تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: AMAKA AMASIRAAMU

الدرس Okuyuunga oluganda

Tumanya mu musomo guno mu kitegeezebwa mu kuyuunga oluganda mu busiraamu,ne bimu ebikukwaatako mu nsonga

. Okumanya ekitegezebwa mu kuyuunga oluganda mu busiraamu. okunnyonnyola obukulu bwo kuyuunga oluganda no kweewaza okulukutula..okunnyonnyola agamu ku makubo go kuyuunga oluganda.. okunnyonnyola ebimu ku birungi byo kuyuunga oluganda.

Ekitegezebwa mu kuyuunga oluganda

Kwe kweegatta na boluganda mu bulungi, no kulongoosa gyebali,no kubeera owekisa gyebali no ku bakwaata empola,no kubalaambula no kukebera embeera zaabwe (check)no kuwa oyo omwetaavu mubbo .

Obujulizi bwajja mu quran eyekitiibwa ne mu sunnah za nabbi صلى الله عليه وسلم ku bwetaavu (interest) bwo kuyuunga oluganda no kuziyiza okulukutula , Allah yagamba nga ateenda abakaafiiri:{Abo abamenya endagaano ya Allah oluvannyuma lwo'kugikakasa ne bakutula ebyo Allah byeyabalagira okuyuunga era ne boonoona mu nsi abo nno be bo'kufaafaaganirwa}[Al-baqarah:27] era Allah yagamba nti:{Abaffe musuubira nti siinga mukulembera(ne muba abafuzi) nti munayonoona mu nsi ne mukutula engganda zammwe}[Muhammad:22]

Ne nabbi صلى الله عليه وسلم yagamba:«noyo eyakkiriza Allah no lunaku lwenkomerero ayuunge oluganda lwe»(Al-bukhari 6138),era nagamba:«Allah yatonda ebitonde okutuusa weyamaliriza okutonda, oluganda lwagamba:kye kino ekifo kyooyo ayekingiriza nawe okuva eri okukutula oluganda (akusaba omutaase obutakutula luganda) Allah:yye, gwe tosiima nze okuyuunga oyo yenna akuyuunga no kukutula oyo yenna akukutula? oluganda ne luganda yye mukama wange, Allah nagamba nti :ekyo kikyo.omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba nti:«musome we muba mwaagadde:{Abaffe musuubira nti siinga mukulembera ne muba abafuzi nti munayonoona mu nsi ne mukutula engganda zammwe}[Muhammad:22]» Al-bukhari 5987ne muslim2554).

Sharia yalagira okuyuunga oluganda okusinziira ku luganda na kakwaate.

Okuyuunga oluganda olwe tteeka

Kwe kuyuunga abo luganda abazira(abamuzira);nga abazadde,na baana abo bulenzi (sons) nabo buwala (daughters),na bo luganda(siblings) abo bulenzi nabo buwala,ne baganda ba taata (ba taata muto) ne baganda ba maama (ba kkojja),ne ba ssenga ne ba maama abato (baganda ba maama abawala)

Okuyuunga oluganda okwakyeyagalire(okutali kwatteeka)

Kwe kuyuunga aboluganda abatali mwaabo abakuzira ;nga abaana ba baganda ba taata (abaana ba ba taata abato) na baana ba baganda ba maama (abaana ba ba kojja,)na bwekityo

Engeri yo kuyuungamu oluganda

Okuyuunga oluganda kubeera nakuyuunga neekyo ekisobose mu mbeera ennuungi,no kujjawo ekyo ekisobose mu mbeera yo bubi, okusinziira ku maanyi/obusobozi.okuyuunga oluganda kusobola okubeera na ssalaamu oba na bigambo oba mmaali no kuyaamba ku bwetaavu,oba okujjawo obubi,oba ne kyenyi ekisanyufu eri owo Luganda(smiling )oba ne dduwa(okusaba) nebitali ebyo.

Ebyokulabirako mu kuyuunga oluganda

١
Okukuba essimu,oba okusiindika obubaka obwa masimu(messages)oba okumuyuunga nga oyita ku mikutu gya yintaneti(internet ).
٢
Okuwa emmaali;okuwa okwetteeka oba okuwa zakat kwoyo atakukatako kumulabirira oba okusaddaka,oba okutona oba okumweyimirira(bail)oba okumulaamira.
٣
Okweetaba mu mbeera eze ssanyu,no kukungubaga mu mbeera eze nnaku (okubeera wamu nabo mu mbeera eze ssanyu ne ze nnaku)
٤
Okubalambula
٥
Okwanukula okukoowoola (siinga baba bakuyise ku mikolo)
٦
Okulaambula omulwadde.
٧
Okuwerekera afudde (okugenda okuziika)
٨
Okulongoosa (siinga wabaawo obutakkaanya).

Mu birungi byo kuyuunga oluganda

١
Nsonga eleeta okwagala aboluganda no kunyweeza ebiyuunga famile wakati waabwe.
٢
Mazima okuyuunga oluganda kuleeta okugaziwa mu bye'nfuna ne kyongera ne kubuwangaazi.
٣
Allah ayuunga oyo ayuunga oluganda lwe.
٤
Okuyuunga oluganda nsonga eviirako okuyiingira ejjana.
٥
Mu kuyuunga oluganda mulimu okugondera Allah ,no kufuna okusiimibwaakwe.

Okuyuunga oluganda kuleeta okwagalana mu boluganda no kunyweeza ebiyuunga famile

Omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba nti:«muyige okuva mu ndyo(ennganda) zammwe abo bemuyuunga , kubanga okuyuunga oluganda kireeta omukwano mu bantu ba famile , kyongera obugagga, kyongera ku buwangazi (obulamu)(tirimith 1979).

Okuyuunga oluganda kuleeta okugaziwa mu bye'nfuna ne kwongera ku buwangaazi

Omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba nti:«oyo yenna ayagala okugaziyizibwa mu bye'nfuna,oba okuwanvuyizibwa mu buwangaazi bwe, ayuunge oluganda lwe »(Al-bukhari 2067,ne muslim 2557).

Mazima Allah ayuunga oyo yenna ayuunga oluganda

Omubaka wa Allah صلى الله عليه وسلم yagamba nti:"mazima Allah yatonda ebitonde okutuusa weyamaliriza okutonda,oluganda lwagamba nti:kyekino ekifo kyooyo ayekingiriza nawe okuva mu kukutula oluganda, Allah nagamba nti yye, tosiima nze okuyuunga oyo yenna akuyuunga, no kukutula oyo yenna akukutula? oluganda ne lugamba nti yye mukama wange, Allah nagamba nti: ekyo kikyo"(Al-bukhari 5987,ne muslim 2554).

Mazima okuyuunga oluganda nsonga eviirako okuyiingira ejjana

Omusajja yabuuza nabbi صلى الله عليه وسلم ku mulimu oguyinza okumuyiingiza ejjana, nabbi namugamba:«siinza Allah tomugattako ne kintu kyonna,oyimirizeewo esswala,otoole zakat,oyuunge no luganda »(Al-bukhari 1396,ne muslim 13).

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار