Ekitundu ekiriwo kati: Amateeka agafuga engendo
Omusomo Amateeka agabuna agakozesebwa enyo mu ngendo
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Kisaanidde oluberyeberye lw'okweebaka: okuzikiza omuliro ogutera okkumibwa mu ngendo naddala mu biseera by'obutiti, naddala ogubeera mu weema n'ebisulwaamu ebirala.
Ensibuko mu nnamula y'obusiraamu kweekukkiriza okuyigga, naye kisaanidde okuyiga kuleme kufuuka nsonga ereetera mitima kugyewaatako nyo n'okubuzzbuzibwa okujjibwa ku ddiini n'ebyetaago by'abantu baffe, oba era teligwaanidde kuyigga kubeera kwa kuzanyamu buzanyi, yadde okukoleramu amalala yadde okudibuuda, Nabbi muhammad atugamba mu hadith: "omuntu yenna awangaalira mukyaala yokka abubuyala, era n'oyo agoberera enyo eby'okiyigga agayaala" (abu dawudaa:2859).
Ekikolo mu kulamaula kw'ekukkiriza okuyigga ebisolo byonna n'okubirya okujja konebyo ebiriko obujulizi obugaana (okubirya), ng'okulya ebisolo ebiyiggisa amanyo gabyo ng'emisege n'ebibe, era n'ebinyonyi ebiyiggisa enjala zaabyo nga kamunye, n'ebisolo eby'obutwa ng'emisota, n'ebirala ebibifaanana.
Kikkirizibwa okuyigga ensolo z'omunsiko ne ez'omunyanja mu buli kiseera ky'omwaaka kyonna; era tekirina njwawulo oba ku lunaku lwa jjuma, oba mu mweezi gwa ramanzan, oba mu myeezi egy'emizizo, n'ebiseera ebirala, naye tekikkirizibwa kuyiggira mu bifo eby'emizizo e makka ne madiina, era tekikkirizibwa kuiygga bisolo by'abalala, era omuntu ali mu mizizo takkirizibwa kuyigga bisolo bya ku lukalu.
Ekiyiggibwa okuba ekikkirizibwa okulya, omuyizzi alina okuba omusiraamu, era n'ayogera n'erinya lya Allah ng'ayigga, era asobola okuyigga ng'akozesa ebisolo ebiyigga ng'embwa, oba ebinyonyi ebitendeke okuyigga, naye bwekiba kigenze kyokka (nga takiragidde) oba ekissi bwekiteguka kyokka nekitta nga yye tamanyi; ekyo ekiyiggiddwa (okuttibwa) kiba tekikkirizibwa kulya okujjako singa akisanga kikyaalimu obulamu n'asoma erinya lya Allah n'akisala.
Ng'era bwekiri nti ekisolo ekyo ekiyiggibwa bwekifa, kibe nga kifudde klwa kisago kivudde ku kuyigga kwe, naye singa kigwa mu mazzi ggo negakitta yadde nga kiriko ekisago kye, oba singa akikubisa ekintu ekizito mga tekisala, oba n'ekigwa okuva waggulu nekifa olwo takiraya okujja singa akisanga nga kikyaalimu obulamu olwo aba alina okukisala ensala ekkirizibwa mu busiraamu.
Tekikkirizibwa kutta kisolo kiyiggibwa mu mbeera ya kuzanyamu (okuyigga okw'emizanyo), ng'ayigga nga ekigendererwa ssi kya kulya, nabweekityo okuyigga okulima okutiisa abantu n'ebissi ebikozesebwa mu kuyigga, ng'era bweguli omusango okusiba ekinyonyi kisobole okkozesebwa ng'ekyookuyigirako okupima.
Tekikkirizibwa kusonga kissi mu muntu nebwekiba kya kusaagamu; nabbi agamba mu hadith : "omu ku mmwe tasonganga mu munne ekissi, mazima yye tamanya, sitaani eyinza okukimujja mu mukono (nekifumita munne), nekimuleetera okuyingira omuliro" (bukhari:7072, ne muslim:2617), era ne mu hadith endala: "oyo yenna asonga mu muganda we ekissi, malayika ziba zimukolimira mpaka lwaakiteeka wansi, nebwaaba nga (gw'asonzeemu) muganda we mu maama ne taata (nga basaaga)" (muslim:2616).
Omuntu ayigga alina okutegeera amateeka agafuga okuyigga, n'ebyokwerinda kwe ng'omuntu ng'ayigga, asobole okwekuuma bga yye wamu n'abalala. Era waliyo n'amateeka ag'eyawulidde ku ngeri y'okusala ekisolo (ensala y'ekisolo entuufu mu busiraamu), era n'ago agakwaata ku ngeri ebisolo (ng'ebwa) ebikozesebwa mu kuyigga, n'ago agakwaata ku mbeera singa ekisolo ekiyiggidwa kifa (nga yye omuyizzi tamanyi), n'amateeka amalala, g'aba alina okwebuuza ku bamanyi bamtangaaze mu ggo.
Ensibuko mu nnamula kweekuba nti eby'okulya byonna bikkirizibwa okujjako ebyo ebiriko obujulizi obubiziyiza
Mu bimu ku by'okulya n'ebyookunywa ebitakkirizibwa
Ebimera n'ebibala byonna ebisigadde bikkirizibwa, naye omusiraamu alina okweewala okulya ekiyizna okumukosa, oba ekyo ky'atamanyi oba kirungi.