تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Amateeka agafuga engendo

الدرس Eby'okufumiitiriza eri omukkiriza ku ngendo

Obusiraamu tebugaana musiraamu kukyakala na kweeyagalira mu butonde obulungi obwo Allah bweyakola, naye ate omusiraamu bw'aba agenda mu ngendo ezo alina okugoberera empisa n'amateeka g'obusiraamu, era ng'ekyo kyetugenda okufuna mu musomo guno.

  • Omusiraamu okugatta wakati w'enzikiriza ye wamu n'ebikwaata ku bulamu.
  • Yye okufumiitiriza ku busobozi bwa Allah ng'asinziira ku byeyatonda.

Engendo kitegeeza omuntu byaakola mu ntambula ze wamu n'okukyakalira mu bifo eby'obulambuzi n'ebirala ebibifaanana.

Mu Kuraan ekigambo kutambula kyajja mu Aya ezigamba nti: "ku lw'empisa y'abakurayishi * Enneeyisa yaabwe ey'okutambula nga engendo mu biseera by'obutiti n'ekyeeya" (essuula 106:1-2), entambula z'omubutiti : zaali nga ntambula za busuubuzi okugenda e yemeni, ate ez'omukyeeya zaali nga zigenda syria.

Engendo zitwongera tutya obukkiriza?

Obulamu bw'omusiraamu bukwaatagana ne Allah wamu n'amateeka ge mu mbeera ze zonna. Era engendo zijjudde amateeka ag'obusiraamu Allah geyatuteerawo mu zzo; olw'ebyo ebirungi byetufunamu ku nsi ne ku nkomerero, naye ng'ebyo ebirungi bibaawo ng'omuntu yeeyisizza bulungi mu zzo.

Omukkiriza asobola okufuula oligendo lwe eky'okusinza, ng'okugenda mu kifo ewasinzibwa okugeza olugendo lwa hijja ne umra, oba okunonya okumanya... era asobola n'okutambula ku nniya ennungi n'alambula ku b'engada ze, oba okusanyusa ku bantu nga batambulamu, oba okweewummuzaamu yye n'abantu okuyinza ommuyambako mu kwongera okugondera Allah oba okuva ewali ebyaziyizibwa.

"Gamba nti: Mazima okusaala kwange n'emirimu gyange gye nkola (Egy'obulungi gyonna) n'obulamu bwange n'okufa kwange, (Byonna) bya Katonda Omulezi w'ebitonde" (essuula 6:162)

Engendo mukisa gwa kufumiitiriza okw'omugaso eri omusiraamu.

Ensi ejjudde obubonero obulaga amanyi, okusaasira, wamu n'amagezi ga Allah, yagamba Allah: "mazima mu kutondebwa kw'eggulu n'ensi, n'okukyuukakyuuka kw'ekiro n'emisana mulimu obubonero eri abo abalina amagezi" (essuula 3:190), kyov'olaba yalagira nyo okweetegereza ebintu mu mbeera y'okwefuumiitiriza, naye ssi kubitunuulira kusanyuka busanyusi, Allah yagamba: "Abaffe tebatunuulira mu bufuzi bw'eggulu n'ensi, n'ebyo Katonda bye Yatonda mu bintu (Ebiri ku nsi)" (essuula 7:185)

Ng'era bwekiri nti mu kweeyawula kubaamu omukisa gw'omuntu okusiriikirira n'eyeebalamu biki byaakoze ebigenda okumugasa enkya, naddala nga yeeyawudde (n'abeera yekka) ne Allah we.

Omuntu bw'atuuka w'agenda okubeera mu lugendo lwe akola atya?

Ouo yenna aba atuuse w'agenda okubeera mu lugendo lwe: ku lukalu oba ewalala wonna, oyo akubirizibwa okwoogera essaala eyava ku nnabbi.

Swahabiyya ayitibwa khaula muwala wa hakim Allah asiime ku yye yagamba nti: nnawulira omubaka wa Allah ebyengera n’emirembe bibeere ku yye ng'agamba: "oyo yenna aba atuuse mu kisulo oluvanyuma n'agamba: A-uudhu bi kalimaati llahi attaammaat min sharri ma khalaka, [ebitegeeza nti: neekingiriza n'ebigambo bya Allah byonna ebijjuvu okuva eri obulabe obuva mu buli kyeyatonda] tewali kintu kiyinza kumukosa okutuusa lw'anavaawo" (eri mu kitabo kya muslim:2708).

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار