تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: ESSWALA

الدرس Esswala ya y'ekikungo (jama)

Allah yalaalika ku basiraamu okusaalira mu kikungo (jama) olw'ebigendererwa n'emigaso egy'enjawulo. Mu musomo guno, ogenda kutegeera ensaala y'esswala ya jama wamu n'amateeka agajifuga.

  • Okutegeera obulungi obuli mu sswala y'ekikungo (jama).
  • Okutegeera amateeka agafuga okukulemberwa mu sswala
  • Okutegeera amateeka agafuga imaam (akulembera banne mu sswala) wamu n'oyo akulemberwa.

Allah ow'ekitiibwa yalagira abasajja okusaalira mu jjama esswala ettaano, era kiriko obulungi n'empeera nyingi, nabbi muhammad okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "esswala ya jama esinga esswala omuntu gyaasadde yekka amadaala abiri mu musanvu (27)" (hadith eri mu kitabo kya bukhari ya 645, ne muslim ya 650)

Ekitono enyo jama etandikira ku bantu babiri, imaam wamu n'omugoberezi, era jama jeekoma okuba ennene, jeekoma okwaagalibwa eri Allah.

Obugoberezi kitegeeza ki?

Omugoberezi agatta esswala ye ku ya imaam amukulembedde, amugoberera mu kukutama, okuvunnama, n'awuliriza n'ebyaasoma, era takkirizibwa kumusooka ku kiyungo oba okumwaawukanako mu bikolebwa mu sswala, wabula akikola oluvanyuma lwa imaam.

Okugoberera imaam

Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "mazima ddala imaam yateekebwaawo kugobererwa, bw'akuba takibiira nammwe mukube takibiira, era temukuba takibiira mpaka nga yye agikubye, bw'akutama ku maviivi nammwe mukutame, era temukutama mpaka ng'akutamye, bw'agamba sami-a llahu liman hamidahu,mugambe Allahuma rabbana wa lakal-hamdu, bw'avunnama nammwe muvunname, era temuvunnama nga tannavunnama" (eri mu kitabi kya bukhari:734, ne muslim:411, ne abu dauda 603)

Ani asanye okubeera imaam?

Akulembezebwa okuba imaam oyo eyakwaata ekitabo kya Allah Quran era asinga okukisoma obulungi, bw'atabaawo tulonda oyo asaanidde, nga nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyagamba nti: "akulembera abantu mu sswala oyo abasinga okusoma ekitabo kya Allah, bwebaba benkana mu kukisoma, olwo akulembera oyo abasinga okumanya enjigiriza za nabbi..." (kitabo kya muslim: 673).

Imaam n'omugoberezi bayimirira wa?

Kisaanidde imaam okubeera mumaaso g'abo baakulembera, era n'abagoberezi nabo benkanenkane mu nyiriri zaabwe emabega we, era basooke bajjuze olunyiriri olusooka olwo n'oluluddirira bweebatyo, omugoberezi bw'abeera omu ayimirira ku ludda lwa imaam olwa ddyo.

Omugoberezi ajjuza atya eby'amuyiseeko?

Omuntu singa yeegatta ku imaam nga esswala yatandise dda ng'alina ebimuyiseeko mu sswala, ayingira mu sswala naye mpaka bw'atoola salaam, olwo yye asituka najjuza ekiba kyaamuyiseeko oluvanyuma. Kyeyasadde ne imaam akibala ng'entandikwa ye sswala, ate by’akola oluvanyuma lwa salaam ya imaam n'ebibeera ebisembayo mu sswala ye.

Eraaka tugisanga naki?

Omugoberezi bw'asanga okukutama kwa imaam aba asanze eraaka eyo yonna, era oyo okukutama gwekuyitako eraaka yonna eba emuyiseeko n'eraaka ezasoose, n'okwekyo ayingira esswala n'agoberera imaam we, imaam bw'atoola salaam, omugoberezi oyo asituka n'asaala eraaka ezaamuyiseeko.

Ebyookulabirako ebiraga omugoberezi ayitiddwaako ekitundu ky'eswala eky'asoose

Omugoberezi singa asanga imaam mu raaka ey'okubiri mu sswala ya subuhi aba akakatibwaako okusituka oluvanyuma lwa salaam ya imaam ajjuze eraaka eyamuyiseeko era takkirizibwa kutoola salaam mpaka ng'agisadde; kubanga esswala ya subuhi erina eraaka bbiri ate nga yye yasanzeeko emu yokka.

Omugoberezi bw'asanga imaam ng'ali ku tahiyyaatu esembayo mu sswala ya magaribi, aba akakatwaako okusaala eraaka ssatu ezijjudde oluvanyuna lwa salam ya imaam; kubanga yye ku sswala ya imaam yasanzeeko tahiyyaatu esembayo yokka ng'ate raaka esangibwa n'akusanga imaam ng'akyaakutamye ku maviivi.

Omuntu bw'asanga imaam ng'ali ku maviivi mu raaka ey'okusatu mu sswala ya zuhuri (saawa musanvu), aba asanze eraaka bbiri ku sswala ya imaam we (ng'era ezo ku yye zeezibeera ebbiri ezisoose ku sswala ya zuhuri), imaam bw'atoola salaam aba akakatwaako okusituka ajjuze ekiba kisigaddeyo ku sswala ye, ng'era ze eraaka ebbiri ezisembayo ku sswala ya zuhuri (ey'okusatu n'eyokuna) kubanga zuhuri ya raaka nya.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار