تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: Amateeka agafuga engendo

الدرس Okusaala n'okusiiba mu lugendo

Okusiiba n'okusaala birina amateeka ageeyawulidde agakwaata ku lugendo. Ogenda kumanya mu musomo guno agamu ku mateeka gano.

Okumanya amateeka agakwaata ku kusaala n'okusiiba mu lugendo

Okwaziina mu ngendo

Esswala bwetuuka ng'omuntu ali mu kyangaala ewatali muzikiti, olwo aba alina okusitula eddoboozi lye ng'ayaziina buli budde bwa sswala

Hadith eva ku abdullahi mutabani wa abdulrahman bin abi swa'swa-a agamba nti: mazima swahaba ayitibwa abi sa-iid al khudri Allah asiime ku yye yamugamba nti: nkulaba oyagala nyo embuzi n'okubeera ku ttale, bwoba oli eyo mu mbuzi zo oba ku ttale, n'oyaziina ng'esswala etuuse, situla eddoboozi lyo ng'oyaziina, mazima ddala: "teri kiwulira ddoboozi lya mwazinyi okuva mu majinni n'abantu ova ekirala kyonna, okujjako nga kigenda kumuwaako obujulizi ku lunaku lw’enkomerero", abu sa-iid yagamba: ebyo nabiwulira ku mubaka wa Allah ebyengera n’emirembe bibeere ku yye. (Bukhari:609).

Era okuva kwekyo tumanya obukulu bw'okwaziina, era nti kisaanidde eri oyo ali mu lugendo obutekwaatirira ng'ayaziina oba obutataziina, mu hadith endala nabbi agamba: "omwazinyi ajja kusonyiyibwa okusinziira eddoboozi lye gyeryatuuka, era buli kintu ekikalu n'ekibisi byonna bimusabira Allah amusonyiwe" (ibun maaja:724).

Okunula mu kibula

Oyo aba ali mu lugendo, asanye afube okulaba ng'anonya ekibula gyekiri, atunule ku ludda ewali makka, newankubadde nga aba talaba kaaba yadde kibuga makka, ekikulu kutunula ludda gyebiri, era takakatwaako kutunula ku kaaba yenyini kubanga ekyo kikaluubiriza, naye atunula ku ludda lwaayo.

Bw'afuba nga bwasobola okunonya ekibula, esswala ye eba ntuufu nebw'akitegeera oluvanyuma nti gyeyatunudde ssi yeewali ekibula, esswala tagiddamu. Naye singa amanya nti gy'atunudde ssi yeewali ekibula ng'ali mu sswala wakati, olwo aba alina okukyuuka atunule mu kibula, era n'agenda mmaaso ne sswala ye. Naye bwaaba teyafubye kunonya kibula, n'akitegeera oluvanyuma nti gyeyatunudde ssi gyekiri olwo esswala agiddamu kuba teyafuddeyo kunonya kibula.

Ekibula tusobola n'okukitegeera nga tukozesa ebyuuma bi kalimagezi, oba okukozesa omusana, oba okubuuza eyeesigika okuva mu bantu b'ekitundu ng'ate amanyi ekimubuuzibwaako okuva mu bantu b'ekitundu, oba singa tulaba ebituuti by'emizikiti ebiraga ekibula gyekiri.

Enkizo y'esswala ku muntu ali mu lugendo.

Okweekumira ku sswalamu ngendi kyeekimu ku bintu ebikulu enyo, era bujulizi obulaga obwannamaddala bw'obukkiriza.

Mu hadith emu egamba nti: "esswala ya jama esinga eya ssekinnoomu amadaala abiri mw'ataano (25), ate esswala y'omulugendo, bwesaalibwa mu butuufu bwaayo nga enkutama n'envunnama zaayo zikoleddwa bulungi, eba yenkana esswala amakumi ataano (50)" (abu dawuda:560).

Kino kisoboka okubeera bweekiti olw'ensonga nti kirimu obujulizi obukaga omuntu okuba nga yekwaata nyo ku Allah we, n'okuba nti amutya; nti nebwaaba mu mbeera nga yeeyawidde ku bantu ng'ali gyebatamulabira, era ku lweekyo kyajja mu hadith nti: "Allah wammwe asanyukira era n'eyewunya omulunzi w'embuzi ali ku ntikko y'olusozi, ayaziina n'asaala, amwoogerako Allah ng'agamba: mulabe omuddu wange ono, ayaziina, n'asaala, ng'akikola lwa kuntya nze, mmusonyiye amazambi ge era n'emuyingiza n'ejjana." (Abu dawuda:1203).

