القسم الحالي: ESSWALA
الدرس Obuwombeefu mu sswala
Bwebwannamaddala bw'esswala era ekinyusi kyaayo, era kitegeeza okuba ng'omutima gw'omusaaze guli mumaaso ga Allah mu sswala (ssi mubiri gwokka), mu kuba nga ali mu mbeera ey'obugonvu ey'obunyonoofu, nga byaasoma okuva mu kuraane, edduwa ne azikaari ez'enjawulo byonna abiwulira munda mu yye.
Obuwombeefu mu sswala, z'ezimu ku ibaada enkulu enyo, ky'ova olaba Allah yakissaako essira mu kuraane ng'ayogera ku kitendo by'abakkiriza, nga bwagamba Allah: (mazima ddala balokose (besiimye abakkiriza • abo bbo mu kusaala kwabwe [ababa] nga beewombeefu) (essula mu-uminuuna:1-2)
Omuntu bwabeera omuwombeefu mu sswala ye, awulira mu yye obuwoomerevu bw'okusinza n'obukkiriza, ky'ova olaba nabbi muhammad okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yali nga agamba: "esswala yafuulibwa ekintu ekintebenkeza ekinsanyusa" (kitabo kya nasaa-i:3940).
Ebimu ku biyamba omuntu okuba omuwombeefu mu sswala
Kino kibeerawo na kukeera ku muzikiti eri abasajja, n'okusaala esswala eza ssuna ezibeerawo oluberyeberye lw'esswala, n'okwambala ebyambalo ebirungi era ebisaanidde, n'okutambula ng'ogenda okusaala mumbeera ey'emirembe etaliimu kupapa.
Obutasaala nga mumaaso ge waliyo ebiyinza okumulabankanya ng'ebifaananyi, n'ebyewunyisa, oba ng'awuliriza amalaoboozi agayinza okumubuzaabuza mu kusaala kwe, era tajja kusaala ng'ayetaaga okweeyamba, wadde ng'enjala emuluma, oba enyonta ng'ate waliwo emmere oba amazzi, ebyo byonna bikolebwa obwongo bwe bube butebenkevu asobole okukola ekyaamulagirwa nga kkyo kw'ekusaala wamu n'okwoogera n'omutonzi we.
Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yali nga atebenkera mu nkutama wamu n'envunama ze mu sswala okutuusa buli kiyungo wekidda mu kifo kyaakyo, era yalagira n'oyo eyasaala obubi esswala ye, addemu asaale nga mutebenkevu bulungi mu sswala ye yonna, n'aziyiza n'okwanguyuriza mu sswala era n'akufaananyaako okubojjogola kwa nnamungoona (ayanguyiriza aba nga abojjogola esswala)
Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba nti: "omuntu asinga obubi yooyo abba mu sswala ye", nebamubuuza: owange gwe omubaka wa Allah, ate omuntu ayinza atya okubba ng'ajja mu sswala ye?, n'abagamba: "yye tatuukiriza nkutama yadde envunama zaayo" (hadith eri mu kitabo kya Ahmada:22642). n'oyo atatebenkera mu sswala ye tasobola kuba muwombeefu mu yyo, kubanga okwanguyiriza kujjawo obuwombeefu, ate era n'okubojjogola esswala (ng'ekinyonyi nnamungoona bwekikola nga kirya) kijjawo empeera.
Ajjukire obunene n'obukulu bw'omutonzi we, era ajjukire nti yye munafu era munyomoofu, era akimanye nti ayimiridde mumaaso g'omulezi we alina mmukowoola na buwombeefu, na bukkakkamu, era ajjukire ebyo Allah byeyateekateekera abakkiriza ku lunaku lw’enkomerero ebirungi, wamu n'ebibonerezo Allah byeyategekera abajeemu n'abo abamugattako, era ajjukire nti anaayimirira atya mumaaso ga Allah ku lunaku lw’enkomerero.
Omusaaze b'ateeka mu mutwe gwe nti Allah amuwulira, era y'amuwa by'ayagala, era y'amwaanukula by'asaba, afuna obuwombeefu mu sswala okusinziira ku ngerri jaalowooza kweebyo ng'ali mu sswala. Era bw'akola ebyo abeera kumpi nyo n'okuyingira mu lukalala lwaabo Allah beyawaana ng'ayogerako: (nti mazima ddala yyo [esswala] nzito okujjako eri abo abagondera Allah • abo abakkiriza nti ddala bajja kusisinkana ne mukama waabwe era nti gy'Ali y'eri obuddo bwabwe) (surat bakara: 45-46)
Kuraane yassibwa kugifumiitirizaako, Allah ow'ekitiibwa agamba: "kitabo ky'etwassa ku gwe (muhammad) nga kya mukisa balyooke bafumiitirize beetegereze ebigambo by'akyo, era bebuulirire nakyo abalina amagezi) (essuula sad:29)
Okufumiitiriza kufunibwa kutya?
Omusaaze tasobola kufumiitiriza okujjako ng'amanyi amakulu g'ebyo by'asoma okuva mu kulaane, azikaari wamu ne ssaala ez'enjawulo, olwo asobola okufumiitiriza ku makulu g'abyo nga bw'eyetunulamu mu embeera ye na kki kyaali, ekyo kireeta obuwombeefu, n'okukwaatibwaako ku mutima osanga ayinza n'okkulukusa ku maziga, n'atabeera ng'omuntu atawulira yadde okulaba ebisomwa gwebiyitako obuyisi nga tabifunyeemu, nga Allah ow'ekitiibwa bweyagamba: "era be bo bwe baba nga bategeezebbwa obubonero bwa mukama waabwe tebabwaawukanako nga beezibye amatu n'amaso" (Quran 25:73)