تابع التعلّم

لم تقم بتسجيل الدخول
سجل الآن في منصة تاء لبدء التعلم ومتابعة تقدمك وجمع النقاط والدخول في المنافسات، بعد التسجيل ستحصل على شهادة إلكترونية بالموضوعات التي تتعلمها

القسم الحالي: HIJJA

الدرس Ebyaziyizibwa ku muntu ali mu mizizo

Omulamazi ali mu hijja oba umra asanye okweewala ebyaaziyizibwa. Era byebyo byogenda okumanya mu musomo guno.

  • Okumanya ebyaziyizibwa ku ali mu mizizo.
  • Okumanya amateeka agaddirira singa biba bikoleddwa.

Ebyaziyizibwa ku oyo ali mu mizizo

Byebyo omuntu ali mu hijja oba umra byagaanibwa.

Ebyaziyizibwa mu mizizo bya miteeko esatu

١
Ebimu byaziyizibwa ku baami n'abakyaala wamu.
٢
Ebimu byaziyizibwa ku baami bokka
٣
Ebimu byaziyizibwa ku bakyaala bokka

Ebyaziyizibwa ku baami n'abakyaala wamu.

١
Okusala oba okukendeeza enviiri (z'okumubiri gwonna), ky'ekimu n'okusala enjala z'okumubiri.
٢
Okukozesa akawoowo ku lugoye oba ku mubiri
٣
Okwegatta kw'abafumbo, na bweekityo omwaami okukwaata ku mukyaala n'okukola eby'obwaagazi byonna naye.
٤
Okusiba obufumbo(Nikkah), n'ebwekiba ng'omu ku bagole yekka y'ali mu mizizo
٥
Omuntu ali mu mizizo takkirizibwa kuyigga , binyonyi yadde ebisolo by'omunsiko.

Ebyaziyizibwa ku basajja bokka

١
Okwambala ebitunge; nga kino kitegeeza buli kitunge nga kyambala ku kitundu ky'omubiri ekyeeyawulidde, ng'essaati, ekkanzu, empale, n'ebirala.
٢
Okubikka omutwe n'ekintu ekigukwaatako, naye ebyo ebibikka omutwe ng'obusolya bw'amyumba, n'ebidduka, wamu n'ebyeewogomwaamu akasana, ebyo bbyo tebirina buzibu.

Ebyaziyizibwa ku bakyaala abali mu mizizo.

١
Okwambala sitira n'okubikka ekyenyi, omukyaala alina okubikkula ekyenyi kye okujjako ng'atuuse ku basajja abatamuzira, awo asobola okubikka ekyenyi kye, era tekikosa nebwekiba nga kyaabisseeko kikwaata ku kyenyi mu mbeerra eyo.
٢
Okwambala gilaavuzi

Oyo yenna aba akoze ekimu ku byaziyizibwa bino nga yeerabidde oba nga tamanyi, oba ng'akakiddwa, talina kimuvunaanwa, olw'ekigambo kya Allah: "temulina musango kw'ebyo byemuba mukoze mu butanawa, naye (muvunaana ebyo) byemuba mukoze mu bugenderevu okuva ku mitima gyammwe" (essuula 33:5), naye bwaaba ajjukidde oba n'amanya (nti kyaakola kyaziyizibwa) olwo aba akakatwaako okukivaako mbagirawo.

Oyo yenna aba akoze ekimu ku byaziyizibwa ng'agenderedde naye nga alina ekisonyiyisa, oyo talina musango naye alina okuwa omutango

Allah ow'ekitiibwa yagamba : "Temumwanga emitwe gyammwe okutuusa ekirabo lwe kimala okutuuka mu kifo we kikkirizibwa okuweebwa (ekifo awo we bakuziyirizza). Omuntu yenna abanga omulwadde mu mmwe obanga alina ebimuluma mu mutwe gwe (nga ensekere, alina okumwa omutwe gwe) n'awa omutango oba okusiiba oba okusaddaaka emmere (eriise abanaku) oba okusala ensolo (embuzi). Wabula bwe muba nga muli mirembe, n'oyo asookanga (okukola) Umra ku Hijja alina okusala ekyo ekimwanguyidde mu birabo (nayo ye mbuzi). Omuntu aba tafunye (mbuzi) ateekwa okusiiba ennaku ssatu mu biseera bya Hijja, era (musiibe) ennaku musanvu bwe muba nga muzzeeyo (ewammwe); eryo ly'ekkumi enjjuvu (okugatta awamu). Ekyo kiri kw'oyo (aba) nga abantu b'omu maka ge ssi batuuze mu (Makka) ku Muzikiti Ogw'emizizo. Era mutye Katonda era mumanye nti mazima Katonda Muyitirivu mu kubonereza" (essuula 2:196).

Oyo yenna aba akoze ekyaziyizibwa ng'agenderedde ate nga tayina nsonga esonyiyisa, afuna omusango ng'ate n'omutango alina ogguwa.

Ebyaziyizibwa mu mizizo biteekululwaamu emiteeko ena okusinziira ku mutango:

١
Ogusooka: ebitalina mutango, nga kw'ekuwasa ng'oli mu mizizo.
٢
Ogw'okubiri: ekirina omutango nga gwa ngamiya, nga kw'ekwegatta n'omukyaala nga tonnatukula lutukula lusooka oluva mu mizizo.
٣
Ogw'okusatu: omutango nga guba gwa kusasula kidda mu kifo kyaakyo, nga kw'ekutta ekiyiggibwa.
٤
Ogw'okuna: omutango nga guba gwa kusiiba, oba kuliisa, oba kusala kisolo (omutango gw'okunakuwaza), nga muno mulimu: okusala enviiri, n'ebyagaanibwa ebisigadde byonna ng'ojjeeko biri ebisatu ebisoose.

لقد أكملت الدرس بنجاح


ابدأ الاختبار