkiriza mu lunaku olw’enkomerero:
1- Okukkiriza olunaku olw’enkomerero kye kisinga okukwata ku kulungamya Omusiraamu, okukangavvula kwe, okwewaayo kwe eri ebikolwa ebirungi, n’okutya Allah Omugulumivu Ekitiibwa kibeere gy’ali era ali wala nnyo n’empisa embi. Eno y’ensonga lwaaki okukkiriza olunaku olw’enkomerero kutera okukwatagana n’ebikolwa ebirungi, nga Allah Omugulumivu bw’agamba nti: (Mazima ddala azimba e mizikiti gy’a Katonda, yooyo akkiriza Allah n’olunaku lw'enkomerero,) (Tawbah: 18) n'ekigabo kye: (Bo abo abakkiriza olunaku lw’enkomerero bakkiriza ekitabo kino, era bulijjo e sswala zaabwe bazikuuma butiribiri.) (Al Anmaam: 92)
2- Okulabula abatafaayo abajjumbidde mu nsonga z’obulamu n’amasanyu gaayo okuva mu kuvuganya mu bikolwa eby’okugondera Allah n’okukozesa obudde okusemberera eri Allah nga bayita mu bikolwa eby’okugondera Allah, Eri obutuufu bw'obulamu n’obumpi bwabwo era nti obulamu obw’oluvannyuma lw’okufa bwe bwo lubeerera, Era Allah bwe yatendereza ababaka mu Qur’an era yayogera ku bikolwa byabwe era n’abatendereza olw’ensonga eyabakubiriza okukola ebikolwa ebyo n’empisa ennungi, ng’agamba nti: (Mazima ffe twabaawula n'enkizo ey’okujjukira e nyumba ey’olubeerera (enkomerero).) (Swaad 46), kuly'ensonga y'ebikolwa ebyo ebirungi mazima bajjukira nga nyo obulamu obw’oluvannyuma lw’okufa, era okujjukira kuno kwe kwabatuusa ku bikolwa ebyo n’ebifo ebyo . .
Abasiraamu abamu bwe baali tebaagala kugondera kiragiro kya Allah n’Omubaka we, Allah Omugulumivu yabagamba, ng’abalabula nti: (musazeewo kugenda na bulamu bwansi okusinga e nkomerero! naye obulamu bwensi bwe bugeraageranyizibwa ku bw'enkomerero tebuba okugyako kantu katono nnyo.) (At-Tawbah: 38). Omuntu bw’akkiririza mu lunaku olw’enkomerero, akakasa nti eby’amasanyu byonna ebiri mu nsi tebigeraageranyizibwa ku ssanyu ly’enkomerero. Tewali wadde okunnyika n’akatono mu kubonyaabonyezebwa ku lulwe tekulina mugaso gwonna, era buli kubonyaabonyezebwa mu nsi - ku lw’obulungi bwa Allah - tekugeraageranyizibwa ku kubonyaabonyezebwa kw’enkomerero, era tekugwana n’okunnyika n’akatono mu ssanyu ku lw’obulungi bwe.
3-Enkutebenkera nti omugabo go omuntu tegusobola Ku vaawo; Oyo yenna eyagibwako omugabo gwe n'ewekiba kyenkanakana nga empeke ya kalo mu butali butuufu ajja gufuna kulunako lw'enkomerero mukade kagenda okusinga okugwetaaga, ela omuntu anakuwala atya nga akimanyi nti omugabo gwe wakugufuna mukadde akasinga okuba aka kabenje (olunaku lw'enkomerero)? Era anakuwala atya oyo amanyi nti agenda okulamula wakati we n'oyo gwalina obutakanya naye, nga Ye Allah asinga abalamuzi bonna.