القسم الحالي: AMAKA AMASIRAAMU
الدرس Empisa zo kuwasa
Okwongera kunnamula za sharia ezikwaata ku kuwasa,waliwo ezibeelawo nga endagaano yo bufumbo tennaba kukolebwa(okuwoowa) ,ate nemubaamu ezibeelawo mu kaseera kookuwoowa,ate mulimu ezo ezibeelawo oluvannyuma lwo kuwoowa, obusiraamu bweetooloola okuwasa ne mpisa eziwela ezo nga buli mufumbo mu bafumbo ababiri bayina nga ayina okuzeekuumilako: nga ayagala okutuuka(okufuna) empeera okuva ewa Allah, nga ayina essuubi eri abo abazeekwaatako nti bayina amanyi,no bunyweevu bwakakwaate ako bufumbo.
Enniya
Enniya eyina ekifo ekifo ekinene mu busiraamu,ekilaga ekyo ye Hadith emmanyifu:«buli mulimu gutuuka nakumalilira(niyya)era buli muntu afuna ekyo kyamaliridde(kyagenderedde)»(Al-bukhari 1,ne muslim 1907),kigwaanira abafumbo ababiri okubeera ne nniya ennongoofu(ennuungi) mu kufumbiriganwa, wabula ate kyaamubukeenkufu okubeera ne nniya nyiingi basobole okwongera ku mpeera,nemu nniya ennongoofu (ennuungi) mu kuwasa (mukufumbiraganwa), okwolesa akobonero mububonero bwa Allah,no kuteekesa ekilagiro Kya sharia mu nkola ekyo ekitukubiriza okuwasa,nokusuubira nti bagenda kufulumamu ezzadde eddoongoofu nga lyaawula Allah no kumusiinza,no buli omu okukuuma ensa zaamunne, nokumutaangira okugwa mu bikemo,nebitali ebyo.
Okugoberera Sunnah mu kiro kyokuziimba obufumbo
Omukolo gwo kuwasa(embaga) Sunnah ennyweevu:olwe kigambo kya nabbi ﷺ eri abdul Rahman bun Auf Allah asiime kuyye weyawasa«nabbi yamugamba kolayo omukolo newekuba kusala mbuzi»(Al-bukhari 2048, muslim 1427).
Mweebyo ebigwaana okulondoola mu /ku mukolo(mbaga)
Okuyiimba kwa bakazi ku mbaga
Kikkirizibwa ku bakazi bokka okuyimba (ku mbaga) nga bakozesa ebigambo ebirungi ebikkirizibwa (ebitayina buzibu) nokukuba ettaali nga beeyawudde ku basajja, nga tebakozesa bintu bikozesebwa mu kuyimba (musical instruments): okwolesa essanyu mu mbeera eno egwaana ennuungi kikkirizibwa mu busiraamu (tekiyina buzibu).
Okuwangaala mu bulungi (empaangaala ennuungi)
Mu nneeyisa zo kuwasa ennyweevu kwekuwaangaala mu bulungi:kwekusigala no mukwaano ogwo abafumbo ababiri gwebalamusa nago obulamu obwemirembe(mu bufumbo bwaabwe) nga Allah akkirizza,Allah yagamba nti:{era muwangaale nabo (abakyala) mu mbeera ennuungi}[Annisaa:19}.