القسم الحالي: HIJJA
الدرس Amakulu ga hijja n'ebirungi byaayo
Amakulu ga hijja
Hijja kw'ekugenda e makka ku nyumba ya Allah ey'emizizo mu kiseera eky'eyawulidde, olw'okukola emikolo gya hijja nga bwegyaava ku Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, ng'okuleeta enniya ya hijja, okwetoloola kaaba emirundi musanvu, okutambula wakati w'ensozi swafa ne maruwa emirundi musanvu, okubeerako mu lusenyi arafa, n'okukuba ebiwagi e mina, n'emikolo emirala. Era mu hijja mulimu emigaso ntoko eri abaddu ng'okwoolesa okwaawula kwaabwe Allah, n'okuba nti abagenze mu hijja basonyibwa amazambi.gaabwe. n'abasiraamu okumanyagana, okutegeera amateeka agafuga obusiraamu, wamu n'ebirala.
Hijja eramulwa etya?
Hijja y'empagi ey'okutaano mu mpagi z'obusiraamu, era yyo yatteeka ku buli musiraamu omwaami n'omukyaala omulundi gumu mu bulamu bwe singa aba alina obusobozi, Allah ow'ekitiibwa yagamba: "era Allah yakakasa ku bantu bonna okulambula enyumba eyo (kaaba) nga kino kikakafu ku muntu aba asobola okutuukayo ku kaaba, n'oyo anaaba awakanyiza (obukakafu bwa hijja) amanye nti Allah mugagga obutetaaga eri bitonde bye" (essuula 3:97)
Hadith eva ku abi hurayra Allah asiime ku yye yagamba: Nabbi wa Allah ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yatubuulira n'agamba: "abange mwe abantu, Allah abalaaliseeko okukola hijja, era mukole hijja", omusajja n'agamba: erina kkolebwa buli mwaaka owange gwe omubaka wa Allah? Nabbi n'asirika okutuusa omusajja bweyakiddamu emirundi esatu, Nabbi n'amugamba: "mba kugamba nti yye, kyandikakase (eky'okugikola buli mwaaka) ate nga temwandikisobodde" (eri mu kitabo kya muslim:1337)
Era kikakata ku musiraamu okwanguwa okugikola waafunira obusobozi.
Ebiseera omukolebwa hijja
Hijja erina ebiseera n'ebifo (ebyessalirwa) mweekolerwa
Ebiseera omukolebwa hijja
Hijja erina emyeezi egy'essalira mweekolebwa, era omuntu takkirizibwa kuleeta nniya y'akugikola mu biseera ebitali ebyo era nga byeebino: omweezi gwa shawwaal (10), dhul-qa-ada (11) ne dhul-hijja (12), naye nga emikolo gya hijja gikolebwa wakati w'olunaku olw'omunaana n'olwe kkumi n'essatu mu mweezi gwa dhul-hijja, omweezi ogw'ekkumi n'ebbiri ku mbala y'obusiraamu.
Bino by'ebifo ng'omuntu ayagala okukola hijja oba umra ng'ali wabweeru waabyo, takkirizibwa kubisukka nga tannaleeta nniya ya hijja, ekifo (eky'essalirwa) eky'abantu ab'emadiina ye dhul-hulayifa, abava e syria (shaami) bakiyita juhufa, abava e najidi bakiyita qarn-al-manaazil, abava e yemen bakiyita yalamlam, ate abe iraq bakiyita dhaatu-iriki, era nga bino ebifo by'abantu beeyo, wamu n'abo ababa bayise ku ludda lwaabwe nga bayingira makka nga baagala kukola hijja nga ssi batuuze ba mu bifo ebyo, era ebifo bimanyibwa n'akubuuza abantu abalina obumanyirivu,oba okukebera mmaapu empya eziraga webiri.
Obukwakkulizo obuleetera hijja okuba ey'etteeka ku muntu
Akakwakkulizo akasooka: obusiraamu
Hijja ekakata ku musiraamu, naye tekakata ku oyo atali musiraamu era nebwaagikola tetuuka (eba nfu), kubanga obusiraamu kakwakkulizo akaleetera okusinza kw'omuntu okuba okutuufu.
