Sigala ng'oyiga

Tewayingidde
Wewaandiise kati ku mukutu gwa Taa otandike okuyiga, ogoberere enkulaakulana yo, okunngaanye obubonero era oyingire empaka, oluvannyuma lw'okwewandiisa, ojja kufuna satifikeeti ey'omutimbagano ku miramwa gy'osomye
Lwaki nsomera ku mukutu gwa Taa?
Okunonya okumanya kyekimu ku bikolwa ebisinga obukulu ebisembeza omuntu eri Allah, okuggya obutamanya ku muntu gwe gumu ku mirimu egy’obwetteeka, era okunonya okumanya kye kimu ku bikolwa ebisanyusa Omulezi w’ebitonde byonna. Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku ye, yagamba nti: “Okunonya okumanya kyatteeka eri buli musiraamu.” Yayogerwa Imam Ahmad. Nabbi ebyengera n’emirembe bibeere ku ye, yagamba nti: “Oyo yenna Allah gwayagarizza ebirungi, amuwa okutegeera eddiini.” Eyogerwa Muslim. Ku mukutu gwa Taa, ojja kusangaku eby'okuyiga eby'enjawulo, ebyangu, era ebinyuvu ebijja okukusobozesa okufuna obugagga bw’okumanya Obusiraamu kwajja okuganyulamu ku nsi n’enkomerero.