القسم الحالي: ESSWALA
الدرس Esswala y'omutambuze n'eyo mulwadde
Esswala ekakata ku musiraamu mu mbeera yonna ebbanga ly'amala ng'akyaategeera, okujjako nti obusiraamu bwaabalirira enjawulo ezibeera mu bantu ate era n'ebyetaago byaabwe, mu mbeera ezo mweemuli omulwadde n'omutambuze.
Kikubirizibwa ku muntu omutambuze ng'ali mu lugendo oba ng'alina waawamulidde obutasukka nnaku nya asale ku sswala eza raaka enya asaaleko bbiri, n'okwekyo aba asaala zuhuri, aswiri wamu ne isha raaka bbiri mu kifo kye nya, okujjako singa aba azisaalidde mabega wa imaam omutuuze olwo aba alina okumugoberera n'asaala eraaka nya nga imaam we.
Omutambuze akkirizibwa okuleka sunna eza raatibu (ezisaalibwa oluberyeberye oba oluvanyuma lw'esswala ez'etteeka) okujjako ebbiri ezisaalibwa oluberyeberye lwa subuhi, era akubirizibwa okwekuumira ku sswala ya witiri wamu n'eyekiro
Akkirizibwa okugatta esswala zuhuri (ey'okumusanvu) ne aswiri (ey'okukkumi), ate era magaribi (ey'oku saawa emu) ne isha (ey'okubbiri) mu kiseera ky'emu ku zzo, naddala singa abeera ng'ali mu mbeera ya kutambula, ekyo nga Allah akikola kumuwewulira ku nsonga n'okumujjirawo embeera ey'obuzibu.
Omulwadde bwaaba tasobola kuyimirira oba nga kumukaluubiriza, oba nga kuyinza okukosa okujjanjabibwa kwe, asaala atudde, bwaaba tasobodde, olwo asaala agalamidde ku ludda lwe olwa ddyo, nabbi okusaasira ebyengera n’emirembe bibeere ku yye yagamba: "saala ng'oyimiridde, bwooba tosobodde saala ng'otudde, bwooba tosobodde saala ng'ogalamidde ku ludda lwo" (kitabo kya bukhari:1117).