Akakwakkulizo ak'okubiri: okutegeera
Hijja tekakata ku mulalu era n'ebwaagikola tetuuka, okutegeera kakwakkulizo akaleetera hijja okukata ku muntu, nga Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bwaatugamba mu hadith eyogerwa swahaba Ali Allah yasiime ku yye: "emirimu gy'abantu basatu tegiwandiikibwa: eyeebase mpaka lwaasisimuka, omwaana omuto mpaka lweyeeroterera, era n'omulalu mpaka lwaddamu okutegeera" (abu dawuda:4403)
Akakwakkulizo ak'okusatu: obukulu
Hijja tekakata ku mwaana muto nga Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bwaatugamba mu hadith eyogerwa swahaba Ali Allah yasiime ku yye: "emirimu gy'abantu basatu tegiwandiikibwa: eyeebase mpaka lwaasisimuka, omwaana omuto mpaka lweyeeroterera, era n'omulalu mpaka lwaddamu okutegeera" (abu dawuda:4403)
Omwaana omuto bw'akola hijja, hijja ye etuuka, naye temusonyiyisa hijja emukakatako mu busiraamu, Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "Omwaana omuto bw'akola hijja, ebalibwa nga hijja ye mpaka ng'akuze, bwaamala okutegeera obulungi (ng'akuze) aba alina okuddu n'akola hijja" (mu kitabo kya hakim al mustadrak:1769)
Akakwakkulizo ak'okuna: okuba omwaana wa boobo (atali muddu)
Omuddu afugibwa mukama we hijja temukakatako, era yye asonyiyibwa amateeka g’obusiraamu olw'okuba nti alina emirimu gya mukama we, naye singa akola hijja nga mukamaawe amuwadde olukusa etuuka, naye temujjaako kuba nti hijja ekakata mu busiraamu ekyaamubanjibwa, nga Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bwaatugamba mu hadith eva ku swahaba ayitubwa ibun abbaas Allah yasiima ku yye: "omuddu yenna akola hijja oluvanyuma n'ateebwa ab'alina okuddamu okukola hijja endala" (kitabo kya bayihaqi:8613)
Akakwakkulizo ak'okutaano: obusobozi
Hijja ekakata ku musiraamu alina obusobozi, era nga yooyo omulamu mu mubiri, asobola okutambula olugendo, era ng'alina n'entanda emumala okugenda okukola hijja. Era mu busobozi obubalibwa ku mukyaala mu kukola hijja: kw'ekuba n'omuntu amuzira agenda okutambula naye mu lugendo lwa hijja, kubanga yye omukyaala takkirizibwa kutambula lugendo luwanvu kugenda ku hijja oba ewalala nga tali na muntu amuzira olubeerera (mu basajja)
Allah yagamba: "era Allah yakakasa ku bantu bonna okulambula enyumba eyo (kaaba) ku abo abalina obusobozi okutuuka gyeeri" (essuula 3:97)
Omuntu alina obusobozi obw'esimbi naye nga teyeesobola mu mubiri olw'obulwadde obutasuubirwa kuwona, oba olw'obukadde, aba akakatwaako okufuna omuntu amukolere hijja. Hadith eva ku swahaba fadh-lu bin abbaas: omusajja yabuuza Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye nti: owange omubaka wa Allah, kitange obusiraamu bwaamusanga muzeeyi mukadde tasobola kunyweera ku kyeebagalwa, mmukolere hijja? Nabbi n'amugamba olaba otya singa kitaawo abadde abanjibwa n'omusasulira ebbanja eryo, kyandibadde kimwejjereza? Omusajja n'amugamba nti: yye, Nabbi n'amugamba: "kolera kitaawo hijja" (musnad gwa ahmad:1812)
Embeera ezibalibwa mu busobozi bw'omusiraamu okukola hijja:
Akakwakkulizo ak'omukaaga: omukyaala okuba ng'alina omusajja (mwaami we oba ow'oluganda amuzira okufumbirwa olubeerera) gw'agenda okutambula naye mu lugendo lwe
Kakwakkulizo okuba nti hijja ekakata ku mukyaala okuba ng'alina oyo omusajja amuzira, hijja tekakata ku mukyaala nga tawerekeddwaako omu ku basajja abo, ng'era beebano: omwaami we, oba oyo gw'atakkirizibwa kufumbirwa olubeerera nga taata, jajja, omutabani, omuzzukulu, banyina n'abaana baabwe, taata omuto wamu ne kojja we.
Omukyaala bwaakola hijja nga talina mahram, mu mbeera ennungi nga mutebenkevu hijja ye etuuka era emumalira okuba nti takyabanjibwa hijja mu busiraamu, naye afuna omusango ku kw'ekikolwa kyaakoze.
Eby'enkizo ebiri mu hijja
Hajji erimu ebirungi n'ebyenkizo bingi , nga mu bbyo:
1. Eri mu mirimu egisinga obulungj
Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye bweyabuuzibwa ku mirimu egisinga obulungi yagamba: "okukkiriza mu Allah n'omubaka we" n'agambibwa nti oluvanyuma mulimu ki? N'agamba: "okulwaana mu kkubo lya Allah " n'agambibwa: nti oluvanyuma mulimu ki? N'agamba nti: "okukola hijja entuufu" (kitabo kya bukhari:1519,ne muslim:83)
2. Kiseera kirungi kya kusonyiyibwaamu mazambi.
Nabbi Muhammadi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "omuntu akola hijja ku lwa Allah, n'ategattiramu (mu hijja) na mukyaala, n'atakolerayo bikyaamu birala (mu bigambo n'ebikolwa), akomawo ng'olunaku lweyazaalibwa nyina " (bukhari:1521, muslim:1350), ekitegeeza nti: akomawo nga talina kyonoono kyonna ng'alinga azaaliddwa bupya"
3. Mukisa munene gwa kuteebwa kuva mu muliro
Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "teri lunaku lusinga kutebwaako bantu kuva mu muliro, ng'olunaku lwa Arafa" (muslim:1348)
4. Mazima empeera yaayo janna
Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "hijja entuufu ekkirizibwa terina mperra gyeesasulwa okujjako ejjana" (bukhari:1773, muslim:1349). Bino ebirungi wamu n'ebirala bibeera byooyo aba akoze hijja ne niyya nga nnungi , era n'emunda we (omutima gwe)nga watukuvu, era n'aba ng'agikoze agoberera Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye nga bweyagikola.