Ekitundu ekiriwo kati: Amateeka agafuga engendo
Omusomo Okweetukuza mu ngendo
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Mu ngendo bingi ebikyuuka eri omuntu okwaawukanako ku mbeera ze ng'ali ku butaka ng'ebintu ebisinga bimuli kumpi, hadith eva abi hurayira Allah asiime ku yye agamba nti, nnabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba nti: "olugendo kutindu ku kibonerezp, lulemesa omuntu okulya enmere ye, eby'okunywa wamu n'otulo twe, omu ku mmwe bw'aba amalirizza eky'etaago kye mu lugendo, ayanguye ko adde eri abantu be" (bukhari:1804, 3001, 5429 ne muslim :1927). Kisaanidde eri oyo agenda mu lugendo okumanya esonga ezimu ezikwaata ku kweetukuza, n'endala, nga mu zzo:
Kiziyizibwa okumala ekyetaago n'okujamawaza ebifo abantu w'ebetaayiza ng'ekisiikirize, oba wansi w'omuti, oba ekifo ekyatekwaawo okutulwaamu, n'ebifo ebirala.
Abamanyi baayogera nti omuntu bw'aba ali ku lukalu ng'ayagala kumala ky'etaago; akubirizibwa okufuna ekifo ekikkakamu; aleme kwekyaafuwaza na musulo guleme kumusammukira nga yeewala okufuka ewakaluva oba empewo w'enkuutira.
2. Okweebikka ng'amala ekyetaago
Mu hadith ya abdullahi bin ja'far ng'ayogera ku nabbi muhammad ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba nti: "omubaka wa Allah yali ng'ayagala nyo okweeyawula ng'agenda okumala ekyetaago, n'afuna ekimusiikiriza (okuva eri amaaso) akagulumu oba emiti gy'entende" (muslim:342). Era ne mu hadith endala nti "bweyali nga ayagala okumala ekyetaago, teyafungula nga lugoye lwe okutuusa ng'atuuse ku ttaka" (abu dawuda:14) olw'ensonga nti ekyo kiba kimubikka okuva eri amaaso.
Okutayammama muteeko mu miteeko gy'okweetukuza nga tugenda okusaala, singa waba tewali mazzi oba mu mbeera ey'obutasobola kugakozesa, ng'era ekolebwa bweti: omusiraamu akuba ebibatu bye ku ttaka, olwo n'abiyisa mu kuenyi kye, oluvanyuma n'ebibatu bye ekya kkono kiyisa ku kya ddyo n'ekya ddyo n'ekiyisa ku kya kkono kungulu.
Okusiiga ku bugatto ebw'eddiba obuweweevu: omuntu bwaba ayambadde obugatto obwo (obw'eddiba obulinga sitookisi) nga bubiika ebigere bye byonna, oba sitookisi oba ebirala bw'ebityo, nga yabyambadde mutukuvu okuva eri ebizuusi ebinene n'ebitono, bw'afuna wuzu n'ayisa mu mutwe gwe, takakatwaako kuzijjako nti anaabe ebigere bye, naye abiyisaako kungulu kw'abyo ku bugatto bwe obwo oba sitookisi ze (ssi wansi wa kigere).