Okusaala ng'otunudde eri omuliro

Abantu bakuma omuliro ng'abali mu ngendo zaabwe naddala mu bintu ebinyogoga, olumu guyinza n'okuba nga guli mu ludda gyaatunula ng'asaala, ekisinga obulungi bw'ebutatunula ku ludda eri muliro, naddala imaam (akulembedde abasaaze), ekyo kikolebwa kweewala kweefananyiriza bantu basinza muliro (aba majuusi), ate era ggwo omuliro gulabankanya omusaaze, singa baba bagwetaaze ku lw'okweebugumya oba nga kikaluba okukyuusa ekifo obutatunula gyeguli, olwo basonyiyibwa.

Okugatta n'okusala ku sswala mu lugendo.

Ekitegeezebwa mu kugatta esswala ebbiri, kw'ekusaala esswala ya zuhuri (ey'okumusanvu) ne aswiri (ey'okukkumi), oba okusaala magaribi (ey'oku emu) ne isha (ey'okubbiri ekiro) mu kiseera ky'emu ku zzo (oba azigasse mu kiseera ky'esooka ku zzo oba ku esembayo), ekyo kibaawo singa emwabaawo ekisonyiyisa ekikkirizisa okugatta esswala.

Ekitegeezabwa mu kusala ku sswala, kw'ekusaala esswala ey'eraaka enya n'osaalako bbiri zokka, ezo mulimu: zuhuri, aswiri, ne isha, naye esswala ya magaribi ne subuhi ezo tetukkirizibwa kuzisalako.

Mu bisonyiyisa ebikkirizisa okugatta n'okusala ku sswala mu ngendo mulimu: olugendo, nga mu kkyo tutegeeza okuba nti omuntu avudde mu kitundu kye n'atambula obbanga eriwerako eriyiyibwa olugendo, abamanyi abamu baakigeraageranya n'ekigero kya kiromita 80. N'olwekyo,omuntu bw'atambula olugendo olw'okukyakalamu oba ekirala naye nga luli kumpi n'ekitundu kye mwaawangalira oyo tasala ku sswala, naye bwaatambula ebbanga eriyitibwa olugendo oluwanvu, olwo akkirizibwa okusala ku sswala ne bwaaba yagenze kukyakalamu okuli halal.

Okusala ku sswala kikubirizibwa eri omutambuze, naye ate okugatta esswala, bwaaba nga ali mu kutambula mu lugendo lwe, asobola okuzigatta mu kiseera ky'eswala esooka oba mu ky'eyookubiri okusinziira ku kiba kimukolera, naye bwaaba ng'ali mu kifo kimu (ng'oyo atuuse w'agenda okusula), oyo ekisinga obulungi asaake buli sswala mu kiseera kyaayo naddala singa aba asobola okuzisaala mu jjama ku muzikiti.

Omutambuze n'abantu ababeera mu ngendo balina obutagayaalira kusaala sswala mu biseera olwookuba bakwaataganye n'ebizibu by'olugendo, Allah ow'ekitiibwa yagamba oluvanyuma lw'okwoogera ku lutalo nti: "naye bwemuba mutebenkedde muyimirizeewo esswala mu bujjuvu, mazima esswala zaalalikibwa ku bakkiriza mu biseera ebigere" (essuula nnisa (4): 103)

Kimala mu kugatta esswala, okwaziina olwaziina lumu, oluvanyuma netukima esswala ku lwa buli sswala ku ezo zetugatta, naye azikaari zzo tuzireeta luvanyuma lwa sswala ya kubiri.

Mu ngendo wasobola okubaawo enjawukana mu kuba nti waliwo ekisonyiyisa ekikkirizisa omuntu okugatta n'okusala ku sswala, naye omukulembeze w'ekibinja (nga taata mu bantu be) alina okufuba okulaba ng'akakasa oba bakkirizibwa okugatta n'okusala ku sswala ne bwaaba nga yetaaga kebuuza ku balala akikola, era bwaaba tafunye kukakasa nti akkirizibwa okugatta n'okusala ku sswala, tebakikola, era n'ekibinja kye kirina okumugoberera mu nsonga eyo, kubanga n'okubeera obumu nakyo kikolwa kya kusinza.

Okusiiba ng'oli mu ngendo

Okusiiba kwo nga kkwo mu lugendo ssi kyeekigendererwa wano, naye omuntu abadde alina enkola y'okusiiba ennaku eza kyeeyagalire -nga olw'ebbalaza n'olwokuna- nelukwaatagana n'olunaku lwaali mu lugendo, tagaanibwa kulusiiba.

Hadith eva ku swahaba ayitibwa Anas Allah asiime ku yye yagamba: "twaatambulanga ne nnabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku yye, ng'asiibye tanenya atasiibye, n'atasiibye tanenya asiibye". (Bukhari:1947, ne muslim:1118)

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار