Ekitundu ekiriwo kati: HIJJA
Omusomo Enkizo y'ekibuga makka wamu n'omuzikiti gwa haram
count: Omuyizi omulala yamaliriza omusomo guno
Swahaaba ayitibwa Abdullah bin adiyi bin hamra Allah asiime ku yye yagmba: nalaba omubaka wa Allah okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye ng'ayimiridde mu kifo kyebayita hazuura, n'agamba: mazima ddala gwe (makka) gwe kitundu ekisinga obulungi mu nsi ya Allah, era ekitundu ekisinga okwaagalwa mmaaso ga Allah, era singa ssi kuba nti nafulumizibwa okuva mu ggwe sandikufulumye" (kitabi kya tirmidhi: 3925), mu njogera endala yagamba: "era gwe kitundu mu nsi ya Allah jyensinga okwaagala".
2. Mazima kyo kibuga kya mizizo
Nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba nti: "Mazima ddala ekibuga makka Allah yakifuula kya mizizo abantu ssi beebakifuula, omuntu yenna akkiriza Allah n'olunaku lw'enkomerero takkirizibwa kuyiwa musaayi mukkyo, obu okumenya omunti gwaamu" (kitabo kya bukhari:104, ne muslim:1354)
Swahaba ow'ekitiibwa ayitibwa Abu dharri al-gifaari Allah yasiima ku yye yagamba nti: owange gwe Omubaka wa Allah Muzikiti ki ogwaasooka okuzimbibwa ku nsi? Nabbi n'amugamba: omuzzikiti ogw'emizizo (haram), n'emmugamba nti: oluvanyuma muzikiti ki? N'agamba: "omuzikiti gwa aqswa" n'emmugamba nti: wakati w'okuzimbibwa kwagyo waliwo emyaaka emeka? Nabbi n'amuddamu nti: "emyaaka ana (40), naye wonna esswala weeba ekusanze gisaale kuba awo nawo waba buvunnamiro (ewasaalirwa)" (bukhari:3366, ne muslim:520)
2. Kirimu kaaba ey'ekitiibwa
3. Esswala esaalibwaamu ekubisibwaamu empeera
4. Allah yalaalika okukola hijja nga tulambula enyumba ye kaaba ku oyo aba asobodde
ebirungi bya makka eyeekitiibwa: ekibuga kino ekirungi kirina enkizo n'ebirungi bingi, nga mu bbyo: